Oluyimba 134
Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya
1. Weerabe ggwe, wamu nange;
Nga ffenna tutuuse mu nsi empya.
Lowoozaamu bwe kiriba,
Nga tuli mu ddembe lyennyini.
Ababi nga bavuddewo;
’Mirembe gyokka gye giriwo.
Ng’olwo byonna mu nsi bizziddwa buggya,
Era ffenna tuliyimbanga n’essanyu:
(CHORUS)
“Ai Yakuwa, ffe tukwebaza!
Ebintu byonna bizziddwa buggya.
Olw’essanyu kyetuva tu kuyimbira;
Ogwanidde ’ttendo lyonna n’ekitiibwa.”
2. Weerabe ggwe, wamu nange;
Weesunge nnyo ddala ensi empya.
Teribaayo kintu kyonna
’Kikanga oba ekitiisa.
Bye yagamba bye biriwo;
Abisse ku bantu weema ye.
Anaazuukusa ’beebase ’magombe;
Banaatwegattako ’kumutendereza:
(CHORUS)
“Ai Yakuwa, ffe tukwebaza!
Ebintu byonna bizziddwa buggya.
Olw’essanyu kyetuva tu kuyimbira;
Ogwanidde ’ttendo lyonna n’ekitiibwa.”
(Era laba Zab. 37:10, 11; Is. 65:17; Yok. 5:28; 2 Peet. 3:13.)