Enteekateeka Eteereddwawo Okuyamba Ababuulizi
1 Mu 1938, ekibiina kya Yakuwa kyatandikawo enteekateeka empya. Ebibiina ebitonotono byayitibwa okubaawo ku nkuŋŋaana za zoni kati eziyitibwa enkuŋŋaana z’ekitundu. Lwa kigendererwa ki? Ka Informant (kati akayitibwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka) aka Jjanwali 1939 kaagamba bwe kati: “Enkuŋŋaana zino ennene kitundu kya nteekateeka ya Yakuwa eya Teyokulase ekwata ku kutuukiriza obuweereza bw’Obwakabaka. Obulagirizi obuweebwa mu nkuŋŋaana ng’ezo buyamba buli mubuulizi okukola obulungi omulimu ogwamuweebwa.” Bwe tulowooza ku kweyongerayongera kw’ababuulizi b’Obwakabaka, okuva ku 58,000 mu 1938 okutuuka ku babuulizi abasoba mu 7,000,000 mu 2009, kyeyoleka kaati nti enkuŋŋaana z’ekitundu, zituukiriza ekigendererwa ekyokuyamba ababuulizi “okukola omulimu ogwabaweebwa”!
2 Omutwe gw’Olukuŋŋaana lw’Omwaka Ogujja: Twesunga nnyo olukuŋŋaana lw’ekitundu okutaandika n’omwezi gwa Ssebutemba n’engeri gye lunaatuzzaamu amaanyi. Omutwe gw’olukuŋŋaana ogugamba nti “Temuli ba Nsi” gugiddwa mu Yokaana 15:19. Mboozi ki ezinaweebwa ezinaaganyula ababuulizi? Ku Lwomukaaga tujja kuwuliriza okwogera okulina omutwe “Obuweereza obw’Ekiseera Kyonna Butukuuma—Mu Ngeri Ki?” Era tujja kunyumirwa okwogera okwawuziddwamu okulina omutwe ogugamba nti “Tokkiriza Kutwalirizibwa . . .” “Ensolo,” “Malaaya Omukulu,” ne “Abasuubuzi.” Ku Ssande tujja kuwuliriza okwogera okwawuziddwamu okulina omutwe ogugamba nti “Yagala Yakuwa, So Si Nsi.” Tujja kuwuliriza n’emboozi endala gamba nga “Mweyongere Okuba ‘ng’Abagwiira era ng’Abatuuze ab’Akaseera Obuseera’” ne “Mugume! Musobola Okuwangula Ensi.”
3 Gye buvuddeko awo ng’olukuŋŋana lw’ekitundu lwakaggwa, mwannyinaffe eyali addiridde mu buweereza bwe yawandiika nti olukuŋŋaana lwamuleetera okuddamu okwekebera n’okuba omumalirivu “okwenyigira mu buweereza n’okulekera awo okwekwasa obusongasonga!” Awatali kubuusabuusa olukuŋŋaana lw’ekitundu olw’omwaka gw’obuweereza ogujja lujja kutuyamba ffenna okwagala Yakuwa mu kifo ky’okwagala ensi. (1 Yok. 2:15-17) Kakasa nti obeerawo era osseeyo omwoyo osobole okuganyulwa mu bujjuvu mu nteekateeka eno eteereddwawo okuyamba ababuulizi!
[Ebibuuzo]
1. Nteekateeka ki eyatandikibwawo mu 1938, era lwa kigendererwa ki?
2. Biki ebinaayogerwako mu lukuŋŋaana lw’ekitundu olw’omwaka gw’obuweereza ogujja?
3. Miganyulo ki gye tuyinza okufuna nga tuzze mu lukuŋŋaana lw’ekitundu?