LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/01 lup. 7
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 5/01 lup. 7

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maayi: Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Mu kuddiŋŋana, bw’osanga anyumirwa okuzisoma, oyinza okumukolera enteekateeka ey’okuzifuna okuyitira mu poosita. Mugabire akatabo Okumanya oba brocuwa Atwetaagisa, ng’olina ekigendererwa eky’okutandika okumuyigiriza Baibuli mu maka ge. Jjuuni: Katonda Atwetaagisa Ki? oba Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Fuba okufuna b’oyigiriza Baibuli mu maka gaabwe. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa eziddirira ez’empapula 32 eyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, “Look! I Am Making All Things New,” Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Brocuwa A Book for All People, Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri? ne Will There Ever Be a World Without War? ziyinza okugabibwa we kisaanira. Akatabo Emyoyo Egitalabika, n’ekitabo Mankind’s Search for God ne Young People Ask nabyo bijja kugabibwa.

◼ Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu gw’aba alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Jjuuni 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka. Nga kino kimaze okukolebwa, kirangibwe eri ekibiina oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.

◼ Abayizi ab’omu Ssomero Eritendeka Abaweereza ery’omulundi ogw’ekkumi eryali mu Kenya baamaliriza emisomo gyabwe nga Ddesemba 17, 2000. Essomero lino likyeyongera okutendeka ab’oluganda abaagala okukola ekisingawo mu mulimu gw’amakungula. (Mat. 9:36, 37) Abakadde n’abaweereza abali obwannamunigina, nga bali wakati w’emyaka 23 n’emyaka 50, nga bamanyi Olungereza oba Olufalansa era nga baagala okugenda mu ssomero eryo, bayinza okubeerawo mu lukuŋŋaana lw’abo abaagala okugenda mu ssomero eryo olunaabaawo mu lukuŋŋaana lw’ekitundu olunaddako.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza