Weeyise Bulungi Otenderezebwe!
1 “Balina obukkakkamu bwe sirabangako mu bantu balala.” “Kisanyusa okubeera n’abantu bano.” Ebigambo ebirungi bingi ebifaananako bwe biti byayogerwa abantu abaatulaba ku nkuŋŋaana za district ez’omwaka oguwedde, nga kiraga empisa ennungi ze tulina ng’entegeka. (Nge. 27:2; 1 Kol. 4:9) Okusingira ddala, okutendereza okwo kugenda eri Yakuwa. (Mat. 5:16) Omukisa omulala ogw’okutenderezesa Katonda gutuli mu maaso awo mu Lukuŋŋaana lwa District olw’omwaka guno olwa “Abayigiriza Ekigambo kya Katonda.”
2 Buli mwaka tufuna okujjukizibwa okulungi okukwata ku nneeyisa ezisaanidde nga tuli mu lukuŋŋaana olunene. Lwaki? Kubanga tetwagala kutwalirizibwa ng’endowooza, ennyambala, n’enneeyisa eby’ensi byeyongera okwonooneka. Tetwagala mpisa zaffe nnungi kwonooneka. (Bef. 2:2; 4:17) Ka tulowooze ku kulabula kuno wammanga.
3 Weeyise Bulungi ng’Oli mu Wooteeri ne mu Bisulo by’Amasomero: Tumanyiddwa ng’abantu abeesigwa. (Beb. 13:18) Bwe kityo, tuteekwa okwogera amazima nga tuwaayo omuwendo gw’abo abanaabeera naffe mu bifo gye tunaasula. Tetuteekwa kufumbira mu kisenge bwe kiba nga tekikkirizibwa. Maneja omu yagamba nti yakendeereza ku Bajulirwa ba Yakuwa ssente ez’okusasulira ebisenge kubanga ettawulo tezitwalibwa ne kiba nga kimwetaagisa okuzizzaawo. Akimanyi nti ekifo kijja kukuumibwa bulungi. Mazima ddala tetwanditutte bintu bya mu wooteeri. Okwawukana ku ekyo, bw’eba nga y’empisa y’omu kitundu, baako k’olekawo okulaga nti osiimye ebikukoleddwa. Buli kiseera weeyise bulungi era kolagana bulungi n’abakozi ba wooteeri oba ab’oku ssomero.
4 Abatulaba bawuniikirira bwe balaba abaana baffe nga beeyisa bulungi. (Bef. 6:1, 2) Abazadde musabibwa okulabirira abaana bammwe baleme okutawaanya abalala, ne mu kiseera ekyo nga bali mu wooteeri oba mu ssomero erisuliddwamu. Bonna bandyewaze okukuba enzigi oba okuleekaana, nnaddala ekiro.
5 Tuyinza okweyisa obulungi nga tufaayo ku bantu abatali Bajulirwa abakozesa ekifo kye kimu. Tetwandikitutte nti amateeka n’enkola ey’ekifo ekyo tebitukwatako.
6 Weeyise Bulungi ng’Oli mu Kifo Awali Olukuŋŋaana: Kirabiddwa nti ab’oluganda abamu bagaana okukolagana obulungi n’ab’oluganda abaaniriza, era nga batuuka n’okwogera nabo mu ngeri etali ya Kikristaayo. Goberera obulagirizi bw’ab’oluganda era tosimba kidduka kyo w’otasaanidde kukisimba. Mazima ddala endowooza ey’okwefaako tekwawulawo ng’omuntu eyeeyisa obulungi, era tetenderezesa Yakuwa Katonda. N’olwekyo, ffenna ka twoleke okwagala, obugumiikiriza n’okukolaganira awamu obulungi.—Bag. 5:22, 23, 25.
7 Bwe tuba tunoonya ekifo we tunaatuula, ffe ng’ab’oluganda, twandibadde tetudduka buddusi wadde okusindikagana nga tunoonya ebifo “ebisingayo obulungi” eby’okutuulamu. Tuyinza n’okwetuusaako ebisago olw’enneeyisa ng’ezo. Wadde nga twaweebwa amagezi okuleeta emmere entonotono ey’okulya nga tuwumuddemu, tekisaanira okussa emmeeza emmotoka we zisimba olw’okugabula ekijjulo eky’amaanyi.
8 Tweyise Bulungi mu Ngeri Gye Twambalamu ne Gye Twekolako: Oluvannyuma lw’Olukuŋŋaana olunene omwaka oguwedde, omukuŋŋaanya w’olupapula lw’amawulire yawandiika: “Ekyali kisinga okuwuniikiriza ye nneeyisa y’Abajulirwa ba Yakuwa. Nga kyali kisanyusa nnyo okulaba abantu abangi bwe batyo nga beeyisa mu ngeri eweesa ekitiibwa. Nga bonna bambadde bulungi, ebikumi n’ebikumi by’amaka okuva mu mawanga agatali gamu baakuŋŋaanira mu kisaawe. Enneeyisa yaabwe yali eyawukana nnyo okuva ku y’abantu abakuŋŋaanira mu kifo ekyo. Mazima ddala, Abajulirwa baawukana nnyo ku bantu bangi okutwalira awamu. Kifuuse kya bulijjo okulaba abantu abeeyisa obubi mu lujjudde. . . . Mazima ddala ekibinja ekinene eky’Abajulirwa kizzaamu nnyo amaanyi.” Ka tuleme kuleka ennyambala yaffe n’engeri gye twekolako oba enneeyisa okwonoona embeera ennungi ey’olukuŋŋaana olunene.—Baf. 1:10; 1 Tim. 2:9, 10.
9 Weeyise Bulungi mu Kiseera ky’Okubatizibwa: Abagenda okubatizibwa banditutte omukolo guno nga gwa kitiibwa nnyo. Okwambala olugoye olusigala mu mbeera ennungi wadde nga lutobye, kijja kulaga nti osiima obutukuvu bw’omukolo ogwo. Kyandibadde kiganyula nnyo singa abayigiriza Baibuli beekenneenya n’omuyizi waabwe ekitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekyali mu The Watchtower aka Apuli 1, 1995, nga tebannaba kugenda mu lukuŋŋaana olunene.
10 Enneeyisa yaffe ennungi ey’okutya Katonda ewa obujulizi ku nzikiriza yaffe ey’Ekikristaayo era eyinza okuleetera abantu ab’emitima emyesigwa okutegeera amazima. N’olwekyo, ka tweyongere ‘okweyisa obulungi’ tutenderezebwe nga tuli mu Lukuŋŋaana lwa District olwa “Abayigiriza Ekigambo kya Katonda.”—Bar. 13:3.