Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 28
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 28
Oluyimba 22 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 31 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Matayo 16-21 (Ddak. 10)
Na. 1: Matayo 17:22–18:10 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ebigambo bya Yakuwa ‘Ebirungi’ Yoswa bye Yalaba nga Bituukiriziddwa bye Biruwa?—Yos. 23:14 (Ddak. 5)
Na. 3: Obumu ku Bunnabbi bwa Bayibuli Obutannaba Kutuukirizibwa bwe Buluwa?—rs-E lup. 296 ¶2–lup. 297 ¶3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Tandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka. Ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 4, laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Febwali. Kubiriza bonna okujjumbira enteekateeka eno.
Ddak. 25: “Mwagalenga Baganda Bammwe Bonna.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Mu bufunze, kozesa ebyo ebiri mu katundu akasooka okwanjula ekitundu ekyo n’ebyo ebiri mu katundu akasembayo okufundikira.
Oluyimba 53 n’Okusaba