LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 10/00 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Subheadings
  • Wiiki Etandika Okitobba 9
  • Wiiki Etandika Okitobba 16
  • Wiiki Etandika Okitobba 23
  • Wiiki Etandika Okitobba 30
  • Wiiki Etandika Noovemba 6
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 10/00 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Okitobba 9

Oluyimba 11

Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.

Ddak. 12: “Ssaayo Ebirowoozo ku Bikolwa bya Katonda eby’Ekitalo.” By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukozese ebibuuzo n’okuddamu. Yogera ku byokulabirako ebitonotono ebiri mu kitabo ekippya ebituleetera okusiima obunnabbi bwa Isaaya.

Ddak. 25: “Olwasa Oluppya​—Osuubira Ki mu Biseera eby’Omu Maaso?” Okukubaganya ebirowoozo okw’ebbugumu okw’omulabirizi w’obuweereza. Oluvannyuma lw’okusoma ekirango ekiri mu bbaluwa eyaweerezebwa abakadde okuva ku Sosayate eya Jjulaayi 3, 2000, buli omu aliwo mugabire kopi ya Amawulire g’Obwakabaka Na. 36. Oluvannyuma weeyongere mu maaso okukubaganya ebirowoozo ku kitundu ng’okozesa ebibuuzo n’okuddamu. Yogera ku nteekateeka yammwe ey’okukola mu kitundu kyammwe kyonna eky’okubuuliramu. Yogera ku ngeri y’okuyambamu abappya n’abaana okutuukiriza ebisaanyizo eby’okubeera ababuulizi abatali babatize. Lagayo ekyokulabirako ekiri mu bufunze. Ggumiza obuvunaanyizibwa buli omu bw’alina okwennyigira mu kaweefube oyo mu bujjuvu.

Oluyimba 53 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Okitobba 16

Oluyimba 104

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Ababuulizi bajjukize nti ku wiikendi magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! za kugabibwa wamu ne Amawulire g’Obwakabaka Na. 36.

Ddak. 15: “Ebikozesebwa Ebiyigiriza, Ebizzaamu Amaanyi era Ebinyweza” (Akatundu akasooka n’akokubiri bwokka.) Kwogera. Mu bufunze yogera ku byafaayo bya Sosayate eby’okutandika okufulumya entambi za vidiyo. (Laba ekitabo Proclaimers, empapula 600-601.) Kubiriza buli omu okulaba vidiyo Jehovah’s Witnesess​—The organization Behind the Name nga beetegekera okukubaganya ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu wiiki eya Okitobba 30. Abo abalina vidiyo bayinza okugirabira awamu n’abalala abatagirina. Vidiyo we zitali, ebibiina biyinza okukozesa ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 20: Ffenna Tuyinza Okwoleka Omwoyo gw’Obwa Payoniya. Okukubaganya ebirowoozo wakati w’akubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina n’omubeezi we, okwesigamiziddwa ku Watchtower aka Okitobba 15, 1997, empapula 22-3. Boogera ku nsonga lwaki kyandibadde kizzaamu amaanyi okubeera ne bapayoniya abasingawo mu kibiina era n’engeri bonna gye bayinza okuwagiramu ekiruubirirwa kino. Era bakubaganya ebirowoozo ku ngeri z’okukubirizzaamu abo abakola nga bapayoniya kati okweyongerayo mu maaso era n’engeri bonna abali mu kibiina gye bayinza okukulaakulanyamu obunyiikivu mu buweereza.

Oluyimba 131 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Okitobba 23

Oluyimba 150

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina n’Akasanduuko k’Ebibuuzo.

Ddak. 20: Weeteekereteekere Bulungi Enkuŋŋaana. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza. Emiganyulo gye tufuna okuva mu nkuŋŋaana gyesigamye nnyo ku kufuba kwaffe okuzeeteekerateekera. Yogera ku magezi agaaweebwa mu Watchtower, aka Maaki 1, 1998, empapula 15-16, obutundu 8-11. Saba abakuwuliriza boogere ku ngeri gye basoboddemu okubaako kye bakola n’okufuna ebiseera eby’okutegeka obulungi.

Oluyimba 211 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Okitobba 30

Oluyimba 167

Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Ababuulizi bajjukize okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Okitobba.

Ddak. 12: Ebyokulabirako Ebikwata ku Kugaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36. Saba ababuulizi ab’enjawulo boogere ku bintu ebizzaamu amaanyi bye baakafuna mu kugaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36. Saba bapayoniya aba bulijjo n’abawagizi balage okusiima kwabwe eri omulimu ogweyongedde mu kaweefube ono era n’omukisa gwe balina ogw’okukola n’ababuulizi bangi ab’enjawulo.

Ddak. 25: Jehovah’s Witnesses​—The Organization Behind the Name. Okukubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza. Yogera ku bibuuzo ebiri ku lupapula 3 wansi w’omutwe ogugamba nti “Ebikozesebwa Ebiyigiriza, Ebizzaamu Amaanyi era Ebinyweza.” Bawe amagezi ku ngeri vidiyo gy’eyinza okukozesebwamu okuyamba abo abaagala amazima okumanya obulungi entegeka ya Yakuwa. Waayo ekyokulabirako kimu oba bibiri ebiri mu bufunze.​—Laba Watchtower, aka Okitobba 1, 1992, empapula 30-1.

Oluyimba 15 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Noovemba 6

Oluyimba 198

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Yogera ku ngeri okugaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 gye kugendamu. Wa lipoota ekwata ku kitundu ekimaze okukolebwamu bwe kyenkana era n’ekineetaagisa okumalirizibwa nga Noovemba 17 terunnatuuka.

Ddak. 20: Biki Bye Tukkiriza? Ow’oluganda okola okuddiŋŋana ku muntu eyabuuza, “Biki Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza ekibafuula ab’enjawulo okuva ku madiini amalala?” Kubaganya ebirowoozo ku nsonga eziri mu kasanduuko mu Watchtower aka Okitobba 1, 1998, ku lupapula 6. Nnyonnyola engeri amadiini amalala gye gabuusaamu amaaso oba gye gagaanamu amazima gano amakulu ag’omu Baibuli ne gagoberera enjigiriza z’abantu.

Ddak. 10: Okuyimba​—Kitundu Kikulu Nnyo eky’Okusinza Kwaffe. Akubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina anyumyamu n’ababuulizi babiri ku kuyimba kwabwe mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Akyetegereza nti okuyimba kwabwe kulabika ng’okuddiriddemu. Abategeeza ku nsonga ezimu okuva mu Watchtower, aka Febwali 1, 1997, empapula 27-8. Beekenneenya ebigambo ebiri mu luyimba olumu ku ezo ez’okuyimbibwa mu Kusoma Omunaala gw’Omukuumi aka wiiki eyo, nga bagoberera amagezi agaaweebwa mu Omunaala gw’Omukuumi, aka Jjulaayi 1, 1999, olupapula 30, akatundu 12. Bwe tutwala okuyimba ng’ekikulu, twongera amaanyi mu kutendereza Yakuwa n’omutima ogusiima.

Oluyimba 223 n’okusaba okufundikira.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share