Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 22
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 22
Oluyimba 54 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 7 ¶1-6 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zabbuli 106-109 (Ddak. 10)
Na. 1: Zabbuli 109:1-20 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Obwakabaka bwa Katonda Bujja Kuleetawo Obutuukirivu n’Obwenkanya—rs-E lup. 230 ¶3-5 (Ddak. 5)
Na. 3: Koppa Yakuwa ne Yesu ng’Oyoleka Empisa Ennungi (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. “Katonda by’Ayagala Bikolebwe.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bategeeze ennaku z’omwezi olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu we lunaabeererawo bwe muba muzimanyi.
Ddak. 25: “Osobola ‘Okugenda e Makedoni’?” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bwe muba mumulina, buuza ebibuuzo omubuulizi eyagenda mu nsi endala oba mu kitundu ekyesudde ekitalina kibiina kikibuuliramu okusobola okubuulira amawulire amalungi. Yogera ku ebyo byokka ebituukagana n’ensi yammwe.
Oluyimba 95 n’Okusaba