Programu Empya ey’Olukuŋŋaana Olunene olw’Ennaku Ebbiri
Mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku’ twetaaga amagezi agava eri Katonda tusobole okusigala nga tusiimibwa gy’ali. (2 Tim. 3:1) Programu y’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku ebbiri ey’omwaka gw’obuweereza 2005, ejja kutubuulirira era etuzzeemu amaanyi ng’ekulaakulanya omutwe: “Kulemberwa ‘Amagezi Agava Waggulu.’”—Yak. 3:17.
Emboozi ezikwatagana ezinaasooka eziri wansi w’omutwe: ‘Okwoleka mu Bulamu Bwaffe Amagezi Agava Waggulu’ zijja kutuyamba okulaba ekizingirwa mu kubeera n’empisa ennongoofu, okuba ab’emirembe, okweyisa mu ngeri ey’amagezi era n’okuba abawulize. Oluvannyuma omulabirizi w’ekitundu ajja kwogera ku ngeri endala satu eziraga amagezi agava waggulu. Omulabirizi wa disitulikiti ajja kufundikira olunaku olusooka ng’alaga engeri Abakristaayo gye basobola okwogera mu ngeri eyoleka amagezi agava eri Katonda wadde ng’abamu babatwala okuba abantu “abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo.”—Bik. 4:13.
Ku lunaku olw’okubiri, emboozi ezikwatagana eziri wansi w’omutwe: “Luubirira Ebintu Ebizimba” zijja kutuyamba okutegeera n’okwewala ebintu ebiyinza okutunafuya mu by’omwoyo. Era zijja kutulaga engeri gye tuyinza okuzzaamu abalala amaanyi mu kibiina, mu buweereza bwe nnimiro era ne mu maka. Emboozi ya bonna erina omutwe: “Engeri gye Tuganyulwa mu Magezi ga Katonda,” ejja kutuyamba okwongera okusiima emiganyulo gye tufuna bwe tuteeka mu nkola emisingi gya Katonda mu bulamu bwaffe. Emboozi eneefundikira erina omutwe: “Okukolera ku Magezi ga Katonda Kituwa Obukuumi,” ejja kutuleetera okuba abamalirivu okunoonya amagezi agava eri Yakuwa mu nnaku zino ez’oluvannyuma.
Ekitundu ekikulu ennyo mu buli lukuŋŋaana olunene, kwe kubatizibwa kw’abayigirizwa abapya. Ku programu kujja kubaako Essomero ly’Omulimu gwa Katonda n’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Yakuwa ayagala ffenna tuganyulwe mu magezi gatuwa. Tujja kunywezebwa nnyo mu by’omwoyo mu kuyigirizibwa kwe tunaafuna mu lukuŋŋaana olw’ennaku ebbiri.—Nge. 3:13-18.