LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/01 lup. 7
  • Faayo ku Kugaba Magazini!

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Faayo ku Kugaba Magazini!
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 5/01 lup. 7

Faayo ku Kugaba Magazini!

1 Ensonga zino wammanga ziraga zitya nti tufaayo ku kugaba magazini?: (1) Buli mubuulizi asaanidde okulagiriza omuwendo ogusaanira . (2) Buli Lwamukaaga lutwale ng’Olunaku lw’Okugaba Magazini. (3) Kola enteekateeka ey’okubuulira nga mulimu okugaba magazini buli mwezi. (4) Kola enteekateeka ey’okubuulira embagirawo ng’okozesa magazini okutandika okunyumya n’abantu. (5)  Magazini ezirimu ebitundu ebitegekeddwa mu ngeri ey’enjawulo ennyo zitwalire bannabizinesi n’abakugu abalala be zikwatako abayinza okuzinyumirwa. (6) Z’ogabye zonna baako w’oziwandiika, era funa b’onootwaliranga magazini, ng’oddayo gye bali obutayosa okubatwalira ezaakafuluma. (7) Kozesa magazini enkadde zireme kwetuuma, era laga ebitundu ebiri mu magazini empya ebiyinza okuleetera abantu okwagala okuzisoma.

2 Ennyanjula ey’okugaba magazini eri mu bufunze: “Ekitundu kino ekiri mu Awake! kinnyonnyola bulungi ensonga eno.” Oluvannyuma somayo olunyiriri lumu oba bbiri mu kitundu ekyo. Bw’oba omaze, gamba: “Nga bwe kirabika nti ensonga eno ekukutte omubabiro, wandyagadde okusoma ekitundu kino awamu n’ebitundu ebirala ebirungi ebiri mu katabo kano aka Awake!? Bwe kiba bwe kityo, nja kuba musanyufu okukulekera magazini eno awamu ne ginnewaayo eyitibwa Omunaala gw’Omukuumi.” Nnyinimu bw’akkiriza okusigaza magazini ezo, kyandibadde kisaana okwogera mu ngeri efaananako bw’eti: “Omulimu gwaffe gukolebwa mu nsi yonna era guwagirwa mu ngeri y’okuwaayo kyeyagalire. Bw’oba ng’olina ky’oyagala okuwaayo, nja kuba musanyufu okukikkiriza.” Bw’asalawo okubaako ky’awaayo, mukwatire ebbaasa akiteekemu era mwebaze. Mukakase nti ky’awaddeyo kijja kukozesebwa okuwagira omulimu gw’ensi yonna. Bw’agamba nti talina ssente, tomugamba kukomyawo magazini ezo naye mukubirize azisome.

3 Bwe tuba nga tufaayo ku kugaba magazini, tetujja kulemererwa kusiga nsigo z’Obwakabaka nga tukozesa magazini zaffe. Naye kyetaagisa okukozesa amagezi nga tugaba magazini zaffe tuleme kuzoonoonera ku ‘ttaka eririmu enjazi.’ Abo abasiima amawulire amalungi ge tubatwalira baba basanyufu okusoma magazini era baba basanyufu okubaako kye bawaayo bwe baba nga basobola. (Mak. 4:5, 6, 16, 17) Geraageranya Matayo 10:42.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza