LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb19 Maaki lup. 7
  • Yigiriza Abayizi Bo ng’Okozesa Vidiyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yigiriza Abayizi Bo ng’Okozesa Vidiyo
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Similar Material
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyigiriza nga Tukozesa Vidiyo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Kozesa Ebyokulabirako eby’Ebintu Ebirabwako era nga Biyigiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Kozesa Vidiyo ng’Oyigiriza
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Okwejjukanya Ekitundu 2
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
mwb19 Maaki lup. 7
Mwannyinaffe alaga omuyizi we vidiyo

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yigiriza Abayizi Bo ng’Okozesa Vidiyo

Ebintu ebirabwako biyamba omuntu okussaayo omwoyo ku by’ayiga, n’asobola okubitegeera n’okubijjukira. Yakuwa, Omuyigiriza waffe asingiridde, yakozesa ebintu ebirabwako ng’ayigiriza. (Lub 15:5; Yer 18:1-6) Ate era ne Yesu, Omuyigiriza Omukulu, yabikozesa. (Mat 18:2-6; 22:19-21) Ebimu ku bintu ebirabwako eby’omuganyulo ennyo ennaku zino ze vidiyo. Okozesa vidiyo ng’oyigiriza abayizi bo?

Vidiyo kkumi zaategekebwa okutuyamba nga tuyigiriza omuntu brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! Okutwalira awamu, buli vidiyo ekwatagana n’ekimu ku bibuuzo ebiri mu nnukuta enkwafu ebiri mu brocuwa eyo. Brocuwa eri ku mukutu gwaffe erimu link ezitujjukiza ddi lwe tulina okulaga buli vidiyo. Okugatta ku ekyo, waliwo vidiyo endala ezikwatagana n’amasomo agali mu bitabo ebirala bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.

Mwogera ku nsonga eyinza okuzibuwalira omuyizi wo okutegeera? Omuyizi wo alina ekizibu ky’ayolekagana nakyo? Noonya vidiyo esobola okumuyamba ku jw.org® ne ku JW Broadcasting®. Oboolyawo muyinza okulaba emu ku zo oluvannyuma ne mugikubaganyaako ebirowoozo.

Buli mwezi, wabaawo vidiyo empya ezifulumizibwa. Bw’oba oziraba lowooza ku ngeri gy’oyinza okuzikozesaamu ng’oyigiriza abalala.

VIDIYO EZIKWATAGANA N’EBIRI MU BROCUWA AMAWULIRE AMALUNGI

  • Vidiyo Katonda Alina Erinnya?

    Essomo 2

    Katonda Alina Erinnya?

  • Vidiyo Ani Yawandiika Bayibuli?

    Essomo 3

    Ani Yawandiika Bayibuli?

  • Vidiyo Tukakasa Tutya nti Bayibuli Ntuufu?

    Tukakasa Tutya nti Bayibuli Ntuufu?

  • Vidiyo Lwaki Yesu Yafa?

    Essomo 4

    Lwaki Yesu Yafa?

  • Vidiyo Lwaki Katonda Yatonda Ensi?

    Essomo 5

    Lwaki Katonda Yatonda Ensi?

  • Vidiyo Abafu Bali mu Mbeera Ki?

    Essomo 6

    Abafu Bali mu Mbeera Ki?

  • Vidiyo Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

    Essomo 7

    Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

  • Vidiyo Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?

    Essomo 8

    Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?

  • Vidiyo Amadiini Gonna Gasanyusa Katonda?

    Essomo 10

    Amadiini Gonna Gasanyusa Katonda?

  • Vidiyo Katonda Awuliriza Essaala Zonna?

    Essomo 12

    Katonda Awuliriza Essaala Zonna?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share