Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 15
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 15
Oluyimba 39 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 6 ¶21-25, akas ku lup. 75 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zabbuli 102-105 (Ddak. 10)
Na. 1: Zabbuli 105:1-24 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ensonga Lwaki Tetusaanidde Kuddamu Kwegomba Bintu Bye Twaleka Emabega olw’Okwagala Okuweereza Yakuwa—Luk. 9:62 (Ddak. 5)
Na. 3: Obwakabaka bwa Katonda Bujja Kusobozesa Bonna Okuba n’aw’Okusula, Emirimu, n’Obukuumi—rs-E lup. 229 ¶6–lup. 230 ¶2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Yamba Abo Abasiima Obubaka Bwaffe Okukulaakulana. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 187, akatundu 6, okutuuka ku lupapula 188, akatundu 3.
Ddak. 20: “Abajulirwa ba Yakuwa—Bategekeddwa Okubuulira Amawulire Amalungi.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Mu bufunze, kozesa ebyo ebiri mu katundu akasooka okwanjula, n’ebiri mu katundu akasembayo okufundikira. Bwe muba temulina vidiyo eyo, mukubaganye ebirowoozo ku ssuula 1 ey’akatabo Organized To Do Jehovah’s Will. Kubiriza ab’oluganda okunywerera ku nteekateeka ey’okusinza kw’amaka, okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, okugenda mu nkuŋŋaana ennene, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa.
Oluyimba 47 n’Okusaba