Olukuŋŋaana lw’Ekitundu Olunaatuyamba Okwongera Okwenyweza mu by’Omwoyo
1. Ekimu ku ebyo Yakuwa by’atuwa okutuyamba okutuukiriza omulimu ogw’okubuulira amawulire amalungi kye kiruwa?
1 Yakuwa atutendeka, atuzzaamu amaanyi era atubuulira bye twetaaga okukola okusobola okutuukiriza omulimu gw’atuwadde ogw’okubuulira amawulire amalungi. (Mat. 24:14; 2 Tim. 4:17) Olukuŋŋaana lwaffe olw’ekitundu olubaawo buli mwaka lwe lumu ku ebyo Yakuwa by’atuwa. Programu empya eneebaawo mu mwaka gw’obuweereza 2010 ejja kuba n’omutwe, “Weenyweze mu by’Omwoyo,” nga gwesigamiziddwa ku Abaruumi 8:5 ne Yuda 17-19. Lujja kutandika mu wiiki etandika Agusito 31, 2009.
2. (a) Tunaaganyulwa tutya mu lukuŋŋaana lw’ekitundu? (b) Enkuŋŋaana z’ekitundu ezaayita zikuyambye zitya mu buweereza bwo?
2 Engeri gye Lunaatuganyulamu: Lujja kutuyamba okutegeera ebintu eby’akabi, gamba ng’ebyo ebiyinza okutumalako ebiseera ne tutassaayo mwoyo ku bintu ebisinga obukulu. Tujja kuyiga engeri y’okwewalamu okwekkiriranya, era tujja kwekenneenya ebizingirwa mu kuba omuntu ow’eby’omwoyo. Okwogera okwawuziddwamu okunaabaawo ku Ssande kujja kulaga engeri abantu kinnoomu era n’amaka gye basobola okwenyweza mu by’omwoyo nga boolekaganye n’ebizibu ebigenda byeyongerayongera ebiyinza okugezesa okukkiriza kwabwe. Olukuŋŋaana olwo lujja kutuyamba okukuuma emitima gyaffe, okwenyweza mu by’omwoyo, era n’okwongera okulowooza ku mikisa egy’ekitalo eginaafunibwa abo abenywezezza mu by’omwoyo.
3. Olukuŋŋaana lwammwe olw’ekitundu lunaabaawo ddi, era kiki ky’omaliridde okukola?
3 Amangu ddala nga mwakategeera ekifo n’olunaku olukuŋŋaana lwammwe olw’ekitundu we lunaabeererawo, mukole enteekateeka ezinaabasobozesa okubaawo era n’okussaayo omwoyo mu bitundu byonna eby’olukuŋŋaana. Ba mukakafu nti, Yakuwa awa omukisa abanyiikivu.—Nge. 21:5.
4. Olukuŋŋaana lw’ekitundu oluddako lunaatuyamba lutya?
4 Mazima ddala, Yakuwa y’atuwadde ekirabo kino ekirungi. Olukuŋŋaana luno olutegekeddwa ekibiina ky’omuddu omwesigwa lujja kutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa. Tusiima nnyo Yakuwa olw’enteekateeka zonna ezituyamba ‘okunywerera ku kwatula essuubi lyaffe mu lujjudde awatali kuddirira.’—Beb. 10:23-25; Yak. 1:17.