Obumu bw’Abakristaayo Buweesa Katonda Ekitiibwa
‘Mufube nnyo okukuuma obumu obw’omwoyo.’—BEF. 4:3.
1. Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo ab’omu Efeso baaweesa batya Katonda ekitiibwa?
OBUMU bw’ekibiina Ekikristaayo mu Efeso eky’edda bwaweesa Katonda ow’amazima, Yakuwa, ekitiibwa. Abamu ku Bakristaayo mu kibuga ekyo bali bagagga era nga balina abaddu, ate ng’abalala baddu era nga baavu nnyo. (Bef. 6:5, 9) Abamu baali Bayudaaya abaayiga amazima mu myezi esatu omutume Pawulo gye yamala ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe. Abalala bwe baali tebannayiga mazima, baasinzanga Atemi era baakolanga eby’obufuusa. (Bik. 19:8, 19, 26) Kya lwatu nti Obukristaayo obw’amazima bwagattanga abantu okuva mu mawanga ag’enjawulo. Pawulo yakiraga nti obumu bw’ekibiina bwali buweesa Yakuwa ekitiibwa. Yawandiika nti: “Aweebwe ekitiibwa okuyitira mu kibiina.”—Bef. 3:21.
2. Kiki ekyali kiyinza okusaanyawo obumu bw’Abakristaayo b’omu Efeso?
2 Kyokka, obumu bw’ekibiina ky’e Efeso bwali buyinza okusaanawo. Bw’atyo Pawulo yalabula abakadde mu kibiina ekyo nti: “Mu mmwe mwennyini muliva abantu aboogera ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.” (Bik. 20:30) Ate era, ab’oluganda abamu baali bakyalina omwoyo ogw’okweyawulayawulamu Pawulo gwe yayogerako ‘ng’ogukolera kaakano mu baana ab’obujeemu.’—Bef. 2:2; 4:22.
Ebbaluwa Eraga nti Obumu Kintu Kikulu Nnyo
3, 4. Ebbaluwa ya Pawulo eri Abeefeso eraga etya nti kikulu okuba obumu?
3 Pawulo yakiraba nti Abakristaayo okusobola okusigala nga bali bumu, buli omu ku bo yalina okufuba okulaba nti atumbula obumu. Katonda yaluŋŋamya Pawulo okuwandiikira Abeefeso ebbaluwa eyalaga nti obumu kintu kikulu nnyo. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yayogera ku kigendererwa kya Katonda ‘eky’okuddamu okukuŋŋaanya ebintu byonna mu Kristo.’ (Bef. 1:10) Era yageraageranya Abakristaayo ku mayinja ag’enjawulo agakola ekizimbe. “Ekizimbe kyonna kigattibwa wamu, era kikula ne kifuuka yeekaalu ya Yakuwa entukuvu.” (Bef. 2:20, 21) Okugatta ku ekyo, Pawulo yakiraga nti kikulu nnyo Abakristaayo Abayudaaya n’Ab’amawanga okuba obumu era yabajjukiza nti bonna eyabatonda ali omu. Yayogera ku Yakuwa nga “Kitaffe, oyo buli kika kyonna mu ggulu ne ku nsi kwe kiggya erinnya.”—Bef. 3:5, 6, 14, 15.
4 Bwe tuneetegereza Abeefeso esuula 4, tujja kulaba ensonga lwaki kyetaagisa okufuba okusobola okuba obumu, engeri Yakuwa gy’atusobozesa okuba obumu, era n’ebintu ebinaatuyamba okusigala nga tuli bumu. Lwaki tosoma esuula eyo yonna kikuyambe okuganyulwa mu kitundu kino?
Lwaki Kyetaagisa Okufuba Ennyo Okusobola Okuba Obumu?
5. Lwaki bamalayika ba Katonda basobola okuweereza nga bali bumu, naye lwaki ffe kituzibuwalira okusigala nga tuli bumu?
5 Pawulo yakubiriza baganda be Abeefeso ‘okufuba ennyo okukuuma obumu obw’omwoyo.’ (Bef. 4:3) Okusobola okutegeera ensonga lwaki kyetaagisa okufuba ennyo, lowooza ku bamalayika ba Katonda. Okuva bwe kiri nti ku nsi tekuli biramu bifaanaganira ddala, tusobola okugamba nti n’obukadde n’obukadde bwa bamalayika ba Yakuwa baatondebwa nga tekuli n’omu afaanana munne. (Dan. 7:10) Wadde nga bamalayika tebafaanagana, baweereza Yakuwa nga bali bumu olw’okuba bonna bamuwuliriza era bakola by’ayagala. (Soma Zabbuli 103:20, 21.) Bo bamalayika abeesigwa balina ngeri nnungi zokka, so ng’ate Abakristaayo bo balina n’obunafu obutali bumu. Kino kiyinza okukifuula ekizibu eri Abakristaayo okusigala nga bali bumu.
6. Ngeri ki ezinaatuyamba okukolagana obulungi n’ab’oluganda abalina obunafu obwawukana ku bwaffe?
6 Abantu abatatuukiridde bwe bakolera awamu, batera okufuna obutakkaanya. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku b’oluganda babiri abaweerereza awamu Yakuwa, omu mukkakkamu naye nga tatera kukuuma biseera ate omulala akwata ebiseera naye ng’anyiiga mangu. Buli omu ayinza okulowooza nti enneeyisa ya munne tesaana naye ne yeerabira nti naye alina obunafu. Ab’oluganda abo bombi bayinza batya okuweereza Yakuwa nga bali bumu? Weetegereze engeri ebigambo bya Pawulo ebiddirira gye biyinza okubayamba. Era lowooza ku ngeri okukolera ku bigambo ebyo gye kisobola okutuyamba okukuuma obumu. Pawulo yawandiika nti: “Mbeegayirira okweyisa mu ngeri esaanira . . . nga muba bawombeefu, nga muba bakkakkamu, nga mugumiikiriza, era nga buli omu azibiikiriza munne mu kwagala, nga mufuba nnyo okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe eginyweza.”—Bef. 4:1-3.
7. Lwaki kikulu nnyo okufuba okuba obumu nga tuweereza Katonda awamu ne Bakristaayo bannaffe abatatuukiridde?
7 Kikulu okuba obumu nga tuweereza Katonda awamu ne bannaffe abatatuukiridde okuva bwe kiri nti waliwo ekibiina kimu kyokka eky’abasinza ab’amazima. “Waliwo omubiri gumu n’omwoyo gumu, era nga bwe waliwo essuubi limu lye mwayitirwa; Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatizibwa kumu; Katonda omu era ye Kitaawe w’abantu bonna.” (Bef. 4:4-6) Abo bokka abali mu kibiina ky’akozesa, Yakuwa b’awa omwoyo gwe n’emikisa gye. Ka wabe nga waliwo omuntu atunyiizizza mu kibiina, waliwo awalala gye tuyinza okugenda? Tewali walala wonna gye tuyinza kufuna bigambo bya bulamu butaggwaawo.—Yok. 6:68.
‘Ebirabo mu Bantu’ Batumbula Obumu
8. Kristo akozesa ki okutuyamba okwewala enjawukana?
8 Pawulo yayogera ku kintu ekyakolebwanga abaserikale mu biseera by’edda okulaga engeri Yesu gye yagaba “abantu ng’ebirabo” okuyamba okuleetawo obumu mu kibiina. Omuserikale yali asobola okuwamba omuntu mu lutalo n’amuleeta ayambeko mukazi we ku mirimu gy’awaka. (Zab. 68:1, 12, 18) Mu ngeri y’emu, Yesu bwe yawangula ensi yafuna abaddu bangi abeetegefu okuweereza. (Soma Abeefeso 4:7, 8.) Yakozesa atya abaddu abo ab’akabonero? “Abamu yabawaayo okubeera abatume, abalala bannabbi, abalala babuulizi, abalala basumba n’abalala bayigiriza, olw’okutereeza abatukuvu basobole okukola omulimu gw’obuweereza, n’okuzimba omubiri gwa Kristo, okutuusa ffenna lwe tulituuka okuba obumu mu kukkiriza.”—Bef. 4:11-13.
9. (a) ‘Ebirabo mu bantu’ batuyamba batya okukuuma obumu? (b) Lwaki buli omu mu kibiina alina okubaako ky’akolawo okuyamba okukuuma obumu bwakyo?
9 Ng’abasumba abalina okwagala, ‘ebirabo mu bantu’ batuyamba okukuuma obumu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, singa omukadde mu kibiina akiraba nti ab’oluganda babiri batandise “okuvuganya,” asobola okubaako ky’akolawo okukuuma obumu mu kibiina ng’ababuulirira asobole ‘okubatereeza, naye ng’akikola mu mwoyo omukkakkamu.’ (Bag. 5:26–6:1) Ng’abayigiriza, ‘ebirabo mu bantu’ batuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe okwesigamiziddwa ku ebyo Baibuli by’eyigiriza. Mu ngeri eyo batumbula obumu era batuyamba okwongera okukula mu by’omwoyo. Pawulo yagamba nti “tuleme kuba nate baana bato, nga tulinga abasuukundibwa amayengo, nga tuzzibwa eno n’eri embuyaga eya buli njigiriza olw’obukuusa bw’abantu n’olw’endowooza ez’obulimba ezikyamya.” (Bef. 4:13, 14) Buli Mukristaayo asaanidde okubaako ky’akolawo okuyamba okukuuma obumu bw’ekibiina, ng’ebitundu by’omubiri bwe biyambagana.—Soma Abeefeso 4:15, 16.
Kulaakulanya Endowooza Empya
10. Ebikolwa eby’obugwenyufu biyinza bitya okumalawo obumu bwaffe?
10 Weetegerezza nti essuula ey’okuna ey’ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abeefeso ekiraga bulungi nti okwagala kintu kikulu nnyo okusobola okuba obumu ng’Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo? Era essuula eyo eraga kye kitegeeza okuba n’okwagala. Ng’ekyokulabirako, omuntu alina okwagala yeewala obwenzi n’obugwenyufu. Pawulo yakubiriza baganda be ‘obutatambula ng’ab’amawanga bwe batambula.’ Abantu b’amawanga baali “tebakyalina nsonyi,” era nga “beewaayo mu bugwenyufu.” (Bef. 4:17-19) Ebintu eby’obugwenyufu ebicaase ennyo mu nsi ya kakyo kano biyinza okumalawo obumu bwaffe. Abantu banyumya ku bikolwa eby’obwenzi, babiteeka mu nnyimba zaabwe, babiraba nga beesanyusaamu, era babikola mu nkukutu ne mu lwatu. Kyokka n’okuzannyirira n’abo b’otofaanaganya nabo kikula, ekizingiramu okweyisa mu ngeri eraga nti weegwanyiza omuntu naye nga tolina kigendererwa kya kumuwasa oba kumufumbirwa, kisobola okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa awamu n’ekibiina kye. Lwaki? Kubanga kiyinza okukuleetera okugwa mu bwenzi. Ate era okuzannyirira mu ngeri eyo bwe kiviirako omufumbo okugwa mu bwenzi, kiyinza okusattulula amaka. Ng’ekyo kiba kya kabi nnyo! Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yawandiika nti: “Temwayiga nti Kristo ali bw’atyo.”—Bef. 4:20, 21.
11. Abakristaayo Baibuli ebakubiriza kukola nkyukakyuka ki?
11 Pawulo yakiraga nti tusaanidde okwewala endowooza embi, tukulaakulanye endowooza eneetuyamba okuba obumu n’abalala. Yagamba nti: “Mulina okweyambulako omuntu omukadde akwatagana n’empisa zammwe ez’edda era ayonoonebwa olw’okwegomba kwe okw’obulimba; . . . mulina okufuulibwa abaggya mu maanyi agafuga ebirowoozo byammwe, era mulina okwambala omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima ne mu bwesigwa.” (Bef. 4:22-24) Tuyinza tutya ‘okufuulibwa abaggya mu maanyi agafuga ebirowoozo byaffe’? Okufumiitiriza ku bintu bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda era ne ku byokulabirako by’Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo, kisobola okutuyamba okufuna omuntu omuggya “eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala.”
Kulaakulanya Enjogera Eppya
12. Okwogera amazima kituyamba kitya okuba obumu, era lwaki abamu bazibuwalirwa okwogera amazima?
12 Okwogera amazima kintu kikulu nnyo mu maka ne mu kibiina. Abantu bwe baba abeesimbu era ab’ekisa mu njogera yaabwe, kibayamba okuba n’enkolagana ennungi. (Yok. 15:15) Ate kiri kitya singa ow’oluganda alimba munne? Muganda we bw’akizuula, obwesigwa bw’abadde amulinamu bukendeera. Ekyo kituyamba okutegeera ensonga lwaki Pawulo yawandiika nti: “Mwogere amazima buli muntu eri munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.” (Bef. 4:25) Omuntu bw’aba n’omuze ogw’okulimba, oboolyawo nga gwatandika akyali muto, kiyinza okumuzibuwalira okutandika okwogera amazima. Kyokka bw’afuba okwogera amazima, Yakuwa kimusanyusa era amuyamba okukikola.
13. Okwewala okuvuma kizingiramu ki?
13 Yakuwa atuyigiriza okuwa abalala ekitiibwa n’okukuuma obumu mu kibiina ne mu maka ng’atuyamba okumanya engeri gye tuyinza okufugamu olulimi lwaffe. “Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe . . . Okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, awamu n’obubi bwonna biggyibwe mu mmwe.” (Bef. 4:29, 31) Ekimu ku bintu ebinaatuyamba okwewala enjogera embi kwe kuyiga okuwa abalala ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, omusajja alina omuze ogw’okuvuma mukazi we asaanidde okufuba okukyusa endowooza ye, naddala bw’agenda ayiga engeri Yakuwa gy’awaamu abakazi ekitiibwa. Katonda afuka omwoyo gwe omutukuvu ne ku bakazi abamu, n’abawa enkizo ey’okufugira awamu ne Kristo. (Bag. 3:28; 1 Peet. 3:7) Mu ngeri y’emu, omukazi alina omuze ogw’okuyombesa bba asaanidde okukyusaamu bw’agenda yeeyongera okuyiga engeri Yesu gye yeeyisangamu nga bamunyiizizza.—1 Peet. 2:21-23.
14. Lwaki kya kabi okulemererwa okufuga obusungu?
14 Omuntu okuvuma omulala kitera kuva ku kulemererwa kufuga busungu. Kino nakyo kisobola okuleetawo enjawukana mu bantu. Obusungu bulinga omuliro. Okulemererwa okubufuga kivaamu ebizibu. (Nge. 29:22) Omuntu bw’aba ayagala okwogera ekintu ekimunyiizizza asaanidde okufuga obusungu bwe aleme kwonoona nkolagana ye n’abalala. Abakristaayo basaanidde okusonyiwa, obutasiba kiruyi, n’obutaddamu kwogera ku nsonga eba emaze okugonjoolwa. (Zab. 37:8; 103:8, 9; Nge. 17:9) Pawulo yabuulirira Abeefeso ng’agamba nti: “Musunguwalenga naye temwonoona; enjuba eremenga okugwa nga mukyali basunguwavu, era temuwanga Mulyolyomi mwagaanya.” (Bef. 4:26, 27) Okulemererwa okufuga obusungu kiwa Sitaani omwagaanya okwawulayawula ekibiina n’okuleetawo obukuubagano.
15. Kabi ki akali mu kutwala ebintu ebitali byaffe?
15 Okussa ekitiibwa mu bintu by’abalala nakyo kiyamba mu kukuuma obumu bw’ekibiina. Tusoma nti: “Omubbi alemenga okubba nate.” (Bef. 4:28) Abantu ba Yakuwa okutwalira awamu beesigaŋŋana. Singa Omukristaayo atwala ebintu ebitali bibye, asobola okugootaanya obumu bw’ekibiina.
Okwagala Katonda Kutugatta
16. Tuyinza tutya okukozesa olulimi lwaffe okutumbula obumu?
16 Ekibiina Ekikristaayo kiri bumu olw’okuba bonna abakirimu baagala Katonda ne bantu bannaabwe. Okusiima kwe tulina eri ekisa kya Yakuwa kutukubiriza okukolera ku kubuulirira kuno: “Mwogerenga ekirungi ekizimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa, kisobole okuganyula abawuliriza. . . . Mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne, nga musaasiragana, nga musonyiwagana nga Katonda bwe yabasonyiwa okuyitira mu Kristo.” (Bef. 4:29, 32) Olw’okuba wa kisa, Yakuwa asonyiwa abantu abatuukiridde nga ffe. Ekyo tekyanditukubiriza okusonyiwa abalala olw’ensobi ze bakola olw’obutali butuukirivu bwabwe?
17. Lwaki tusaanidde okufuba okukuuma obumu?
17 Obumu obuli mu bantu ba Katonda buweesa Yakuwa ekitiibwa. Omwoyo gwe omutukuvu gwe gutusobozesa okukuuma obumu. Mu butuufu, tetwandyagadde kugaana bulagirizi bwa mwoyo mutukuvu. Pawulo yawandiika nti: “Temunakuwazanga mwoyo gwa Katonda omutukuvu.” (Bef. 4:30) Obumu kintu kya muwendo nnyo kye tulina okukuuma. Abantu ababa obumu baba basanyufu era ekyo kiweesa Yakuwa ekitiibwa. “N’olwekyo, mukoppe Katonda ng’abaana abaagalwa, era mutambulirenga mu kwagala.”—Bef. 5:1, 2.
Wandizzeemu Otya?
• Ngeri ki eziyamba Abakristaayo okuba obumu?
• Enneeyisa yaffe eyamba etya mu kukuuma obumu mu kibiina?
• Enjogera yaffe eyinza etya okutuyamba okukolagana obulungi n’abalala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Abantu okuva mu mawanga ag’enjawulo bali bumu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Omanyi akabi akali mu kuzannyirira n’abo b’otofaanaganya nabo kikula?