Oluyimba 53
Okukolera Awamu mu Bumu
Printed Edition
1. Yakuwa ’tukuŋŋaanyizza.
Era nga bwe kyalagulwa,
Tuli wamu mu mirembe;
Tuli basanyufu.
Obumu bulungi;
Tubwagala nnyo.
Katonda ’tuyigiriza
’Kuyitira mu Mwana we.
Tubeerenga bawulize;
Tukuume nnyo ’bumu.
2. Obumu bwe tubusaba,
Ne twolekanga n’ekisa,
Okwagala kweyongera,
’Wamu n’emirembe.
’Mirembe gyagalwa,
Gisanyusa nnyo.
Bwe tubeera n’okwagala,
Katonda ajja kutuwa
Emirembe, tube bumu
Nga tumuweereza.
(Era laba Mik. 2:12; Zef. 3:9; 1 Kol. 1:10.)