ESSUULA 22
“Amagezi Agava Waggulu” Gakolera mu Bulamu Bwo?
1-3. (a) Sulemaani yayoleka atya amagezi ag’ensusso mu ngeri gye yasalamu omusango gw’abakazi abaali bakaayanira omwana? (b) Yakuwa atusuubiza ki, era bibuuzo ki ebijjawo?
GWALI musango muzibu nnyo. Abakazi babiri baali bakaayanira omwana omuwere. Baali babeera wamu, era nga kumpi baazaalira mu kiseera kye kimu. Omu ku baana be baazaala yali afudde, era kati buli mukazi yali agamba nti omwana omulamu ye wuwe.a Tewaaliwo balala baali bayinza kuwa bujulizi ku kyaliwo. Kiyinzika okuba nti omusango ogwo gwawulirwa mu kkooti ento naye n’eremererwa okugusala. Oluvannyuma omusango ogwo gwatwalibwa ewa Sulemaani, kabaka wa Isirayiri. Yandisobodde okuzuula amazima?
2 Oluvannyuma lw’okuwuliriza ebyo abakazi abo bye baayogera, Sulemaani yatumya ekitala. Ng’alabika nga mumalirivu, yalagira omwana asalibwemu ebitundu bibiri, buli mukazi aweebweko ekitundu kimu. Amangu ago, nnyina w’omwana omutuufu yeegayirira kabaka awe omukazi omulala omwana. Naye omukazi oli omulala ye yayagala omwana asalibwemu ebitundu bibiri. Awo Sulemaani yategeera ekituufu. Yali amanyi engeri maama gy’ayagalamu omwana we, era yakozesa okumanya okwo okusala omusango ogwo. Teeberezaamu essanyu maama w’omwana lye yafuna Sulemaani bwe yamuwa omwana we era n’agamba nti: “Ye nnyina w’omwana.”—1 Bassekabaka 3:16-27.
3 Ago gaali magezi ga nsusso, si bwe kiri? Abantu bwe baawulira engeri Sulemaani gye yasalamu omusango ogwo, baawuniikirira, “kubanga baakiraba nti Katonda yali amuwadde amagezi.” Mu butuufu, amagezi ga Sulemaani kyali kirabo okuva eri Katonda. Yakuwa yali amuwadde “omutima ogw’amagezi era omutegeevu.” (1 Bassekabaka 3:12, 28) Ate kiri kitya gye tuli? Naffe tusobola okufuna amagezi agava eri Katonda? Yee. Katonda yaluŋŋamya Sulemaani okuwandiika nti: “Yakuwa y’awa amagezi.” (Engero 2:6) Abo abanoonya amagezi, kwe kugamba, obusobozi bw’okukozesa obulungi okumanya n’okutegeera, Yakuwa asuubiza okugabawa. Tuyinza tutya okufuna amagezi agava waggulu? Tuyinza tutya okugakozesa mu bulamu bwaffe?
Oyinza Otya ‘Okufuna Amagezi’?
4-7. Bintu ki ebina ebyetaagisa okusobola okufuna amagezi?
4 Kitwetaagisa okubeera abagezi oba abayivu ennyo okusobola okufuna amagezi agava eri Katonda? Nedda. Yakuwa mwetegefu okutuwa amagezi ge ka tube mu mbeera ki oba ka tube na buyigirize ki. (1 Abakkolinso 1:26-29) Naye tulina okusooka okubaako kye tukolawo, kubanga Bayibuli etukubiriza ‘okufuna amagezi.’ (Engero 4:7) Kiki kye tusaanidde okukola?
5 Ekisooka, tulina okutya Katonda. Engero 9:10, lugamba nti: “Okutya Yakuwa ye ntandikwa y’amagezi [“gwe mutendera ogusooka ogw’okufuna amagezi,” The New English Bible].” Okutya Katonda gwe musingi gw’amagezi aga nnamaddala. Lwaki? Jjukira nti amagezi gazingiramu okukozesa obulungi okumanya. Okutya Katonda tekitegeeza kukubwa ncukwe, wabula kitegeeza okumusinza, okumussaamu ekitiibwa, n’okumwesiga. Okutya ng’okwo kulungi era kuleetera omuntu okubaako ky’akolawo. Kutuleetera okukola ebyo Katonda by’ayagala. Eyo ye ngeri esingayo obulungi ey’okutambuzaamu obulamu bwaffe, kubanga emitindo gya Yakuwa bulijjo giganyula abo abagigoberera.
6 Eky’okubiri, tuteekwa okuba abeetoowaze. Tetuyinza kufuna magezi gava eri Katonda okuggyako nga tuli beetoowaze. (Engero 11:2) Lwaki kiri bwe kityo? Bwe tuba abeetoowaze, tuba beetegefu okukkiriza nti tetumanyi buli kimu, nti bye tusalawo tebiba bituufu buli kiseera, era nti twetaaga okufuna endowooza ya Yakuwa ku buli kye tusalawo. Yakuwa “aziyiza ab’amalala,” naye mwetegefu okuwa abeetoowaze amagezi ge.—Yakobo 4:6.
7 Ekintu eky’okusatu kye tulina okukola kwe kwesomesa Ekigambo kya Katonda. Amagezi ga Yakuwa gasangibwa mu Kigambo kye. Okusobola okufuna amagezi ago, tuteekwa okufuba okuganoonya. (Engero 2:1-5) Eky’okuna kye tulina okukola, kwe kusaba. Bwe tusaba Katonda amagezi ge mu bwesimbu, ajja kugatuwa. (Yakobo 1:5) Bwe tunaamusaba okutuwa omwoyo gwe ajja kugutuwa. Era omwoyo gwe gujja kutuyamba okuzuula ebintu eby’omuwendo ebiri mu Kigambo kye ebiyinza okutuyamba okugonjoola ebizibu, okwewala akabi, n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi.—Lukka 11:13.
Okusobola okufuna amagezi agava eri Katonda, tuteekwa okufuba okuganoonya
8. Bwe tuba nga ddala tulina amagezi agava eri Katonda, ekyo kineeyoleka kitya?
8 Nga bwe twalaba mu Ssuula 17, amagezi ga Yakuwa ga muganyulo. N’olwekyo, bwe tuba nga ddala tufunye amagezi agava eri Katonda, kijja kweyolekera mu ngeri gye tweyisaamu. Omuyigirizwa Yakobo yayogera ku bibala by’amagezi ga Katonda bwe yagamba nti: “Amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, ga mirembe, si makakanyavu, mawulize, gajjudde obusaasizi n’ebibala ebirungi, tegasosola, era tegaliimu bunnanfuusi.” (Yakobo 3:17) Nga twekenneenya buli kimu ku bibala bino eby’amagezi agava eri Katonda, tusaanidde okwebuuza, ‘Amagezi agava waggulu gakolera mu bulamu bwange?’
“Malongoofu, ga Mirembe”
9. Kitegeeza ki ekintu okuba ekirongoofu, era lwaki kituukirawo nti obulongoofu kye kibala eky’amagezi ga Katonda ekisoose okumenyebwa?
9 “Okusooka malongoofu.” Ekintu okuba ekirongoofu kirina okuba nga tekyonooneddwa kungulu ne munda. Bayibuli ekwataganya amagezi n’omutima. Amagezi ga Katonda tegayinza kubeera mu mutima ogulimu ebirowoozo ebibi, okwegomba okubi, n’ebiruubirirwa ebibi. (Engero 2:10; Matayo 15:19, 20) Kyokka omutima bwe guba nga mulongoofu okusinziira ku busobozi bw’abantu abatatuukiridde, tujja ‘kuleka ebibi tukole ebirungi.’ (Zabbuli 37:27; Engero 3:7) Kituukirawo okuba nti obulongoofu kye kibala eky’amagezi ga Katonda ekisoose okwogerwako. Singa tetuba bayonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo, tetuyinza kwoleka bibala ebirala eby’amagezi agava waggulu.
10, 11. (a) Lwaki kikulu nnyo ffe okuba mu mirembe n’abalala? (b) Bw’omanya nti onyiizizza mukkiriza munno, oyinza otya okukiraga nti oyagala okuzzaawo emirembe? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
10 “Ga mirembe.” Bwe tuba nga tulina amagezi agava waggulu tujja kufuba okuba mu mirembe n’abalala, era ng’emirembe kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda. (Abaggalatiya 5:22) Twewala okutabangula ‘emirembe’ egigatta awamu abantu ba Yakuwa. (Abeefeso 4:3) Era tukola kyonna ekisoboka okuzzaawo emirembe bwe giba giweddewo. Lwaki ekyo kikulu? Bayibuli egamba nti: ‘Mweyongere okuba mu mirembe; era Katonda ow’okwagala n’emirembe ajja kubeera nammwe.’ (2 Abakkolinso 13:11) Kasita tweyongera okubeera mu mirembe n’abalala, Katonda ow’emirembe aba naffe. Engeri gye tuyisaamu basinza bannaffe erina ky’ekola ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Tuyinza tutya okubeera mu mirembe n’abalala? Lowooza ku kyokulabirako kino.
11 Kiki kye ky’osaanidde okukola singa okitegeera nti onyiizizza mukkiriza munno? Yesu yagamba nti: “Bw’oba otutte ekirabo kyo ku kyoto n’ojjukira nti muganda wo alina ky’akwemulugunyaako, ekirabo kyo kireke mu maaso g’ekyoto osooke ogende otabagane ne muganda wo, n’oluvannyuma oddeyo oweeyo ekirabo kyo.” (Matayo 5:23, 24) Osaanidde okukolera ku kubuulirira okwo n’ogenda eri muganda wo. Wandibadde na kiruubirirwa ki? ‘Okutabagana ne muganda wo.’b Okusobola okutuukiriza ekyo, kiba kikwetaagisa okukkiriza ensobi yo. Bw’omutuukirira ng’olina ekiruubirirwa eky’okutabagana naye, obutategeeragana buyinza okuggwaawo, ali mu nsobi ne yeetonda era n’asonyiyibwa. Bw’ofuba okutabagana n’oyo gw’otategeeragana naye, olaga nti okulemberwa amagezi agava eri Katonda.
“Si Makakanyavu, Mawulize”
12, 13. (a) Ekigambo ekivvuunulwa ‘si makakanyavu’ mu Yakobo 3:17 kirina makulu ki? (b) Tuyinza tutya okulaga nti tetuli bakakanyavu?
12 “Si makakanyavu.” Kitegeeza ki obutaba mukakanyavu? Okusinziira ku beekenneenya ba Bayibuli, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “si makakanyavu” mu Yakobo 3:17, kizibu okuvvuunula. Abavvuunuzi bakozesezza ebigambo nga “makkakkamu,” “magumiikiriza,” era ‘galumirirwa.’ Amakulu g’ekigambo ekyo mu Luyonaani gali, ‘obutakalambira ku kintu.’ Tuyinza tutya okukiraga nti ekibala kino eky’amagezi agava waggulu tukirina?
13 Mu Abafiripi 4:5 Bayibuli egamba nti: “Obutali bukakanyavu bwammwe ka bweyoleke eri abantu bonna.” Enkyusa endala egamba nti: “Mumanyibwe ng’abantu abatali bakakanyavu.” (The New Testament in Modern English, eya J. B. Phillips) Weetegereze nti kino okusingira ddala tekikwata ku ngeri ffe gye twetwalamu; wabula engeri abalala gye batutwalamu. Omuntu atali mukakanyavu takalambira ku mateeka oba ku ekyo ky’ayagala. Wabula aba mwetegefu okuwuliriza abalala, era bwe kiba kituukirawo, n’akkiriza bye baagala. Ate era aba mukkakkamu ng’akolagana n’abalala. Wadde nga kino kikulu eri Abakristaayo bonna, kikulu nnyo naddala eri abo abaweereza ng’abakadde. Abakadde bwe baba abakkakkamu kiba kyangu abalala okubatuukirira. (1 Abassessalonika 2:7, 8) Kiba kirungi okwebuuza, ‘Mmanyiddwa ng’omuntu afaayo ku balala, atali mukakanyavu, era omukkakkamu?’
14. Tuyinza tutya okulaga nti tuli ‘bawulize’?
14 “Mawulize.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvunulwa “mawulize” tekisangibwa walala mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Okusinziira ku mwekenneenya omu, ekigambo kino ‘kitera okukozesebwa mu kukangavvula okw’ekijaasi.’ Kirina amakulu ‘g’okukolera amangu ku kikugambiddwa’ era ‘n’okubeera omuwulize.’ Oyo alina amagezi agava waggulu, akolera ku kubuulirira okuli mu Byawandiikibwa. Takalambira ku ekyo ky’aba asazeewo. Wabula, aba mwetegefu okukyusaamu bw’alagibwa obukakafu okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti akoze ensobi mu ekyo ky’asazeewo. Bwe batyo abalala bwe bakulaba?
“Gajjudde Obusaasizi n’Ebibala Ebirungi”
15. Obusaasizi kye ki, era lwaki kituukirawo nti “obusaasizi” ‘n’ebibala ebirungi’ byogerwako wamu mu Yakobo 3:17?
15 “Gajjudde obusaasizi n’ebibala ebirungi.”c Obusaasizi ngeri nkulu nnyo eraga amagezi agava waggulu, kubanga amagezi ng’ago googerwako nti “gajjudde obusaasizi.” Weetegereze nti “obusaasizi” ne “ebibala ebirungi” byogerwako wamu. Kino kituukirawo kubanga mu Bayibuli okusaasira emirundi mingi kutegeeza okufaayo ku balala ng’obaako ebirungi by’obakolera. Ekitabo ekimu kinnyonnyola obusaasizi nga “okunakuwala ng’omuntu omulala ali mu mbeera mbi era n’ofuba okubaako ky’okolawo.” N’olwekyo, amagezi agava eri Katonda tegakoma mu bigambo bugambo. Wabula galeetera omuntu okufaayo ku balala n’abalaga ekisa. Tuyinza tutya okulaga nti tuli basaasizi?
16, 17. (a) Ng’oggyeeko okwagala Katonda, kiki ekitukubiriza okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, era lwaki? (b) Tuyinza tutya okulaga nti tuli basaasizi?
16 Engeri emu enkulu gye twolekamu obusaasizi kwe kubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Kiki ekitukubiriza okukola omulimu guno? Okusingira ddala kwe kwagala Katonda. Naye era tugwenyigiramu olw’okusaasira abantu. (Matayo 22:37-39) Bangi leero “babonaabona era . . . basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.” (Matayo 9:36) Abasumba ab’obulimba tebabafaako era babazibye amaaso mu by’omwoyo. N’olwekyo, tebamanyi magezi ag’omuganyulo agali mu Kigambo kya Katonda wadde emikisa Obwakabaka gye bunaaleeta ku nsi. Bwe kityo, bwe tufumiitiriza ku byetaago eby’eby’omwoyo eby’abantu abatwetoolodde, tubasaasira era ne tukola kyonna kye tusobola okubategeeza ku bigendererwa bya Yakuwa.
Bwe tusaasira abalala, twoleka “amagezi agava waggulu”
17 Biki ebirala bye tuyinza okukola okulaga nti tuli basaasizi? Jjukira olugero lwa Yesu olw’Omusamaliya eyasanga omuntu eyali anyagiddwa era ng’akubiddwa. Omusamaliya ‘yamulaga obusaasizi’ n’amusiba ebiwundu era n’amufaako mu ngeri endala. (Lukka 10:29-37) Ekyo kiraga nti obusaasizi buzingiramu okuyamba ababa mu bwetaavu. Bayibuli egamba nti: “Tukolerenga bonna ebirungi, naye okusingira ddala bakkiriza bannaffe.” (Abaggalatiya 6:10) Lowooza ku bintu bino by’oyinza okukolera abalala. Mukkiriza munnaffe akaddiye ayinza okuba yeetaaga okumutwalangako mu nkuŋŋaana n’okumukomyawo. Nnamwandu mu kibiina ayinza okuba yeetaaga okumuyamba okuddaabiriza ennyumba ye. (Yakobo 1:27) Omuntu aweddemu amaanyi ayinza okwetaaga “ebigambo ebirungi” ebimuzzaamu amaanyi. (Engero 12:25) Bwe tulaga obusaasizi mu ngeri eyo, tuba tulaga nti amagezi agava waggulu gakolera mu ffe.
“Tegasosola, era Tegaliimu Bunnanfuusi “
18. Bwe tuba tukulemberwa amagezi agava waggulu, kiki kye tuteekwa okuggya mu mitima gyaffe, era lwaki?
18 “Tegasosola.” Amagezi agava eri Katonda tegasosola mu langi oba mu ggwanga. Bwe tuba nga tukulemberwa amagezi ng’ago, tufuba okweggyamu obusosoze. (Yakobo 2:9) Tetuyisa bamu bulungi olw’obuyigirize bwe balina, olw’embeera yaabwe ey’eby’enfuna, oba olw’obuvunaanyizibwa bwe balina mu kibiina. Ate era tetunyooma bakkiriza bannaffe ka babe nga si ba kitiibwa oba nga baavu. Bwe kiba nti Yakuwa abalaga okwagala, naffe tusaanidde okubalaga okwagala.
19, 20. (a) Makulu ki agali mu kigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “munnanfuusi”? (b) Tuyinza tutya okulaga ‘okwagala kw’ab’oluganda okutaliimu bukuusa,’ era lwaki ekyo kikulu?
19 “Tegaliimu bunnanfuusi.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “omunnanfuusi” kiyinza okutegeeza “munnakatemba.” Mu biseera eby’edda, Abayonaani n’Abaruumi baayambalanga obukookolo nga bazannya emizannyo. Bwe kityo, ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘munnanfuusi’ kyakozesebwanga ku muntu eyeefuula ky’atali oba agezaako okubuzaabuza abalala. Bwe tuba nga tulina amagezi agava eri Katonda twewala okuyisa bakkiriza bannaffe mu ngeri eyo. Ate era amagezi ago gakwata ne ku ngeri gye tubatwalamu.
20 Omutume Peetero yagamba nti ‘okugondera amazima’ kwandivuddemu “okwagalana okw’ab’oluganda okutaliimu bukuusa.” (1 Peetero 1:22) Okwagala kwe tulina eri baganda baffe tekusaanidde kuba kwa kungulu. Tetwambala bukookolo, oba kwefuula kye tutali okulimba abalala. Okwagala kwaffe kulina okuba okw’amazima, nga kuviira ddala mu mutima. Bwe kuba bwe kutyo, bakkiriza bannaffe batwesiga, kubanga baba bakimanyi nti tetuli bannanfuusi. Ekyo kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza bannaffe mu kibiina era kituyamba okwesigaŋŋana.
‘Kuumanga Amagezi’
21, 22. (a) Sulemaani yalemererwa atya okukuuma amagezi? (b) Tuyinza tutya okukuuma amagezi, era tunaaganyulwa tutya bwe tunaakola bwe tutyo?
21 Amagezi agava eri Katonda kirabo okuva gy’ali kye tulina okukuuma. Sulemaani yagamba nti: “Mwana wange, . . . amagezi n’obusobozi bw’okulowooza obulungi tobiganyanga kukuvaako.” (Engero 3:21) Eky’ennaku, Sulemaani yalemererwa okukuuma amagezi. Ekiseera lwe yabeeranga n’omutima omuwulize yabeeranga n’amagezi. Naye oluvannyuma, bakazi be abangi abagwira baamuggya ku kusinza Yakuwa. (1 Bassekabaka 11:1-8) Ekyatuuka ku Sulemaani kiraga nti okumanya tekuba na mugaso singa tetukukozesa bulungi.
22 Tuyinza tutya okukuuma amagezi? Tetulina kusoma busomi Bayibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako ebituweebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” naye era tuteekwa okussa mu nkola bye tuyiga. (Matayo 24:45) Tulina ensonga ennungi okukolera ku magezi agava eri Katonda. Bwe tugakolerako kituviiramu okuba n’obulamu obulungi kati. Ate era kijja kutusobozesa “okunyweza obulamu obwa nnamaddala,” kwe kugamba, obulamu obutaggwaawo mu nsi empya. (1 Timoseewo 6:19) N’ekisinga obukulu, okufuna amagezi agava waggulu kitusobozesa okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda, ensibuko y’amagezi.
a Okusinziira ku 1 Bassekabaka 3:16, abakazi ababiri baali bamalaaya. Ekitabo Insight on the Scriptures kigamba nti: “Abakazi abo bayinza okuba nga baali bamalaaya, kyokka si abo abeetunda. Bayinza okuba baali Bayudaaya oba abagwira.”—Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okutabagana’ kitegeeza “okulekera awo okuba omulabe w’omuntu naye n’ofuuka mukwano gwe.” N’olwekyo, ekiruubirirwa kyo kyandibadde kya kuyamba oyo gw’onyiizizza, bwe kiba kisoboka, okulekera awo okuwulira obulumi.—Abaruumi 12:18.
c Enkyusa endala evvuunula bw’eti ebigambo bino, “gajjudde obusaasizi n’ebikolwa ebirungi.”—A Translation in the Language of the People, eya Charles B. Williams.