Ebirungi Ebiva mu Vidiyo Eziwa Obujulirwa
1 “Mutabani waffe abadde alaba vidiyo eno okuviira ddala nga tannayiga na kutambula. Agiraba enfunda n’enfunda. Nga kirungi nnyo okuba n’ebintu ebireetera abaana baffe okwagala Yakuwa!” Vidiyo ki omuzadde oyo Omukristaayo gye yali ayogerako? Eyo eyitibwa Noah—He Walked With God. Omukyala omu atali Mujulirwa alina mutabani we eyalabira vidiyo eno mu nju y’omuntu omu. Omukyala ono yaweereza siringi 7,000 eza Kenya ku ofiisi y’ettabi ng’ekirabo era n’abuuza obanga tulinayo vidiyo endala yonna ey’abaana. Vidiyo ezifulumizibwa ekibiina kya Yakuwa zirina kinene kye zikola ku bantu ka babeere bakulu oba bato.
2 Mu Maka: Oluvannyuma lw’amaka agamu ag’Abajulirwa okulaba vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses Stand Firm Against Nazi Assault, maama w’abaana yagamba: “Nfumiitirizza olunaku lwonna engeri Yakuwa gye yasobozesa abantu aba bulijjo okugumira ebigezo eby’amaanyi bwe bityo! Okufumiitiriza ku kintu ekyo kunyambye okulaba nti ebizibu ebyange bitono nnyo. Okulaba vidiyo eno n’abaana baffe kibayambye okulaba obukulu bw’okwesiga Yakuwa. Nga tukubaganya ebirowoozo ne bawala baffe oluvannyuma lw’okulaba vidiyo eno, tubayambye okubeera abeeteefuteefu okwaŋŋanga okupikirizibwa oba okuyigganyizibwa kwonna okuyinza okubatuukako.”
3 Ku Ssomero: Omujulirwa omu omuto yalaga bayizi banne ekitundu kya vidiyo eyitibwa Stand Firm. Emabegako, omusomesa we yali agambye nti tayagala Bajulirwa. Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo eno, yagamba: “Kino kikyusirizza ddala endowooza yange eri Abajulirwa ba Yakuwa. Nkakasa nti omulundi omulala lwe banajja ewange, nja kubawuliriza era ntandike n’okusoma nabo Baibuli!” Kiki ekyakyusa endowooza ye? Yagamba nti kwali “kwagala kwaffe okwa nnamaddala n’obwesigwa bwaffe.”
4 Mu Buweereza: Mwannyinaffe omu yasisinkana omukazi eyagaana okutwala ebitabo byaffe, wadde nga yalina ebibuuzo ebikwata ku kibiina kyaffe wamu ne bye tukkiririzaamu. Mwannyinaffe yaddayo ne vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses—The Organization Behind the Name n’agiraga omukazi ono ne bba. Bombi baasanyuka nnyo era ne bakkiriza okusoma Baibuli. Olw’obujulirwa obwabaweebwa, baatandika okutuukanya obulamu bwabwe n’ebyo Katonda by’ayagala.
5 Weeyambisa vidiyo zaffe mu bujjuvu?