Abajulirwa ba Yakuwa—Bategekeddwa Okubuulira Amawulire Amalungi
Abajulirwa ba Yakuwa bamaze emyaka egisukka mu 100, nga bategekeddwa okubuulira amawulire amalungi. Mu kaweefube ono ow’okubuulira atabangawo mu nsi, tubuulira obubaka buno mu nkumi n’enkumi z’ennimi era mu nsi ezisukka mu 230. (Mat. 24:14) Lwaki kyetaagisa okukola omulimu guno? Gukolebwa gutya mu nsi yonna? Vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses—Organized to Share the Good News eddamu ebibuuzo ebyo ng’etulaga engeri omulimu gwaffe gye gukolebwamu mu nsi yonna. Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo eyo, muddemu ebibuuzo bino.
Vidiyo eno ekuyambye etya okwongera okusiima (1) omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ogukolebwa ekibiina kya Yakuwa? (2 Tim. 4:2) (2) amaka ga Beseri agali mu nsi ez’enjawulo? (3) okutendekebwa kw’abalabirizi n’abaminsani? (2 Tim. 2:2) (4) omugaso oguli mu kutandika olunaku nga twekenneenya ekyawandiikibwa eky’olunaku n’okwetegekera enkuŋŋaana eza buli wiiki? (Bik. 17:11) (5) omugaso oguli mu kubaawo mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo? (Beb. 10:24, 25) (6) embeera ezinaabeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi? (Is. 11:9) (7) enkizo gy’olina ey’okwenyigira mu mulimu gw’amakungula ogukolebwa?—Yok. 4:35.
Vidiyo eno ebadde ya muganyulo nnyo mu kuyamba abantu abalaga okusiima okumanya omulimu ogw’ensi yonna ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa. (8) Ddi lwe kyandibadde ekirungi okulaga vidiyo eno abayizi baffe aba Bayibuli, ab’eŋŋanda, n’abalala? (9) Abalala bakwatiddwako batya bw’obalaze vidiyo eno?
Bwe tulowooza ku ebyo Yakuwa by’akoze, kituleetera okwogera ebigambo by’omuwandiisi wa zabbuli bino: ‘Ebikolwa eby’ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, n’ebirowoozo byo ebiri gye tuli; tewali n’omu akwenkana.’ (Zab. 40:5) Ka ffenna tukozese bulungi vidiyo eno okuyamba abalala okusiima Yakuwa n’ekibiina kye!