“Ekitundu Kyaffe Tukikozeemu Enfunda n’Enfunda!”
1 Wali olowoozezzaako nti ekitundu kyammwe kikoleddwamu emirundi mingi era nti temukyalimu ndiga? Oboolyawo obadde n’endowooza nti: ‘Mmanyi engeri abantu gye banaayanukulamu. Lwaki nneeyongera okugenda eri abantu abo abatayagala mazima?’ Kyo kituufu nti ebitundu bingi bikoleddwamu enfunda n’enfunda. Kyokka, ensonga eno erina okutunuulirwa obulungi. Lwaki? Weetegereze ensonga nnya eziweereddwa wammanga.
2 Okusaba Kwaffe Kuddiddwamu: Yesu yagamba: “Okukungula kwe kungi, naye abakunguzi be batono: kale musabe Mukama w’okukungula okutuma abakunguzi mu kukungula kwe.” (Luk. 10:2) Okumala amakumi g’emyaka, tubadde tusaba Yakuwa atuwe obuyambi. Mu bifo bingi kati, tufunye abakozi abasingawo, era ng’ebitundu ebyo bikolwamu enfunda n’enfunda. Okuba nti Yakuwa ayanukudde okusaba kwaffe tekyandituleetedde kusanyuka?
3 Obunyiikivu Buvaamu Ebibala Ebirungi: Wadde ne mu bitundu ebikolwamu enfunda n’enfunda, abantu basiima obubaka bw’Obwakabaka era bategeera amazima. N’olwekyo, tusaanidde okweyongera okubuulira nga tusuubira okusanga abalala ab’emitima emyesigwa. (Is. 6:8-11) Ng’abayigirizwa ba Yesu abaasooka bwe baakola, naawe ‘weeyongere okugenda’ eri abantu abali mu kitundu kyo, ng’ofuba okubaagazisa Obwakabaka bwa Katonda.—Mat. 10:6, 7, NW.
4 Mu Portugal, ebibiina bingi bibuulira ebitundu byabyo byonna mu wiiki emu. Naye era bakyasanga abalinga endiga. Mwannyinaffe omu alina endowooza ennuŋŋamu, agamba: “Nga sinnagenda kubuulira buli ku makya, nsaba Yakuwa annyambe okuzuula omuntu ayagala okuyiga Baibuli.” Lumu yakola enteekateeka okusoma n’abakozi abakola gye basibira enviiri. Kyokka, okusoma bwe kwatuuka omuntu omu yekka ye yalabikako. Omuntu oyo yagamba: “Abalala bo tebaagala, naye nze njagala.” Mu mwezi gumu, omuntu oyo yali ayigiriza Baibuli abantu abalala babiri. Nga wayiseewo ebbanga ttono yabatizibwa, era oluvannyuma n’atandika okukola nga payoniya!
5 Omulimu Gukolebwa: Amawulire amalungi gabuulirwa nga Yesu bwe yalagula. (Mat. 24:14) Wadde ne mu bifo abantu gye ‘batayagala kutuwuliriza,’ balabulwa okuyitira mu mulimu gw’okubuulira. Tusuubira abamu obutatuwuliriza oba n’okuziyiza amazima. Kyokka, abalinga abo balina okulabulwa ku musango Yakuwa gw’agenda okusala.—Ez. 2:4, 5; 3:7, 8, 19.
6 Tetunnaba Kumaliriza: Si ffe tusalawo ddi lwe tulina okulekera awo omulimu gw’okubuulira. Yakuwa y’amanyidde ddala ddi lwe gulina okukoma. Amanyi obanga mu kitundu kyaffe mulimu abantu abayinza okwanukula amawulire amalungi. Leero, abantu abamu bagamba nti tebaagala kuwuliriza, naye enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe, gamba ng’okufiirwa omulimu, obulwadde obw’amaanyi, okufiirwa omwagalwa, ziyinza okubaleetera okuwuliriza oluvannyuma. Olw’endowooza ya kyekubiira oba olw’okuba baba n’eby’okukola ebibalemesa okuwuliriza, abantu bangi tebawulirangako kye tubuulira. Bwe tweyongera okubakyalira, kiyinza okubaleetera okuwuliriza.
7 Abo abasuumuse mu myaka era nga kati balina amaka agaabwe ku bwabwe, beeyongedde okutegeera nti obulamu kikulu nnyo. Era kati babuuza ebibuuzo ebisobola okuddibwamu Ekigambo kya Katonda kyokka. Omuzadde omu yayita Abajulirwa babiri ewuwe n’abagamba: “Nga nkyali muwala muto, nnali siyinza kutegeera nsonga lwaki maama wange yagobanga Abajulirwa ng’abagamba nti yali tayagala kubawuliriza, ng’ate kye baali baagala okukola kwe kwogera obwogezi naye ku Baibuli. Nnasalawo nti bwe ndikula ne nfumbirwa, nga ndi mu maka agange ku bwange, ndiyita Abajulirwa ba Yakuwa bajje bannyinyonnyole Baibuli.” Ekyo kye yakola, era kyasanyusa Abajulirwa abaamukyalira.
8 Oyinza Okukola Ekisingako Obulungi? Tekiri nti buli kiseera abantu be tukyalira be bakifuula ekizibu gye tuli okubuulira mu kitundu kyabwe enfunda n’enfunda. Oluusi, ffe fennyini abakifuula ekizibu. Tutandika nga tulina endowooza etali nnuŋŋamu? Ekyo kiyinza okubaako kye kikola ku ndowooza yaffe, ku ngeri gye twogeramu era ne ku ndabika yaffe ey’oku maaso. Laga endowooza ennuŋŋamu era beera musanyufu. Gezaako ennyanjula endala. Kozesa ennyanjula ezitali zimu, era fuba okuzirongoosa. Oboolyawo oyinza okukyusaamu mu kibuuzo ky’okozesa mu nnyanjula oba okukozesa ekyawandiikibwa ekirala mu mboozi yo. Buuzaako ab’oluganda abalala ekibasobozesezza okubuulira mu kitundu ekyo. Buulira n’ababuulizi abatali bamu oba bapayoniya, era weetegereze ekibayamba okukola obulungi obuweereza bwabwe.
9 Omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gusiimibwa Yakuwa era aguwa omukisa. Bwe tugwenyigiramu kiraga nti tumwagala era twagala ne baliraanwa baffe. (Mat. 22:37-39) Ka tukole omulimu gwaffe okutuukira ddala ku nkomerero, nga tetukoowa kukola mu kitundu kyaffe enfunda n’enfunda.