Ensonga Lwaki Twagala Oluganda Lwaffe olw’Ensi Yonna
Mu nsi eya kakyo kano etaliimu kwagala, tusobola tutya okweyongera okwoleka okwagala okw’amaanyi eri baganda baffe mu by’omwoyo? (1 Peet. 2:17) Tusobola tutya okulaga abalala nti tulina oluganda olwa nnamaddala mu nsi yonna? (Mat. 23:8) Nga tukozesa vidiyo Our Whole Association of Brothers. (Oluganda Lwaffe olw’Ensi Yonna) Eraga ensonga lwaki twagalana. Laba oba ng’oyinza okuddamu ebibuuzo bino:
(1) Bintu ki ebisatu bye tufaanaganya ne baganda baffe mu nsi yonna? (2) Baganda baffe baalaga batya obumalirivu bwabwe mu kubuulira (a) mu Alaska, (b) ku myalo eminene ennyo egy’omu Bulaaya, ne (c) mu bibira eby’omu Peru? (3) Kiki ekituyamba ennyo mu kubuulira? (4) Lwaki tetwandirowoozezza nti okubuulira kulinga emirimu emirala gyonna? (5) Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye babudaabuda era ne bawagira bannaabwe mu biseera ebizibu—kwe kugamba nga wabaddewo musisi, omuyaga ogw’amaanyi n’entalo. (Laba Takao bye yayogera ku lupapula 23 mu Awake! aka Agusito 22, 1995, n’ebya Kotoyo ku lupapula 20 mu Awake! aka Okitobba 22, 1996) (6) Tusobola tutya okwoleka akabonero akakulu akooleka oluganda lwaffe olw’Ekikristaayo? (Yok. 13:35) (7) Enkuŋŋaana zaffe ez’ekibiina, twandizitutte nga za muwendo kwenkana wa? (8) Okubeera n’Ekizimbe ky’Obwakabaka eky’okukuŋŋaaniramu kikola ki ku abo ababadde batakirina? (9) Baganda baffe mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba ne mu Russia baasobola batya okusigala nga banywevu mu by’omwoyo mu kiseera eky’okuwerebwa? (10) N’okutuuka leero, Abajulirwa bafuba kwenkana wa okusobola okubeerawo mu nkuŋŋaana ennene, era lwaki? Kino kikutte kitya ku mutima gwo? (11) Lwaki oli mumalirivu okusinziza awamu n’abalala mu bumu, okuyamba abalala nga bali mu bwetaavu, era n’okubuulira buli lw’oba osobola? (12) Lwaki kyandibadde kirungi okubeera ne kopi ya vidiyo eno eyiyo ku bubwo era n’okugiraga abantu bangi nga bwe kisoboka?