Kozesa Ebyokulabirako eby’Ebintu Ebirabwako era nga Biyigiriza
1. Yakuwa yakozesa atya ebyokulabirako eby’ebintu ebirabwako okuyigiriza abaweereza be ab’edda, era ekyo kyabakwatako kitya?
1 Okusobola okutuusa obubaka obukulu ku baweereza be ab’edda, emirundi egimu Yakuwa yakozesanga okwolesebwa n’ebirooto. Lowooza ku kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku ggaali lya Yakuwa. (Ez. 1:1-28) Teebereza engeri Danyeri gye yawuliramu oluvannyuma lw’okuloota ekirooto eky’obunnabbi ekikwata ku kuddiriŋŋana kw’obufuzi kirimaanyi. (Dan. 7:1-15, 28) Ate kiri kitya ku kubikkulirwa okwaweebwa omutume Yokaana mu ‘bubonero,’ okukwata ku ebyo ebyandibaddewo mu “lunaku lwa Mukama waffe”? (Kub. 1:1, 10) Yakuwa yabayigiriza ng’akozesa ebyokulabirako eby’ebintu ebirabwako, era tebaabyerabira.
2. Byakulabirako ki eby’ebintu ebirabwako bye tuyinza okukozesa nga tuyigiriza abantu amazima ga Baibuli?
2 Naffe bwe tuba twagala okuyigiriza abantu Baibuli basobole okujjukira amangu bye tubayigiriza, tusobola okukozesa vidiyo. Vidiyo zaffe zikwata ku bintu bingi era zisobozesa omuntu okwesiga Baibuli, ekibiina kya Yakuwa, era n’okutegeera emisingi egimuyamba okubeera Omukristaayo omulungi. Weetegereze ebyokulabirako ebiraga engeri gye tuyinza okukozesaamu vidiyo zaffe nga tuyigiriza.
3. Vidiyo ki gy’oyinza okukozesa okusobola okulaga omuyizi wo oluganda lwaffe olw’ensi yonna?
3 Mu Buweereza bw’Ennimiro: Obaddenga obuulira omuyizi wo ebikwata ku luganda lwaffe olw’ensi yonna? Mulage vidiyo Our Whole Association of Brothers. Oyinza okugimwazika asobole okugiraba nga temunnaddamu kusoma oba okugirabira awamu naye ku mulundi gwe munaddako okusoma. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2002.
4. Vidiyo ki omuvubuka Omujulirwa z’ayinza okukozesa ku ssomero?
4 Abavubuka, muyinza okusaba abasomesa bammwe olukusa musobole okulaga bayizi bannammwe vidiyo Jehovah’s Witnesses Stand Firm Against Nazi Assault oba Faithful Under Trials—Jehovah’s Witnesses in the Soviet Union. Tegekawo ebibuuzo ebinaakuyamba okukubaganya ebirowoozo ne bayizi bano nga byesigamiziddwa ku Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2001 oba aka Febwali 2003.
5. Vidiyo ki abazadde gye bayinza okukozesa mu kuyiga kw’amaka?
5 Ng’Oli n’ab’Omu Maka Go oba ne Mikwano Gyo: Abazadde, ddi abaana bammwe lwe baasembayo okulaba vidiyo Young People Ask—How Can I Make Real Friends? Lwaki temuddamu okugirabira awamu mu kuyiga kwammwe okw’amaka okunaddako? Muyinza okugikubaganyaako ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Apuli 2002.
6. Oyinza otya okukola enteekateeka eneebazimba ng’okyazizza mikwano gyo?
6 Olinayo mikwano gyo mu kibiina b’oyagala okukyaza? Mujja kuzimbibwa nnyo singa mulabira wamu vidiyo Respect Jehovah’s Authority, naddala bwe munaagikubaganyaako ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2004.
7. Baani abalala be tuyinza okulaga vidiyo zaffe?
7 Abalala b’Oyinza Okuziraga: Baani abalala be tuyinza okulaga vidiyo zaffe eziwerera ddala 20? Singa omuntu gw’otera okukubaganya naye ebirowoozo omulagayo vidiyo emu oba bbiri, kiyinza okumuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo? Oyinza okugiraga abo abali mu ddwaliro ery’omu kitundu gy’obeera? Tetuyinza kukozesa vidiyo zaffe okuyamba ab’eŋŋanda zaffe abatali Bajulirwa, baliraanwa baffe, n’abo be tukola nabo, okukyusa endowooza enkyamu ze batulinako? Vidiyo zaffe zisikiriza, ziyigiriza era ziyinza okukozesebwa ng’ebyokulabirako eby’ebintu ebirabwako era ebiyigiriza. Zikozese.