Oluyimba 47
Buulira Amawulire Amalungi
Printed Edition
1. ’Mazima g’Obwakabaka kyali kyama.
Ezzadde essuubize lyabikkulibwa.
Yakuwa olw’okwagala kwe okungi,
Yalowooza ku mbeera y’omuntu embi.
Omwana we wa kufuga ensi eno;
Obwakabaka bwe bujja mu bbanga ttono.
Afunidde Omwana we omugole;
B’ekisibo ekitono abalonze.
2. Obubaka buno bwategekebwa dda.
Tububunyise; Yakuwa ky’ayagala.
Basanyufu nnyo nabo bamalayika,
Nga batuyamba ’kumanyisa ’mazima.
Nga tuweereddwa enkizo ya maanyi ffe
Okugulumiza Yakuwa n’erinnya lye.
Era atuwadde ’kitiibwa kya maanyi,
’Kugabuulira ’mawulire ’malungi.
(Era laba Mak. 4:11; Bik. 5:31; 1 Kol. 2:1, 7.)