Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maaki: Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo ne United in Worship of the Only True God. Okufuba okw’enjawulo kujja kukolebwa okufuna abappya ab’okuyigiriza Baibuli mu maka gaabwe. Apuli ne Maayi: Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! We tusanze omuntu ayagala okumanya ebisingawo mu kuddiŋŋana, subscription eyinza okumuweebwa. Gaba ekitabo Okumanya oba brocuwa Atwetaagisa, n’ekigendererwa eky’okutandika okuyigiriza abantu Baibuli mu maka gaabwe. Jjuuni: Katonda Atwetaagisa Ki? oba Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Essira mulisse ku kufuna ab’okuyigiriza Baibuli mu maka gaabwe.
◼ Ababuulizi abaagala okukola nga bapayoniya abawagizi mu Apuli balina okukola enteekateeka zaabwe kati era baweeyo okusaba kwabwe nga bukyali. Kino kijja kusobozesa abakadde okukola enteekateeka ez’obuweereza bw’ennimiro ezeetaagisa era n’okufuna magazini n’ebitabo ebimala. Amannya g’abo bonna abakkiriziddwa okukola nga bapayoniya abawagizi galina okusomebwa eri ekibiina.
◼ Ekijjukizo kijja kubaawo ku Ssande, Apuli 8, 2001. Tewajja kuba nkuŋŋaana okujjako ezo ez’okugenda mu nnimiro ezinaabaawo ku lunaku olwo. Abakadde bayinza okukola enteekateeka ezisaanidde okusobola okusoma Omunaala gw’Omukuumi mu kiseera ekirala.
◼ Abo abakolagana n’ekibiina balina okuweereza subscription empya n’ezo ez’okuzzibwa obuggya eza Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! awamu ne subscription ezaabwe ku bwabwe okuyitira mu kibiina.
◼ Sosayate tekola ku kusaba kw’ababuulizi kinnoomu okw’ebitabo. Omukadde akubiriza akakiiko k’abakadde alina okukola enteekateeka ekirango kikolebwe buli mwezi ng’okusaba kw’ekibiina okw’ebitabo okwa buli mwezi tekunnaba kuweerezebwa ku Sosayate, kisobozese bonna abaagala okufuna ebitabo okutegeeza ow’oluganda akola ku bitabo. Musabibwa okumanya ebitabo ebisabibwa mu ngeri ey’enjawulo.
◼ Kiba kirungi ekibinja ky’abantu 20 oba abasukkawo abateekateeka okukyalira Beseri okusooka okutegeeza ofiisi mu buwandiike nga bukyali. Nga temunnakyala, musabibwa okusooka okwejjukanya ebiri mu Kasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Our Kingdom Ministry aka Maaki 1998 ku bikwata ku nnyambala ennungi n’engeri y’okwekolako nga mukyalira amaka ga Beseri.
◼ Waliwo ebiwandiiko eby’omu mateeka eby’okuyamba ababuulizi abalina emisango mu kkooti egikwata ku ani alina okusigaza abaana n’okubakyalira egireetera eddiini yaffe okuvvumibwa. Ebiwandiiko ebyo birina kusabibwa kakiiko k’abakadde kokka singa kirabika nti omusango gukwata ku nzikkiriza z’eddiini y’omubuulizi. Abo aboolekaganye n’emisango egikwata ku kusigaza abaana oba okubakyalira mu nsonga ezitali za dddiini, bayinza okufuna obuyambi mu Awake! aka Ddesemba 8, 1997, empapula 3-12; Awake! aka Okitobba 22, 1988, empapula 2-14; ne mu kipande ekiri mu Awake! aka Apuli 22, 1991, olupapula 9.
◼ Okujjukiza: Tekisaana okulekako akasimu ak’omu ngalo ng’oli mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene. Tetwagala kuwugula bawuliriza mu ngeri yonna okuva ku programu ey’eby’omwoyo etegekeddwa mu kiseera ekyo.
◼ Ekirango ekyali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2001 kyandibadde bwe kiti: Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo—Olukyayina olugonzeddwamu (Lupinyini). Ebitabo by’Olukyayina olugonzeddwamu (Lupinyini) birimu ebigambo by’Olukyayina olugonzeddwamu awamu n’obubonero bw’okwatula Olupinyini. Ebitabo bino bya mugaso nnyo eri abo abayiga okusoma Olukyayina Olumandarini.
◼ Ebitabo Ebippya Ebiriwo:
Bible Topics for Discussion—Luhamuhariki
Pay Attention to Daniel’s Prophecy!—Lutigirinya
Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?—Luganda, Luzande
Katonda Atwetaagisa Ki?—Olukyayina Olugonzeddwamu (Lupinyini)