Obumu mu Bakristaayo ab’Amazima—Busoboka Butya?
1 Kiki ekiyinza okugatta awamu abantu abasukka mu bukadde omukaaga abali mu nsi 234 ate nga boogera ennimi nga 380? Okusinza Yakuwa Katonda. (Mi. 2:12; 4:1-3) Abajulirwa ba Yakuwa bamanyi nti obumu mu Bakristaayo ab’amazima weebuli leero. Nga “ekisibo kimu” wansi ‘w’omusumba omu,’ tuli bamalirivu okuziyiza omwoyo gw’ensi ogwawulayawula.—Yok. 10:16; Bef. 2:2.
2 Ekigendererwa kya Katonda kiri nti bamalayika n’abantu babeere bumu mu kusinza okw’amazima. (Kub. 5:13) Olw’okumanya obukulu bwa kino, Yesu yasaba Katonda nti abagoberezi be babeere bumu. (Yok. 17:20, 21) Tusobola tutya kinnoomu okukolerera obumu mu kibiina Ekikristaayo?
3 Engeri Obumu gye Butuukibwako: Awatali Kigambo kya Katonda n’omwoyo ggwe, Abakristaayo tebasobola kubeera bumu. Okussa mu nkola bye tuyiga mu Baibuli kisobozesa omwoyo gwa Katonda okukolera mu bulamu bwaffe. Kino kitusobozesa ‘okuba obumu era nga tulina emirembe.’ (Bef. 4:3) Kitukubiriza okuzibiikirizagana mu kwagala. (Bak. 3:13, 14; 1 Peet. 4:8) Otumbula obumu ng’ofumiitiriza ku Kigambo kya Katonda buli lunaku?
4 Omulimu gw’okubuulira n’okufuula abayigirizwa nagwo gutugatta wamu. Bwe tukola n’abalala mu buweereza obw’Ekikristaayo, ‘nga tuli bumu mu kulwanirira enjiri,’ tuba ‘tukolera wamu mu mazima.’ (Baf. 1:27; 3 Yok. 8) Bwe tukola bwe tutyo, obumu n’okwagala byeyongera mu kibiina. Lwaki tosaba omuntu gw’oludde okukola naye okugenda naawe mu buweereza bw’ennimiro wiiki eno?
5 Nga tulina enkizo ya maanyi okuba mu luganda olw’amazima olw’ensi yonna oluliwo leero! (1 Peet. 5:9) Gye buvuddeko awo, abantu nkumi na nkumi baalaba obumu bwe tulina mu nsi yonna nga bali mu Nkuŋŋaana ez’Ensi yonna eza “Muwe Katonda Ekitiibwa.” Ka buli omu ku ffe afube okukolerera obumu buno ng’asoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku, ng’agonjoola enjawukana mu ngeri ey’okwagala, era ng’abuulira amawulire amalungi “n’omwoyo ogumu.”—Bar. 15:6.