LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 7/02 lup. 1
  • Programu Empya ey’Olukuŋŋaana Lw’Ekitundu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Programu Empya ey’Olukuŋŋaana Lw’Ekitundu
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Similar Material
  • Osobola Okwesiga Bakkiriza Banno
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Obwesige Bwetaagisa Okusobola Okuba n’Obulamu obw’Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Programu Empya ey’Olukuŋŋaana lwa Circuit
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Yakuwa Ayamba Abo Abamwesiga
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 7/02 lup. 1

Programu Empya ey’Olukuŋŋaana Lw’Ekitundu

1 Okusobola okubeera abanywevu mu kukkiriza mu nsi eno entabangufu, tuteekwa okwesiga Yakuwa. Ekyo tuyinza kukiraga tutya mu bulamu bwaffe? Okwesiga Yakuwa kutukwatako kutya awamu n’ab’omu maka gaffe? Kutuyamba kutya okuziyiza omwoyo gw’ensi ya Setaani? Programu y’olukuŋŋaana lw’ekitundu olw’omwaka 2003 eddamu ebibuuzo ebyo. Omutwe gwalwo guli nti “Weesigenga Yakuwa Okolenga Obulungi.”​—Zab. 37:3.

2 Tetulina kwesiga Yakuwa biseera bimu na bimu oba bwe tubeera mu bwetaavu obw’amaanyi. Tulina okumwesiga mu mbeera z’obulamu bwaffe zonna. Kino kijja kuteekebwako nnyo essira mu mboozi esooka, ejja okuba n’omutwe, “Weesigenga Yakuwa Ebiseera Byonna.” (Zab. 62:8) Emboozi ezikwatagana ez’ebitundu ebina nga zirina omutwe “Okuteeka Obwesige Bwaffe mu Yakuwa” zijja kutulaga engeri y’okuzuula era n’okussa mu nkola okubuulirira okuva mu Baibuli okunaatuyamba okukola obufumbo obulungi, okugonjoola ebizibu ebiyinza okujjawo mu maka, n’okukola ku byetaago byaffe eby’omubiri.

3 Ensi ya Setaani egezaako okutukakaatikako endowooza yaayo enkyamu ekwata ku kituufu n’ekikyamu era eyagala okutubuzaabuza tuleme okutegeera ekisinga obukulu. (Is. 5:20) Emboozi ezirina emitwe “Mwekuume Okuwugulibwa Ebintu Ebitaliimu” ne “Mwewale Obubi​—Mubeere Bakozi ba Bulungi” zijja kunyweza obumalirivu bwaffe obw’okugoberera emitindo gya Yakuwa egya waggulu.​—Am. 5:14.

4 Yakuwa bw’anaaba azikiriza omulembe guno omubi, abaweereza be bajja kwetaaga okumwesiga mu bujjuvu. Ekyo kijja kulagibwa mu kwogera kwa bonna okunaaba n’omutwe “Okununulibwa mu Kubonaabona kw’Ensi Kusembedde.” Oluvannyuma lw’okwogera okwo, tujja kukubirizibwa okwekebera mu mboozi ennaddako erina omutwe “Onoosaanira Okubeera mu Bwakabaka bwa Katonda?” Olukuŋŋaana olwo lujja kukomekkerezebwa n’emboozi erina omutwe “Weesigenga Ebisuubizo bya Yakuwa.”

5 Emboozi y’okubatizibwa, mboozi nkulu ebeerawo mu buli lukuŋŋaana lw’ekitundu. Oyo yenna ayagala okubatizibwa, ategeeze omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde amangu ddala nga bwe kisoboka enteekateeka ezeetaagisa zisobole okukolebwa.

6 Mu biseera bino ebizibu, Yakuwa ye yekka gwe tuyinza okwesiga. (Zab. 118:8, 9) Ka ffenna tunyweze obwesige bwe tumulinamu nga tubeerawo mu lukuŋŋaana lw’ekitundu lwonna.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share