Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Febwali 12
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Vidiyo The Bible—Mankind’s Oldest Modern Book ejja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu wiiki ya Febwali 26. Okukubaganya ebirowoozo kujja kwesigamizibwa ku bibuuzo ebiweereddwa ku lupapula 7 mu katabo kaffe kano aka Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.
Ddak. 15: “Gulumiza Yakuwa n’Ebikolwa Ebirungi.”a Gattako ebigambo ebiri mu kitabo Proclaimers olupapula 187, obutundu 2-3.
Ddak. 20: “Engeri y’Okusendasendamu Abalala.” Okukubaganya ebirowoozo wakati w’akubiriza Okuyiga Ekitabo okw’Ekibiina ne payoniya oba n’omubuulizi akola obulungi, okwesigamiziddwa ku kitundu ekyo awamu n’ensonga ezimu okuva mu Watchtower aka Maayi 15, 1998, empapula 21-3. Yogera ku kasanduuko akali ku lupapula 23, “Okutuuka ku Mutima gw’Omuyizi Wo.” Oluvannyuma lw’okumenya enzikiriza ez’obulimba ez’eddiini eziri mu kitundu kyammwe, mukubaganye ebirowoozo ku ngeri y’okumatizaamu omuntu ku ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eyo.
Oluyimba 208 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Febwali 19
Oluyimba 221
Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina, Amawulire ga Teyokulase n’Akasanduuko k’Ebibuuzo.
Ddak. 22: “Mumanyise Erinnya lya Yakuwa n’Ebikolwa Bye.”b Omukadde ayogera ku nteekateeka ez’enjawulo ezikolebwa mu kibiina kyammwe ez’okugaziya omulimu mu Maaki ne Apuli, awamu n’okufuba okuzzaamu amaanyi bangi nga bwe kisoboka okukola nga bapayoniya abawagizi. Funayo abamu abaakola nga bapayoniya mu Apuli eyayita boogere ku bumativu bwe baafuna. Essira lisse ku kuyamba buli mubuulizi atakyabuulira alina ebisaanyizo okuddamu okutwegattako mu buweereza awamu n’okuyamba abaana n’abayizi ba Baibuli abalala okufuna ebisaanyizo by’okukola ng’ababuulizi abatali babatize.—Laba Akasanduuko k’Ebibuuzo mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2000.
Oluyimba 27 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Febwali 26
Oluyimba 48
Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Ababuulizi bonna bajjukize okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Febwali.
Ddak. 12: Ebirowoozo eby’Ennyanjula y’Akatabo Okumanya. Olina ennyanjula z’onookozesa ng’ogaba akatabo Okumanya mu Maaki? Bw’otunuulira ku mpapula ez’emabega mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka obw’emabega, ojja kusangamu ebirowoozo by’oyinza okukozesa mu lukyala olusooka, nga bingi ku byo biyinza okukuyamba ng’okola okuddiŋŋana. Mwogere ku birowoozo bibiri oba bisatu ku ebyo ebyaweebwa. (Maaki, Jjuuni, Noovemba 1996; Jjuuni 1997; Maaki 1998) Laga ebyokulabirako ku birowoozo ebibiri ebyaweebwa mu katabo aka Noovemba 1996 ebikwata ku kutegeeza omuntu butereevu nti oyagala okumuyigiriza Baibuli. Kubiriza buli omu okufuba mu ngeri ey’enjawulo okufuna abayizi ba Baibuli abappya.
Ddak. 25: “Okukubiriza Okusiima Vidiyo The Bible—Mankind’s Oldest Modern Book.” Okukubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza ku bibuuzo ebiweereddwa ku lupapula 7. Ggumiza ensonga nti olw’okubaawo kkopi ezisukka mu bukadde 100 eziri mu bulambirira oba mu bitundu mu nnimi 37, New World Translation y’emu ku Baibuli ezisinze okubunyisibwa. Mu Apuli tujja kulaba vidiyo ey’okusatu eri mu tuluba lino, The Bible—Its Power in Your Life.
Oluyimba 64 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maaki 5
Oluyimba 81
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 18: “Yakuwa Awa Amaanyi.”c Saba abakuwuliriza boogere ku ngeri ebyawandiikibwa ebiri mu kitundu gye bitukwatako.
Ddak. 22: “‘Ebiro eby’Okulaba Ennaku’—Tuyinza Tutya Okubyaŋŋanga?” Kya kukubirizibwa omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde mu ngeri y’emboozi n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abayinza okuba nga bakozeewo enkyukakyuka mu ngeri y’obulamu bwabwe okusobola okwaŋŋanga ebiseera ebizibu.
Oluyimba 108 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obwa wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, oluvannyuma mukozese ebibuuzo n’okuddamu.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, oluvannyuma mukozese ebibuuzo n’okuddamu.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, oluvannyuma mukozese ebibuuzo n’okuddamu.