Emiganyulo Egiri mu Kuba n’Ekitundu Ekikyo ku Bubwo eky’Okubuuliramu
1. Lwaki wandirowoozezza ku ky’okuba n’ekitundu ekikyo ku bubwo eky’okubuuliramu?
1 Ekibiina bwe kiba n’ekitundu kinene eky’okubuuliramu, omubuulizi asobola okuweebwa ekitundu ekikye ku bubwe oboolyawo ekiri okumpi ne w’abeera. Mu katabo Organized, olupapula 103, wagamba: “Bw’oba n’ekitundu ekikyo ku bubwo eky’okubuuliramu ekiri okumpi ne w’obeera, kikusobozesa okukozesa obulungi akadde konna k’oba ofunye okubuulira. Ate era, osobola okuyita omubuulizi omulala abuulireko naawe mu kitundu kyo eky’okubuuliramu.”
2. Kiki ky’otosaanidde kukola bw’oba olina ekitundu ekikyo ku bubwo eky’okubuuliramu?
2 Sigala ng’Owagira Enteekateeka z’Ekibiina ez’Okubuulira: Bw’ofuna ekitundu ekikyo ku bubwo eky’okubuuliramu ekiri okumpi ne w’okolera, osobola okubuulira mu biseera eby’ekyemisana oba nga tonnaddayo eka, oboolyawo ng’oli n’omubuulizi omulala akolera okumpi ne w’okolera. Bw’ofuna ekitundu ekiri okumpi n’amaka go kikwanguyira okukibuuliramu n’ab’omu maka go mu biseera eby’akawungeezi. Bwe watabaawo lukuŋŋaana olw’okugenda okubuulira olw’okuba oli wekka, kiba kirungi okusaba Yakuwa akuwe obulagirizi nga tonnatandika kubuulira. (Baf. 4:6) Kyokka, tosaanidde kugwa lubege. Sigala ng’owagira enteekateeka z’ekibiina ez’okubuulira. Kiba kirungi okuwagira ekibinja kyo eky’obuweereza nnaddala ku wiikendi, ababuulizi abasinga obungi lwe babeera mu buweereza.
3. Miganyulo ki egiri mu kuba n’ekitundu ekikyo ku bubwo eky’okubuuliramu?
3 Emiganyulo: Bw’oba n’ekitundu ekikyo ku bubwo eky’okubuuliramu, oba olina aw’okubuulira ekiseera kyonna w’oba ofunidde akadde. Osobola okubuulira essaawa eziwerako kubanga totambula lugendo luwanvu okutuuka mu kitundu ky’obuuliramu. Kisobozesa ababuulizi abamu okuweereza nga bapayoniya abawagizi oba bapayoniya aba bulijjo. Okuva bwe kiri nti abantu b’obuulira baba mu kitundu kye kimu, kikwanguyira okubaddira n’okubayigiriza Bayibuli. Bangi bakisanze nti bwe baba n’ekitundu ekyabwe ku bwabwe eky’okubuuliramu, kibayamba okumanyagana obulungi n’abantu b’omu kitundu ekyo ne bamanya engeri ey’okubayambamu, nnaddala bwe bakibuuliramu emirundu egisukka mu gumu nga tebannazzaayo kaadi y’ekitundu ekyo, ababuulizi abalala basobole okukibuuliramu. Bw’oba n’ekitundu ekikyo ku bubwo eky’okubuuliramu, ggwe n’ab’omu maka go kijja kubayamba okutuukiriza obuweereza bwammwe mu bujjuvu.—2 Tim. 4:5.