“Mwagalenga Baganda Bammwe Bonna”
Omutume Peetero yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebigambo ebyo emyaka nga nkumi bbiri egiyise. (1 Peet. 2:17) Naye kitwetaagisa okubikolerako nkola leero n’okusinga bwe kyali kibadde! Tuyinza tutya okwagala ab’oluganda abali mu nsi yonna? Mu nsi eno omutali kwagala, tuyinza tutya okukakasa nti okwagala kwaffe tekuwola? (Mat. 24:12) Bw’oba olaba vidiyo eyitibwa Our Whole Association of Brothers, weetegereze engeri gy’oyinza okuddamu ebibuuzo bino wammanga.
(1) Ddi omuntu lwe yeegatta ku kibiina Ekikristaayo? (2) Bintu ki ebisatu ffenna Abajulirwa ba Yakuwa bye tukola okwetooloola ensi yonna? (3) Baganda baffe balaga batya nti bamalirivu okubuulira (a) mu Alaska, (b) ku myalo eminene ennyo egy’omu Bulaaya, ne (c) mu gabira ag’omu Peru? (4) Lwaki omulimu gw’okubuulira gwa njawulo nnyo ku mirimu emirala? (5) Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye babudaabudagana era ne bayambagana (a) oluvannyuma lwa musisi, (b) oluvannyuma lw’omuyaga ogw’amaanyi, ne (c) mu biseera eby’entalo. (6) Tuyinza tutya okwoleka akabonero akakulu akatwawulawo ng’Abakristaayo ab’amazima? (Yok. 13:35) (7) Miganyulo ki egiri mu kukolera awamu nga tuzimba ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka? (8) Baganda baffe mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba ne mu Russia baasobola batya okusigala nga banywevu mu by’omwoyo ng’omulimu gwaffe guwereddwa? (9) Abajulirwa bangi bafuba batya okusobola okubeerawo mu nkuŋŋaana ennene, era lwaki? (10) Vidiyo eno ekuyambye etya okweyongera okuba omumalirivu (a) okusinza Yakuwa ng’oli wamu ne baganda bo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, (b) okuyamba abo abali mu bwetaavu, (c) okubuulira n’obunyiikivu k’obe ng’oli mu mbeera enzibu? (11) Ddi lwe tusobola okukozesa vidiyo eno okuyamba abalala era tuyinza kugikozesa tutya?
Ensonga esinga obukulu lwaki tuli mu kibiina Ekikristaayo eri nti twagala Yakuwa. Twagala nnyo okuyiga ebimukwatako n’okubiyigiriza abalala. Ate era twagala abantu Yakuwa b’ayagala. Bwe tubayamba nga bali mu bwetaavu, tetusuubira Katonda kutwebaza, wabula ffe tusaanidde okumwebaza kubanga oluganda lwaffe olw’Ekikristaayo kirabo ekiva gy’ali. Ng’enkomerero y’ensi eno omutali kwagala egenda esembera, ka tweyongere okwagala ab’oluganda bonna!