Okwejjukanya kw’Essomero ly’Obuweereza Bwa Teyokulase
Okwejjukanya ebibadde mu Ssomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase okuva mu wiiki eya Jjanwali 3 okutuuka Apuli 17, 2000. Kozesa olupapula olulala okuwandiikako eby’okuddamu mu bibuuzo bingi nga bw’osobola mu kiseera ekikuweereddwa.
[Weetegereze: Mu kwejjukanya kuno, Baibuli yokka y’eyinza okukozesebwa mu kuddamu ebibuuzo. Ebitabo ebijuliziddwa oluvannyuma lw’ebibuuzo bya kweyambisibwa ng’onoonyereza. Olupapula n’akatundu Watchtower w’ejulizibwa biyinza obutalagibwa.]
Bino ebiddirira ddamu nti Kituufu oba Kikyamu:
1. Ebiseera ebimu tuteekwa okulindirira emikisa gya Yakuwa, okuva Yakuwa bw’amanyi embeera yaffe era ng’atuwa kye twetaaga mu kiseera we kinaasingira okuba eky’omuganyulo gye tuli. (Zab. 145:16; Yak. 1:17) [w98 1/1 lup. 23 kat. 6]
2. Okubeerawo kw’essanduuko ey’endagaano ku bwakyo tekwakakasanga Baisiraeri buwanguzi. Emikisa gya Yakuwa gyali gyesigamye ku nnyimirira ey’eby’omwoyo era n’obuwulize bw’abo abalina essanduuko. (Yos., ssuul. 7) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba it-1 lup. 167 kat. 2.]
3. Leero tuliisibwa mu by’omwoyo nga tusoma busomi Yakuwa bye yayogera. (Ma. 8:3) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w85 6/15 lup. 17 but. 15, 17.]
4. Omusingi oguli mu Mateeka ga Musa mu Ekyamateeka 23:20 gulaga nti tekiba kya kwagala Omukristaayo okusaba amagoba ng’awola ssente. [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba it-1 lup. 1212 kat. 5; it-2 lup. 259 kat. 11; w86 10/15 lup. 12 kat. 9.]
5. Lipoota ennungi eya Yoswa ne Kalebu yali yeesigamye ku bwesige bwe baalina mu busobozi n’obumalirivu bw’Abaisiraeri okuvvuunuka ebizibu byonna ebyali bibaziyiza okulya Ensi Ensuubize. (Kubal. 13:30) [w98 2/1 lup. 5 kat. 4]
6. Bwe yayogera ku ‘kirabo’ mu 1 Timoseewo, Pawulo yali ajjukiza Timoseewo nga bwe yafukibwako omwoyo omutukuvu era n’ekirabo eky’omu ggulu ekyali kimulindiridde. (1 Tim. 4:14) [w98 2/15 lup. 25 kat. 1]
7. Ekitabo kya Yoswa tekiriimu kintu kyonna ekikwata ku lunyiriri olwavaamu Ezzadde ly’Obwakabaka. [si lup. 46 kat. 24]
8. Ekitabo kya Ekyabalamuzi kyogera ku basajja abaalondebwa era ne bateekebwawo Abaisiraeri okufuga eggwanga eryo ng’omulembe gwa bakabaka tegunnatuuka. [si lup. 46 kat. 2]
9. Okusaba kwa Gidyoni, okwogerwako mu Ekyabalamuzi 6:37-39, kulaga nti yeegendereza era ne yeekengera ekisukkiridde. [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w88 4/1 lup. 30 kat. 6.]
10. Bwe yalagira abayigirizwa be ‘obutalamusa muntu mu kkubo’ Yesu yali aggumiza obukulu bw’omulimu gw’okubuulira n’obwetaavu bw’okwemalira mu bujjuvu ku mulimu guno ogusingirayo ddala obukulu. (Luk. 10:4) [w98 3/1 lup. 30 kat. 5]
Ddamu ebibuuzo bino ebiddirira:
11. Lwaki kikulu ebigambo bya Yakuwa okubeera ku mitima gy’abazadde? (Ma. 6:5, 6) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w98 6/1 lup. 20 kat. 4.]
12. Omutwe gw’amaka ayinza atya okweyambisa omusingi oguli mu Ekyamateeka 11:18, 19? [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba fy-LU lup. 70 kat. 14.]
13. Kiki mu Byawandiikibwa ekiraga nti Onnessimo, omuddu oyo eyadduka, yali abadde n’omutume Pawulo okumala ekiseera nga Pawulo tannawandiikira Firemooni? [w98 1/15 lup. 30 kat. 2]
14. Bwe tulaba obutali bwenkanya oba bwe bututuukako ffe ffennyini, kiki kye tuyinza okukola tuleme kuggwaamu maanyi oba okufuna endowooza embi? [w98 2/1 lup. 6 but. 2-3]
15. Yoswa ne Gidyoni baalaga batya nti bassa nnyo ekitiibwa mu mateeka ga Katonda? (Ma. 20:8, 15-18) [si lup. 41 kat. 32]
16. Ebyogerwako mu Yoswa 10:10-14 bituukagana bitya n’ebyo ebisuubirwa okubaawo ku Kalumagedoni? [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w86 12/15 lup. 23 kat. 12–lup. 24 kat. 14.]
17. Menya emiganyulo esatu egy’okutendereza empisa z’omuntu ennungi mu bwesimbu. (Geraageranya Engero 15:23.) [w98 2/1 lup. 31 but. 5-6]
18. Nga kituukagana ne Yoswa 20:4, omuntu addukira atya mu kibuga eky’okuddukiramu eky’akabonero? [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w86 12/15 lup. 24 kat. 16.]
19. Ekyabalamuzi 5:31 lulaga lutya nti obuwanguzi bwa Omulamuzi Balaki ku magye ga Sisera ag’amaanyi mu kiwonvu kya Kisoni kirina amakulu mu kiseera kyaffe? [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w86 2/15 lup. 21 kat. 4.]
20. Tuyinza tutya okugoberera omusingi oguli mu bigambo nti “ne bayimirira buli muntu mu kifo kye” ebiri mu Ekyabalamuzi 7:21? [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w82 6/1 lup. 25 kat. 17.]
Wa ekigambo oba ebigambo ebyetaagibwa okumalayo mu bujjuvu ebigambo ebiddirira:
21. Okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa mu bujjuvu, tuteekwa okweyongera ․․․․․․․․ n’okwegayirira Yakuwa atuyambe ․․․․․․․․ enjigiriza z’Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. (1 Tim. 4:8, 9) [w98 1/1 lup. 24 kat. 6]
22. Okuwaanawaana omuntu tekusanyusa Yakuwa n’akamu kubanga kukubirizibwa ․․․․․․․․, tekuba kwa ․․․․․․․․, era si kwa ․․․․․․․․, ate n’okusinga byonna, tekuba kwa ․․․․․․․․ . [w98 2/1 lup. 30 but. 2-3]
23. Erinnya Yoswa litegeeza “․․․․․․․․,” era yali asonga ku ․․․․․․․․. [si lup. 42 but. 5]
24. Nga kituukagana n’olugero lwa Yesu mu Matayo 7:24-27, abazadde ab’amagezi bayinza okuyamba abaana baabwe obutekkiriranya nga boolekaganye n’okunyigirizibwa okulinga omuyaga nga babawa ․․․․․․․․ okunaabayamba okusigala nga ․․․․․․․․. [w98 2/15 lup. 9 kat. 1]
25. Ebiwandiiko by’ebyafaayo ebiri mu kitabo kya Ekyabalamuzi bikwata ku kiseera okuva ku kufa kwa ․․․․․․․․ okutuuka ku kiseera kya ․․․․․․․․, nga kizingiramu emyaka ․․․․․․․․ [si lup. 47 but. 5]
Londako eky’okuddamu ekituufu mu bigambo ebiddirira:
26. Okukola enteekateeka ezikwata ku ngeri ebintu byo gye binaakolebwako ng’ofudde (nsonga ya kibiina; nsonga yo ku bubwo; kisaanyizo eri Abakristaayo ab’amazima). (Bag. 6:5) [w98 1/15 lup. 19 kat. 6]
27. Pawulo yakubiriza Firemooni okwaniriza obulungi (Onamu; Onesiforo; Onnessimo) naye teyakozesa buyinza bwe ng’omutume okumulagira okukikola oba okuwa omuddu we eddembe. (Fir. 21) [w98 1/15 lup. 31 kat. 1]
28. Ensobi ey’amaanyi eyakolebwa abagenge Yesu be yawonya bwe (butakkiriza; bujeemu; butasiima) bwabwe. (Luk. 17:11-19) [w98 2/15 lup. 5 kat. 1]
29. Okuva Katonda bwe yasiima ekkubo lya Lakabu, ebigambo bye eri abantu b’omu Yeriko abaali bawondera Abaisiraeri abakessi biraga nti (kiri gye tuli okusalawo obanga tunaalimba; omuntu talina kubikkula mazima eri abo abatagwanidde kugawulira; yali tannakyusa ngeri ze zonna ez’ensi). (Yos. 2:3-5; geraageranya Abaruumi 14:4.) [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w93 12/15 lup. 25 kat. 1.]
30. Nga bwe kiri mu Yokaana 13:5, essomo Yesu ly’ayigiriza lyoleka (ekisa; okulumirirwa abalala; obwetoowaze), ekireetera omuntu okukolera abalala emirimu egisingayo okuba egya wansi. [w98 3/15 lup. 7 kat. 6]
Kwataganya ebyawandiikibwa ebiddirira n’ebigambo ebiweereddwa wammanga: Ma. 7:3, 4; 17:7; 25:11, 12; 28:3; Yer. 15:20
31. Ekitiibwa Omutonzi ky’awa ebitundu eby’obuzadde Omukristaayo yandikirowoozezzaako ng’asalawo engeri esaanira ey’okwegema okuzaala. [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w99 6/15 lup. 28 but. 1-4.]
32. Tuyinza okuba n’obwesige mu buwagizi bwa Yakuwa nga tutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. [w98 3/1 lup. 28 kat. 1]
33. Okugoberera okulabula kwa Baibuli kutuwonya eby’obulumi ebitera okubaawo Omukristaayo bwe yeegatta n’atali mukkiriza. [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w89 11/1 lup. 20 kat. 11.]
34. Okufuna emikisa gya Katonda tekyesigama ku kifo gye tubeera oba ku nkizo gye tulina mu kuweereza Katonda. [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba w96 6/15 lup. 15 kat. 15.]
35. Ng’alaga ky’asinziirako okuwa ebiragiro ebiri mu 1 Abakkolinso essuula 5 ebikwata ku kugoba mu kibiina, Pawulo ajuliza Amateeka ga Yakuwa. [Okusoma Baibuli okwa wiiki; laba si lup. 213 kat. 24.]