Ebikozesebwa Ebiyigiriza, Ebizzaamu Amaanyi era Ebinyweza
1 Bya maanyi nnyo mu kuyigiriza abantu ebikwata ku Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Bizizzaamu bangi amaanyi okunywerera ku mazima. Binywezezza okukkiriza n’okusiima kw’abantu ba Katonda abeewaddeyo. Bye biki? Vidiyo ezifulumiziddwa entegeka ya Yakuwa. Zonna ekkumi omaze okuziraba? Wayiseewo banga ki bukya oziraba? Ozikozesa mu buweereza bwo? Okufulumizibwa kwa vidiyo eya 11, eyitibwa Our Whole Association of Brothers, kwalangibwa mu lukuŋŋaana olunene olwa district. Omaze okugiragiriza? Oyinza otya okweyongera okuganyulwa okuva ku bikozesebwa bino eby’ekitalo?
2 Ekitundu ekyali mu Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 1999, ekigamba “Temwosa Kuyiga Kigambo kya Katonda ng’Amaka” kyasemba okukozesa “ekiseera ekimu eky’okuyiga kwammwe okulaba ezimu ku vidiyo za Sosayate eziyigiriza . . . ate oluvannyuma muzikubaganyeko ebirowoozo.” Mu kutuukagana n’amagezi ago amalungi, vidiyo ey’enjawulo ejja kwogerwangako mu Lukuŋŋaana olw’Obuweereza buli mwezi. Tukubiriza buli omu mu kibiina okulaba vidiyo eyo awaka ng’ekiseera eky’okugikubaganyako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza tekinnatuuka.
3 Omwezi guno tujja kutandika ne vidiyo gye twasooka okufulumya, Jehovah’s Witnesses—The Organization Behind the Name. Girabe era ofune eby’okuddamu mu bibuuzo bino:
◼ Abajulirwa ba Yakuwa basinga kumanyibwa lwa kintu ki?
◼ Buli kimu ekikolebwa ku Beseri kikwataganyizibwa na kyawandiikibwa ki?
◼ Kiki ekyaliwo ekiri mu Baibuli kye walaba nga kizannyibwa, nga kikubibwa ekifaananyi, era nga kisiigibwa okusobola okukozesebwa mu bitabo?
◼ Kiki ekikusanyusa ennyo ku ngeri ebitabo byaffe gye bitegekebwamu?
◼ Okuva mu 1920 okutuuka 1990, bitabo bimeka Sosayate bye yakuba?
◼ Okusingira ddala baani mu baweereza ba Katonda abalina okuluubirira okutuukiriza ebisanyizo by’obuweereza bwa Beseri?—Nge. 20:29.
◼ Mu ngeri ki amaka ga Beseri gye gassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eri Abajulirwa ba Yakuwa bonna?
◼ Kiki ekikusanyusa ennyo ekikwata ku mirimu egikolebwa ku Beseri okusobola okutuuka ku bantu bangi nga bwe kisoboka n’amawulire amalungi?
◼ Omulimu ogw’ensi yonna guwagirwa gutya mu by’ensimbi?
◼ Mulimu ki gwe tuyinza okuwagira n’obunnyikivu, era nga tulina mwoyo ki?—Yok. 4:35; Bik. 1:8.
◼ Owulira otya ku ntegeka yaffe?
◼ Oyinza otya okukozesa vidiyo eno mu buweereza?
Mu Ddesemba tujja kwogera ku vidiyo The Bible—Accurate History, Reliable Prophecy.