Yakuwa Ayamba Abo Abamwesiga
1 Abantu bangi batwala sente, obuyinza, ne talanta zaabwe ng’ebintu ebyetaagisa ennyo okusobola okutuuka ku buwanguzi. (Zab. 12:4; 33:16, 17; 49:6) Kyokka, abo abatya Yakuwa era ne bamwesiga Baibuli ebakakasa nti ‘ye mubeezi waabwe, era ye ngabo yaabwe.’ (Zab. 115:11) Ka twekenneenyeyo engeri bbiri mwe tuyinza okwolekera nti twesiga Yakuwa.
2 Ng’Abaweereza Abakristaayo: Buli lwe tuwa emboozi mu kibiina oba bwe tuyigiriza abantu mu nnimiro, tulina okwesiga Katonda. Lowooza ku kyokulabirako kya Yesu. Wadde nga yali Mwana wa Katonda, teyeesiga magezi ge oba obusobozi bwe, wabula yeesigira ddala Kitaawe ow’omu ggulu. (Yok. 12:49; 14:10) Ffe tetwandisinzeewo nnyo okwesiga Kitaffe ow’omu ggulu! (Nge. 3:5-7) Yakuwa bw’atuwa emikisa, tuba tusobola okumuweesa ekitiibwa n’okuganyula abalala.—Zab. 127:1, 2.
3 Tulaga nti twesiga Yakuwa bwe tumusaba okutuwa obulagirizi era n’obuyambi bw’omwoyo gwe omutukuvu. (Zab. 105:4; Luk. 11:13) Okugatta ku ekyo, tulaga nti twesiga Yakuwa bwe twesigamya bye tuyigiriza ku Kigambo kye Baibuli. Obubaka obukirimu busobola okukwata ku mitima gy’abantu ne bubayamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. (Beb. 4:12) Bwe ‘tuweereza Yakuwa nga twesigama ku maanyi g’atuwa,’ agulumizibwa.—1 Peet. 4:11.
4 Okukola ku Bizibu: Ate era twetaaga okwesiga Yakuwa bwe twolekagana n’ebizibu. (Zab. 46:1) Ng’ekyokulabirako, oyo gwe tukolera ayinza obutaagala kutuwa lukusa kugenda mu lukuŋŋaana olunene, oba tuyinza okwolekagana n’ebizibu mu maka. Tulaga nti twesiga Yakuwa nga tunyiikirira okusaba era n’okussa mu nkola obulagirizi bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye n’ekibiina. (Zab. 62:8; 119:143, 173) Bwe bakola bwe batyo, abaweereza ba Yakuwa bafuna obuyambi bwe mu bulamu bwabwe.—Zab. 37:5; 118:13, 16.
5 Yakuwa kennyini atukakasa bw’ati: “Alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, era Mukama lye ssuubi lye.” (Yer. 17:7) Ka tulage nti twesiga Yakuwa mu byonna bye tukola!—Zab. 146:5.