Programu Empya ey’Olukuŋŋaana lwa Circuit
Tumanyi nga tusaanidde okwagala Yakuwa Katonda era n’okumusinza ye yekka. Kyokka, ensi eyagala okutuwugula tuleme kubeera na nkolagana ya ku lusegere naye. (Yok. 17:14) Okunyweza okwagala kwaffe eri Yakuwa era n’okutunyweza okuziyiza ebintu eby’ensi ebiteeka embeera yaffe ey’eby’omwoyo mu kabi, programu empya ey’olukuŋŋaana lwa circuit olw’omwaka gw’obuweereza ogwa 2001 ejja kubeera n’omutwe “Yagala Katonda—So Si Bintu eby’Ensi.”—1 Yok. 2:15-17.
Okwagala okungi kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okuwa obujulirwa obumukwatako. Wadde kiri bwe kityo, obuweereza bw’omu nnimiro tebuba bwangu eri abantu ba Katonda bangi. Mu kitundu ekirina omutwe “Okwagala Katonda Kutukubiriza mu Buweereza Bwaffe,” yiga engeri bangi gye bavvuunuseemu ensonyi n’ebizibu ebirala okusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu guno.
Emitindo gy’ensi egigenda giddirira gitukolako ki? Enneeyisa ezaali zitwalibwa okubeera embi kati zitwalibwa ng’empisa eza bulijjo. Emboozi erina omutwe “Abaagala Yakuwa Mukyawe Ekibi” era ne symposium “Ebiri mu Nsi—Tubitunuulira Tutya?” ejja kwongera okunyweza obumalirivu bwaffe okugamba nti nedda eri okwegomba okubi.
Essomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza eby’okulabirako, nabyo bijja kubeeramu mu programu, awamu n’okuwumbawumbako ekitundu ekisomebwa mu Omunaala gw’Omukuumi wiiki eyo. Okwogera kwa bonna, okulina omutwe “Engeri Okwagala n’Okukkiriza gye Kuwangulamu Ensi,” kujja kutukubiriza okukoppa Yesu mu kuziyiza okupikirizibwa kw’ensi. (Yok. 16:33) Kakasa nti oyita b’osoma nabo Baibuli babeerewo. Abo bonna abandyagadde okubatizibwa basaanidde okutegeeza omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde amangu ddala nga bwe kisoboka enteekateeka zisobole okukolebwa.
Olukuŋŋaana luno olwa circuit, lujja kutwoleka bulungi wa okwagala kwaffe we kulina okubeera okusobola okunyumirwa emikisa gya Yakuwa. Tosubwa kitundu kyonna!