LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 3/15 lup. 21-25
  • “Ani mu Mmwe Alina Amagezi n’Okutegeera?”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Ani mu Mmwe Alina Amagezi n’Okutegeera?”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Amagezi Geeyolekera mu Bikolwa
  • Ebiraga Abatalina Magezi
  • Engeri Abalina Amagezi Ze Balina Okwoleka
  • “Amagezi Agava Waggulu” Gakolera mu Bulamu Bwo?
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Obukkakkamu—Butuganyula Butya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Obuwombeefu—Ngeri Nnungi Nnyo ey’Ekikristaayo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Yoleka ‘Obuwombeefu eri Abantu Bonna’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 3/15 lup. 21-25

“Ani mu Mmwe Alina Amagezi n’Okutegeera?”

“Ani mu mmwe alina amagezi n’okutegeera? Ayoleke ebikolwa bye mu mpisa ze ennungi n’obuteefu obwoleka amagezi.”​—YAK. 3:13, NW.

1, 2. Oyinza kwogera ki ku bantu bangi abatwalibwa okuba ab’amagezi?

MUNTU ki gw’olowooza nti ddala wa magezi? Muzadde wo, musajja mukadde, oba profesa? Ky’olowooza kiyinza okusinziira ku mbeera gye wakuliramu ne gy’olimu kati. Kyokka, Katonda ky’agamba ku nsonga eno, abaweereza be kye basinga okutwala ng’ekikulu.

2 Tekiri nti bonna ensi b’etwala nga ab’amagezi ddala baba ba magezi mu maaso ga Katonda. Ng’ekyokulabirako, Yobu bwe yali n’abasajja abaali balowooza nti boogera bya magezi, yabagamba nti: ‘Sirabye muntu wa magezi ku mmwe.’ (Yobu 17:10) Ng’ayogera ku abo abasambajja okumanya okukwata ku Katonda, omutume Pawulo yagamba: “Beeyita ab’amagezi, so nga baasiruwala.” (Bar. 1:22) Era okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa kennyini yagamba nti: “Zibasanze abo abalina amagezi mu maaso gaabwe bo.”​—Is. 5:21.

3, 4. Okusobola okubeera ow’amagezi kyetaagisa ki?

3 Kikulu okutegeera kiki ddala ekifuula omuntu ow’amagezi era n’aba ng’asiimibwa mu maaso ga Katonda. Engero 9:10 wagamba nti: “Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera: n’okumanya oyo Omutukuvu kwe kutegeera.” Abantu ab’amagezi bateekwa okuba nga batya Katonda era nga bassa ekitiibwa mu mitindo gye. Kyokka, tekimala okukkiriza obukkiriza nti Katonda gy’ali era nti alina emitindo gye. Omutume Yakobo atuwa eky’okulowoozaako ku nsonga eno. (Soma Yakobo 3:13, NW.) Weetegereze ebigambo bye bino: “Ayoleke ebikolwa bye mu mpisa ze ennungi.” Omuntu by’ayogera ne by’akola buli lunaku bye biraga obanga ddala wa magezi.

4 Omuntu ow’amagezi asalawo bulungi era akozesa okumanya kwe n’okutegeera mu ngeri ennungi. Bikolwa ki ebiraga nti tulina amagezi ng’ago? Yakobo anokolayo ebintu ebiwerako ebiraga abantu ab’amagezi.a Bye yayogera biyinza bitya okutuyamba mu nkolagana yaffe ne bakkiriza bannaffe era n’abantu abali ebweru w’ekibiina?

Amagezi Geeyolekera mu Bikolwa

5. Omuntu ow’amagezi yeeyisa atya?

5 Kikulu okujjukira nti Yakobo yalaga akakwate akali wakati w’amagezi n’ebikolwa ebirungi. Olw’okuba mu kutya Yakuwa amagezi mwe gasookera, omuntu ow’amagezi afuba okweyisa mu ngeri etuukana n’emitindo gya Katonda awamu n’amakubo ge. Amagezi agava waggulu tetuzaalibwa nago. Naye tuyinza okugafuna okuyitira mu kwesomesa Baibuli obutayosa n’okufumiitiriza ku bye tusoma. Bino bijja kutuyamba okukola nga Abaefeso 5:1 bwe watugamba: “Mugobererenga Katonda.” Gye tukoma okukoppa engeri za Yakuwa gye tukoma okulaga amagezi mu bye tukola. Amakubo ga Yakuwa gasingira wala nnyo ag’abantu. (Is. 55:8, 9) N’olwekyo bwe tukoppa engeri Yakuwa gy’akolamu ebintu, abantu bajja kukiraba nti tuli ba njawulo.

6. Lwaki okuba omuteefu kiraga okutya Katonda, era okuba omuteefu kitwaliramu ki?

6 Yakobo agamba nti emu ku ngeri gye tusobola okuba nga Yakuwa kwe kulaga “obuteefu obwoleka amagezi.” Wadde ng’okuba omuteefu kitwaliramu okuba omukwata mpola, Omukristaayo era alina okunywerera ku misingi gya Baibuli gimuyambe okweyisa mu ngeri eyoleka amagezi. Wadde ng’alina amaanyi mangi nnyo, Katonda muteefu era tetutya kumusemberera. Omwana wa Katonda yayoleka obuteefu ng’obwa Kitaawe n’aba ng’asobola n’okugamba nti: “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe.”​—Mat. 11:28, 29; Baf. 2:5-8.

7. Lwaki obuteefu bwa Musa kyakulabirako kirungi?

7 Baibuli eyogera ku bantu abalala abaali abateefu oba abawombeefu. Musa yali omu ku abo. Wadde nga yalina obuvunaanyizibwa bwa maanyi, ayogerwako ng’omuntu ‘eyali omuwombeefu okusinga abantu abalala bonna abaali ku nsi.’ (Kubal. 11:29; 12:3) Jjukira nti Yakuwa yawa Musa amaanyi agaamusobozesa okukola by’Ayagala. Yakuwa yali mwetegefu okukozesa abantu abateefu okutuukiriza ekigendererwa kye.

8. Abantu abatatuukiridde basobola batya okulaga “obuteefu obwoleka amagezi”?

8 Kya lwatu nti abantu abatatuukiridde basobola okulaga “obuteefu obwoleka amagezi.” Ate kiri kitya eri ffe? Tuyinza tutya okwongera okwoleka engeri eno? Obuteefu kye kimu ku bibala by’omwoyo omutukuvu. (Bag. 5:22, 23, NW) Tuyinza okusaba Katonda okutuwa omwoyo gwe era ne tufuba okwoleka ebibala byagwo nga tuli bakakafu nti Katonda ajja kutuyamba okubeera abateefu. Omuwandiisi wa zabbuli atukakasa nti: “Abateefu Katonda anaabayigirizanga ekkubo lye.”​—Zab. 25:9, NW.

9, 10. Tulina kukola ki okusobola okuba abateefu, era lwaki?

9 Wadde kiri kityo, kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okusobola okweyongera okuba abateefu. Olw’embeera mwe twakulira, abamu kiyinza okutubeerera ekizibu okuba abateefu. Ate era abantu be tubeeramu bayinza okutulemesa okuba abateefu nga bagamba nti “omuliro ogulwanyisa na muliro.” Naye ddala ekyo kiba kya magezi? Omuliro bwe guba gukutte mu nnyumba yo, oguzikiza na mafuta oba na mazzi? Okuyiwa amafuta ku muliro kigwongera bwongezi kwaka, so ng’ate okuguyiwako amazzi kiyinza okuguzikiza. Eno ye nsonga lwaki Baibuli etukubiriza nti: “Okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi: naye ekigambo eky’ekkayu kisaanuula obusungu.” (Nge. 15:1, 18) Olulala bwe walibaawo ekizibu mu kibiina oba awalala wonna, tusobola okulaga amagezi ne tukikolako nga tuli bateefu?​—2 Tim. 2:24.

10 Nga bwe tulabye waggulu, abo abalina omwoyo gw’ensi tebaba bakwata mpola, ba mirembe wadde okuba abakkakkamu. Bwe kityo, tusanga abantu bangi nnyo abakambwe era ab’amalala. Kino Yakobo yali akimanyi era yaliko b’alabula mu kibiina beewale okutwalirizibwa omwoyo ogwo. Kiki ekirala kye tuyiga mu kubuulirira kwe?

Ebiraga Abatalina Magezi

11. Biki ebikontana n’amagezi agava waggulu?

11 Yakobo yayogera kaati ku bintu ebikontana n’amagezi agava waggulu. (Soma Yakobo 3:14.) Obuggya n’okuyomba bikolwa bya mubiri so si bya mwoyo. Lowooza ku ekyo ekibaawo bwe tuba n’endowooza ey’omubiri. Waliwo ebibiina “Ebikristaayo” mukaaga ebirina obuyinza ku Kkanisa emu eyitibwa Holy Sepulchre esangibwa mu Yerusaalemi mu kifo awagambibwa nti Yesu wennyini we yattirwa. Ebibiina bino biba mu bukuubagano buli kiseera. Mu 2006, magazini eyitibwa Time yayogera ku mulundi abakulu b’ekkanisa eyo lwe “baamala essaawa eziwerako nga bayomba, . . . nga bwe beekuba n’ebikondo ebinene ebituuzibwako emisubbaawa.” Okumanya tebeesigaŋŋana, ekisumuluzo ky’ekkanisa baatuuka n’okukiteresa Omusiraamu.

12. Bwe tugugubira ku ndowooza zaffe, kiki ekiyinza okuvaamu?

12 Enkaayana ng’ezo tezisaanidde kuba mu kibiina Ekikristaayo. Wadde kiri kityo, obutali butuukirivu oluusi buleetera abamu okugugubira ku ndowooza zaabwe. Ekyo kiyinza okuvaamu ennyombo n’obukuubagano. Omutume Pawulo bwe yalaba nga kino kituuseewo mu kibiina ky’e Kkolinso, kwe kuwandiika nti: “Mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n’okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng’abantu obuntu?” (1 Kol. 3:3) Eky’ennaku kiri nti ekibiina kino eky’omu kyasa ekyasooka kyamala ekiseera nga kiri mu mbeera eyo. N’olwekyo, tulina okuba abeegendereza okulaba nti omwoyo ng’ogwo teguyingira mu kibiina leero.

13, 14. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri omwoyo omubi gye guyinza okweyolekamu.

13 Omwoyo ng’ogwo guyinza gutya okuyingira mu kibiina? Guyinza okutandikira mu buntu obutonotono. Ng’ekyokulabirako, mu kuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka, wayinza okubaawo abalina endowooza ezitakwatagana ku ngeri ebintu gye birina okukolebwamu. Ow’oluganda omu ayinza okukaayana ennyo olw’endowooza ye obutagobererwa, oluusi n’atandika n’okuvumirira ebisaliddwawo. Ayinza n’okulekerayo ddala okuyamba mu kuzimba! Omuntu bw’akola bw’atyo aba yeerabidde nti omwoyo gw’okukoleera awamu gwe guyamba ekibiina okutuukiriza emirimu gyakyo, so si ngeri ebintu gye bikolebwamu. Bwe tuba abateefu mu kifo ky’okukaayana kisanyusa Yakuwa.​—1 Tim. 6:4, 5.

14 Oba wayinza okubaawo ow’oluganda amaze ebbanga ng’aweereza ng’omukadde mu kibiina, naye nga bakadde banne balaba nti takyatuukiriza bisaanyizo. Omukadde oyo anaakitwala atya singa n’omulabirizi w’ekitundu akiraba nti ddala ow’oluganda oyo asaanidde okuggibwako enkizo eyo, oluvannyuma lwa bakadde banne okugezaako okumuyamba n’atakyusaako? Anaalaga obwetoowaze n’akkiriza abakadde kye basazeewo era n’afuba okutuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa asobole okuddamu okuweereza ng’omukadde? Oba anaakwatibwa obuggya era n’asiba ekiruyi olw’okuba aggiddwako enkizo gye yalina? Lwaki ow’oluganda oyo yandyefudde atuukiriza ebisaanyizo so ng’ate si bwe kiri? Nga kiba kya magezi okulaga obwetoowaze n’okutegeera!

15. Lwaki olowooza nti okubuulirira okwaluŋŋamizibwa okuli mu Yakobo 3:15, 16 kwa mugaso?

15 Kituufu nti waliwo engeri endala omwoyo ogwo omubi mwe guyinza okweyolekera. Naye ka wajjewo mbeera ki, tulina okufuba okugulwanyisa. (Soma Yakobo 3:15, 16, NW.) Omuyigirzwa Yakobo yagamba nti omwoyo ogwo gwa “nsi” kubanga tegulaga magezi gava waggulu. Gwa “nsolo” kubanga gwoleka engeri z’ebisolo ebitalowooza era ebitalina magezi. Omwoyo ogwo guba gwa “badayimooni” kubanga gwoleka engeri za badayimooni. Nga kiba kikyamu nnyo Omukristaayo okwoleka omwoyo ogwo!

16. Nkyukakyuka ki ze tuyinza okwetaaga okukola, era kiki ekinaatuyamba okuzikola?

16 Buli Mukristaayo asaanidde okwekebera era afube okweggyamu omwoyo ogwo. Olw’okuba bavunaanyizibwa okuyigiriza mu kibiina, abakadde basaanidde okufuba okweggyamu omwoyo omubi. Ekyo si kyangu olw’okuba tetutuukiridde era tupikirizibwa ensi eno. Okweggyamu omwoyo ogwo kifaananako okulinnya olusozi olujudde ebisooto nga luseerera. Bwe tutabaako we twekwata, tuyinza okuseerera ne tuddayo emabega. Kyokka, bwe tunywerera ku kubuulirira okuli mu Baibuli n’obulagirizi obutuweebwa mu kibiina kya Katonda, tusobola okugenda mu maaso.​—Zab. 73:23, 24.

Engeri Abalina Amagezi Ze Balina Okwoleka

17. Abantu abalina amagezi bakola batya bwe boolekagana n’obubi?

17 Soma Yakobo 3:17. Tusobola okuganyulwa bwe twekenneenya ezimu ku ngeri eziva mu kwoleka “amagezi agava waggulu.” Okubeera omulongoofu kizingiramu obutaba na mabala wadde ekko mu byonna bye tukola. Tulina okwesamba ebintu ebibi era kino tulina okukikolerawo amangu ago. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’agezaako okukukwata mu liiso, amangu ago oggyayo omutwe oba oteekayo omukono. Kino kijja buzi nga tosoose na kukirowoozaako. Bwe tutyo bwe tusaanidde okukola nga tukemebwa okukola ekintu ekikyamu. Obulongoofu bwaffe n’omuntu waffe ow’omunda bisaanidde okutukubiriza okwesamba ekintu ekibi amangu ddala. (Bar. 12:9) Baibuli eyogera ku bantu abaakola bwe batyo, gamba nga Yusufu ne Yesu.​—Lub. 39:7-9; Mat. 4:8-10.

18. Kitegeeza ki (a) okubeera ow’emirembe? (b) okubeera omuntu aleeta emirembe?

18 Era amagezi agava waggulu gatwetaagisa okuba ab’emirembe. Kino kizingiramu okwewala ekintu kyonna oba enneeyisa eyinza okutabangula emirembe. Ng’ayogera ku nsonga eno, Yakobo agamba: “Ekibala eky’obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe.” (Yak. 3:18) Weetegereze ebigambo “abaleeta emirembe.” Mu kibiina tumanyiddwa ng’abaleeta emirembe, oba abagitabangula? Tutera okufuna enjawukana oba obutakkaanya n’abalala, nga kiva ku kuba nti tunyiiga mangu oba nga tunyiiza abalala? Tufuba okweggyamu engeri ezitasanyusa balala mu kifo ky’okulowooza nti balina okuzigumira? Tumanyiddwa ng’abantu abafuba okuleetawo emirembe, abanguwa okusonyiwa era n’okwerabira ensobi z’abalala? Okwekebera mu bwesimbu kiyinza okutuyamba okulaba we tulina okulongoosaamu okusobola okwoleka amagezi agava waggulu.

19. Kiva ku ki omuntu okutwalibwa nti mukakanyavu?

19 Yakobo yalaga nti amagezi agava waggulu gazingiramu obutaba mukakanyavu. Tumanyiddwa ng’abantu abatagugubira ku ndowooza yaffe kasita waba nga tewali musingi gwa mu Byawandiikibwa gumenyeddwa, era nti tetukaka balala kugoberera mitindo gyaffe? Tumanyiddwa ng’abantu ab’eggonjebwa era abangu okutuukirira? Ebyo biraga nti tuyize obutaba bakakanyavu.

20. Okwoleka engeri ennungi ezoogeddwako kinaavaamu ki?

20 Ng’ekibiina kibaamu nnyo emirembe ab’oluganda bwe bafuba okwoleka engeri ezo ennungi Yakobo ze yawandiikako! (Zab. 133:1-3) Okuba abateefu, ab’emirembe, era abatali bakakanyavu kijja kutuyamba okukolagana obulungi n’abalala era kirage nti tulina “amagezi agava waggulu.” Mu kitundu ekiddako tujja kuyiga engeri okutunuulira abalala nga Yakuwa bw’abatunuulira gye kiyinza okutuyamba okukola ekyo.

[Obugambo obuli wansi]

a Ennyiriri ezivaako ziraga nti Yakobo okusooka yali ayogera ku bakadde, oba abo ‘abayigiriza,’ mu kibiina. (Yak. 3:1) Wadde ng’abasajja bano basaanidde okubeera ebyokulabirako ebirungi mu kwoleka amagezi agava waggulu, ffenna tuganyulwa mu kubuulirira kuno.

Osobola Okunnyonnyola?

• Kiki ekifuula Omukristaayo ow’amagezi?

• Tuyinza tutya okweyongera okwoleka amagezi agava waggulu?

• Abo abatalina ‘magezi gava waggulu’ tubalabira ku ki?

• Ngeri ki z’omaliridde okweyongera okukulaakulanya?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Enkaayana ziyinza kujjawo zitya leero?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Ebintu ebibi obyesambirawo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share