Fuba Okukuuma Ebirowoozo Byo
1. Olukuŋŋaana lw’ekitundu olw’omwaka gw’obuweereza ogwa 2013 lujja kuba na mutwe ki, era lunaatuyamba lutya?
1 Yesu yalagira abayigirizwa be okwagala Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna, n’obulamu bwabwe bwonna, n’amagezi gaabwe gonna. (Mat. 22:37, 38) Olukuŋŋaana lwa disitulikiti, olukuŋŋaana lw’ekitundu, n’olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu, zitegekeddwa okutuyamba okufaayo ennyo ku ekyo kye tuli munda. Olukuŋŋaana lwa disitulikiti lulina omutwe ogugamba nti “Kuumanga Omutima Gwo!” Olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu olw’omwaka gw’obuweereza ogwa 2013 lujja kuba n’omutwe ogugamba nti “Fuba Okuuma Omuntu Wo ow’Omunda.” Ate lwo olukuŋŋaana lw’ekitundu olujja okutandika mu mwezi ogujja lujja kuba n’omutwe ogugamba nti “Fuba Okukuuma Ebirowoozo Byo,” nga gwesigamiziddwa ku Matayo 22:37. Programu eno etegekeddwa okutuyamba okwekebera okukakasa nti ebyo bye tulowooza bisanyusa Yakuwa.
2. Bibuuzo ki ebinaddibwamu mu lukuŋŋaana lw’ekitundu?
2 Ebibuuzo Ebinaddibwamu: Bwe tunaaba tugenze mu lukuŋŋaana lw’ekitundu tusaanidde okussaayo omwoyo ng’ebibuuzo bino ebikulu biddibwamu:
• Tuyinza tutya okwewala okuba ‘n’endowooza z’abantu’?
• Tuyinza tutya okuyamba abantu abazibiddwa amaaso mu by’omwoyo?
• Ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo?
• Miganyulo ki egiri mu kufumiitiriza ku bintu ebirungi?
• Tuyinza tutya okuleka Yakuwa okutereeza endowooza yaffe?
• Kiki abaami, abakyala, abazadde, n’abaana kye bayinza okukola okusobozesa amaka okubaamu essanyu?
• Tuyinza tutya okwetegekera olunaku lwa Yakuwa?
• Okuteekateeka ebirowoozo byaffe okukola emirimu kitegeeza ki?
• Abo abakolera ku ebyo bye bayiga bafuna miganyulo ki?
3. Lwaki kikulu okubaawo ku nnaku zombi ez’olukuŋŋaana, okussaayo omwoyo, n’okukolera ku ebyo by’onooba oyize?
3 Sitaani afuba nnyo okwonoona ebirowoozo byaffe. (2 Kol. 11:3) Eyo ye nsonga lwaki tuteekwa okukuuma ebirowoozo byaffe n’okubifuga. Kitwetaagisa okweyongera okwoleka endowooza ya Kristo n’okufuba okwewala endowooza y’ensi eno embi. (1 Kol. 2:16) N’olwekyo, kola enteekateeka osobole okubaawo ku nnaku zombi ez’olukuŋŋaana lw’ekitundu. Ssaayo omwoyo. Bw’onookolera ku ebyo by’onooba oyize kijja kukuyamba okuteekateeka ebirowoozo byo osobole okukola omulimu gw’Obwakabaka n’obunyiikivu.—1 Peet. 1:13.