Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Noovemba: Okugaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 kujja kweyongera mu maaso. Ebibiina ebinaamaliriza okukola mu kitundu kyabwe nga batuukirira buli maka ne tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 bayinza okugaba brocuwa Atwetaagisa oba akatabo Okumanya. Abantu bwe baba nga baamala dda okubifuna, akatabo Okuba Omulamu oba akatabo Creation kayinza okukozesebwa. Ddesemba: Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo ne New World Translation. Jjanwali: Akatabo konna ak’empapula 192 akaakubibwa nga 1986 tegunnatuuka ekibiina kye kalina. Ebibiina ebirina ekitabo Mankind’s Search for God biyinza okukigaba. Febwali: Life—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation?, Revelation—Its Grand Climax At Hand!, oba akatabo konna akakadde ak’empapula 192 ekibiina kye kalina.
◼ Ebibinja by’ababuulizi abakoze entegeka okukola mu bitundu ebitagabwangamu mu myezi egijja, balina okutegeka okugaba brocuwa Atwetaagisa oba akatabo okumanya mu buweereza bw’ennimiro.
◼ Nga kaweefube w’okugaba Amawulire g’Obwakabaka awedde, ebibiina ebinaaba bikyalina Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 bayinza okukubiriza ababuulizi okubugaba mu ngeri y’emu gye bagabamu tulakiti—nnyumba ku nnyumba n’awalala wonna. Bwe kiba kisaanidde, ababuulizi bayinza okukaleka mu buli maka we baba tebasanze bantu, era basaanidde okukakasa nti tekalabibwa ababa bayitawo. Okufuba kwetaagisa okusobola okugaba kopi zonna ez’obubaka buno obukulu eziba zisigaddewo.
◼ Akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala gw’aba alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Ddesemba 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka oluvannyuma. Nga kino kimaze okukolebwa, mukirange eri ekibiina oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.
◼ Ebibiina byanditandise okulagiriza 2001 Yearbook of Jehovah’s Witnesses nga bisaba ebitabo mu Noovemba. Yearbook ejja kufunibwa mu Lufalansa, Lungereza, n’Oluwalabu . Okutuusa nga Yearbook emaze okuweerezebwa, tejja kuteekebwa ku foomu ebeerako ebitabo ebisindikibwa mu kibiina. Yearbook ziri mu tuluba ly’ebitabo ebisabibwa mu ngeri ey’enjawulo.
◼ Ebitabo Ebippya Ebiriwo:
Katonda Atwetaagisa Ki?—Ateso, Luganda, Luo, Runyankore, Rutoro,
◼ Ebitabo Ebiriwo:
Yesu Kristo—y’Ani? (Tulakiti Na. 24)—Lungereza, Luswayiri