LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 9/15 lup. 12-16
  • Obumu Bwawulawo Okusinza okw’Amazima

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obumu Bwawulawo Okusinza okw’Amazima
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okusinza okw’Amazima Kugatta Kutya Abantu?
  • Ensibuko Yokka ey’Obulagirizi obw’Eby’omwoyo
  • Engeri y’Okwewalamu Amalala n’Obuggya
  • Kristendomu​—Ejjudde Enjawukana
  • Beewala Mwoyo gwa Ggwanga
  • Obumu bw’Abakristaayo Buweesa Katonda Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Obumu mu Bakristaayo ab’Amazima—Busoboka Butya?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Obumu mu Kusinza—Butegeeza Ki mu Kiseera Kyaffe?
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 9/15 lup. 12-16

Obumu Bwawulawo Okusinza okw’Amazima

“Ndibateeka awamu ng’endiga eza Bozula.”​—MI. 2:12.

1. Obutonde bwoleka butya amagezi ga Katonda?

OMUWANDIISI wa Zabbuli yagamba nti: “Ai Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi! Wagikola gyonna mu magezi: ensi ejjudde obugagga bwo.” (Zab. 104:24) Amagezi ga Katonda geeyolekera mu ngeri ebimera, ebiwuka, ebisolo, n’obuwuka obusirikitu gye biyambaganamu okusobola okubeerawo nga biramu. Ate era ebitundu byonna eby’omubiri gwo bikolaganira wamu, ne kikusobozesa okubeera omulamu obulungi.

2. Nga bwe kiragibwa ku lupapula 13, lwaki kyali kyewunyisa nnyo okuba nti Abakristaayo baali bumu?

2 Yakuwa yatonda abantu nga buli omu yeetaaga munne. Abantu balina endabika, engeri, n’obusobozi eby’enjawulo. Okugatta ku ekyo, yatonda abantu abaasooka nga balina engeri ng’ezize ezandibasobozesezza okukolagana obulungi. (Lub. 1:27; 2:18) Kyokka abantu bonna okutwalira awamu beeyawudde ku Katonda era tebali bumu. (1 Yok. 5:19) N’olwekyo, eky’okuba nti ekibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka kyalimu abantu ab’enjawulo gamba ng’abaddu Abeefeso, abakazi Abayonaani abaali abaatiikirivu, abasajja Abayudaaya abaali abayivu ennyo, n’abo abaasinzanga ebifaananyi nga tebannayiga mazima, okubeera obumu kyali kyewuunyisa nnyo.​—Bik. 13:1; 17:4; 1 Bas. 1:9; 1 Tim. 6:1.

3. Baibuli ennyonnyola etya obumu obuli mu Bakristaayo, era bintu ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

3 Okusinza okw’amazima kusobozesa abantu okukolagana obulungi ng’ebitundu by’omubiri. (Soma 1 Abakkolinso 12:12, 13.) Mu kitundu kino tugenda kwetegereza ebintu bino: Okusinza okw’amazima kugatta kutya abantu? Lwaki Yakuwa yekka y’asobola okugatta obukadde n’obukadde bw’abantu okuva mu mawanga gonna? Bintu ki ebiyinza okutulemesa okuba obumu Yakuwa by’atuyamba okuvvuunuka? Bwe kituuka ku bumu, njawulo ki eriwo wakati w’Abakristaayo ab’amazima ne Kristendomu?

Okusinza okw’Amazima Kugatta Kutya Abantu?

4. Okusinza okw’amazima kugatta kutya abantu?

4 Abantu abali mu kusinza okw’amazima bakimanyi bulungi nti olw’okuba Yakuwa ye yatonda ebintu byonna, y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. (Kub. 4:11) Wadde ng’Abakristaayo ab’amazima bava mu mawanga ag’enjawulo era nga bali mu mbeera za njawulo, bonna bagondera amateeka ga Katonda ge gamu era bakolera ku misingi gya Baibuli gye gimu. Abasinza ab’amazima bonna Yakuwa bamuyita ‘Kitaabwe.’ (Is. 64:8; Mat. 6:9) Bwe kityo, bonna ba luganda mu by’omwoyo era bali bumu ng’omuwandiisi wa Zabbuli bw’alaga ng’agamba nti: “Laba bwe kuli okulungi, bwe kusanyusa, ab’oluganda okutuula awamu nga batabaganye!”​—Zab. 133:1.

5. Ngeri ki esobozesa abasinza ab’amazima okuba obumu?

5 Wadde ng’Abakristaayo ab’amazima tebatuukiridde, basinza Katonda nga bali bumu olw’okuba baagalana. Yakuwa y’abayigiriza okwagalana. (Soma 1 Yokaana 4:7, 8.) Ekigambo kye kigamba nti: “Mwambale obusaasizi, ekisa, okwewombeeka, obuteefu n’okugumiikiriza. Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo. Naye, ku ebyo byonna, mwambale okwagala kubanga kwe kunywereza ddala obumu.” (Bak. 3:12-14) Okwagala okunywereza ddala obumu y’engeri enkulu eyawulawo Abakristaayo ab’amazima. Naawe okyetegerezza nti obumu buno bwawulawo okusinza okw’amazima?​—Yok. 13:35.

6. Essuubi ly’Obwakabaka lituyamba litya okusigala nga tuli bumu?

6 Abasinza ab’amazima era bali bumu olw’okuba essuubi lyabwe lyonna balitadde mu Bwakabaka bwa Katonda. Bakimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuggyawo gavumenti z’abantu era buleetere abantu abawulize emikisa n’emirembe ebya nnamaddala. (Is. 11:4-9; Dan. 2:44) N’olwekyo, Abakristaayo bagondera ekyo Yesu kye yayogera ku bagoberezi be ng’agamba nti: “Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.” (Yok. 17:16) Abakristaayo ab’amazima tebeeyingiza mu nkaayana za nsi eno; era ekyo kibayambye okusigala nga bali bumu wadde ng’abantu ababeetoolodde bali mu ntalo.

Ensibuko Yokka ey’Obulagirizi obw’Eby’omwoyo

7, 8. Obulagirizi obuli mu Baibuli butuyamba butya okusigala nga tuli bumu?

7 Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baali bumu olw’okuba bonna baafunanga obulagirizi okuva ku nsibuko emu. Baali bakimanyi bulungi nti Yesu yali ayigiriza era ng’akulembera ekibiina okuyitira mu kakiiko akafuzi akaaliko abatume n’abakadde mu Yerusaalemi. Abasajja bano abeesigwa buli kimu kye baasalangawo baakyesigamyanga ku Kigambo kya Katonda era baalina abalabirizi abatambula abaatwalanga obubaka bwabwe mu bibiina ebyali mu bitundu ebitali bimu. Ng’eyogera ku bamu ku balabirizi abo, Baibuli egamba nti: “Ne bayita mu bibuga ne babuulira abaayo eby’okugoberera, ebyali bisaliddwawo abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi.”​—Bik. 15:6, 19-22; 16:4.

8 Ne leero, Akakiiko Akafuzi akaliko Abakristaayo abaafukibwako amafuta kayamba ekibiina Ekikristaayo mu nsi yonna okusigala nga kiri bumu. Akakiiko Akafuzi kawa obulagirizi okuyitira mu bitabo ebikubibwa mu nnimi ezitali zimu. Emmere eno ey’eby’omwoyo yeesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda. N’olwekyo, ebyo ebiyigirizibwa tebiva eri bantu wabula biva eri Yakuwa.​—Is. 54:13.

9. Omulimu Katonda gwe yatuwa gutuyamba gutya okusigala nga tuli bumu?

9 Abalabirizi Abakristaayo nabo batuyamba okusigala nga tuli bumu nga batwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira. Obumu abaweereza ba Katonda bwe booleka nga bakola omulimu gwe, bwawukana nnyo ku bumu abantu b’ensi bwe booleka nga bakola emirimu gyabwe. Ekigendererwa ky’ekibiina Ekikristaayo si kufuniramu bufunizi mikwano, wabula kwe kuweesa Yakuwa ekitiibwa n’okukola omulimu gwe​—ogw’okubuulira amawulire amalungi, okufuula abantu abayigirizwa, n’okuzimba ekibiina. (Bar. 1:11, 12; 1 Bas. 5:11; Beb. 10:24, 25) Bwe kityo, omutume Pawulo yali asobola okugamba Bakristaayo banne nti: “Muli banywevu mu mwoyo gumu, nga muli omuntu omu mu kulwanirira okukkiriza okwesigamiziddwa ku mawulire amalungi.”​—Baf. 1:27.

10. Ng’abantu ba Katonda, bintu ki ebitusobozesezza okusigala nga tuli bumu?

10 Ng’abantu ba Yakuwa, tuli bumu olw’okuba tukkiriza obufuzi bwa Yakuwa, twagala baganda baffe, essuubi lyaffe lyonna tulitadde mu Bwakabaka bwa Katonda, era tussa ekitiibwa mu abo Katonda baakozesa okutukulembera. Yakuwa atuyamba okweggyamu endowooza embi eziva ku butali butuukirivu bwaffe eziyinza okutulemesa okusigala nga tuli bumu.​—Bar. 12:2.

Engeri y’Okwewalamu Amalala n’Obuggya

11. Lwaki amalala galeeta enjawukana mu bantu, era Yakuwa atuyamba atya okugeggyamu?

11 Amalala galeeta enjawukana mu bantu. Omuntu ow’amalala aba yeetwala okuba owa waggulu era aba ayagala nnyo okwewaana. Kyokka kino kisobola okumalawo obumu; abo abamuwulira nga yeewaana bayinza okukwatibwa obuggya. Omuyigirizwa Yakobo agamba nti: “Okwenyumiriza ng’okwo kwonna kubi.” (Yak. 4:16) Okutwala abalala ng’aba wansi tekiba kikolwa kya kwagala. Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obuwombeefu ng’akolagana n’abantu nga ffe abatatuukiridde. Dawudi yawandiika nti: “Obuwombeefu [bwa Katonda] bungulumizizza.” (2 Sam. 22:36) Ekigambo kya Katonda kituyamba okweggyamu amalala nga kituyigiriza okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Pawulo yaluŋŋamizibwa okubuuza nti: “Ani akufuula ow’enjawulo ku mulala? Mazima ddala kiki ky’olina ky’otaaweebwa? Kaakano bw’oba nga waweebwa buweebwa, lwaki weewaana nga gy’obeera nti tewaweebwa buweebwa?”​—1 Kol. 4:7.

12, 13. (a) Lwaki kyangu okukwatirwa abalala obuggya? (b) Miganyulo ki egiri mu kutwala abalala nga Yakuwa bw’abatwala?

12 Obuggya kye kintu ekirala ekiyinza okumalawo obumu. Olw’okuba twasikira obutali butuukirivu, ffenna tulina “omwoyo ogw’obuggya,” era n’Abakristaayo abamaze ebbanga eddene nga baweereza Yakuwa oluusi bayinza okukwatirwa abalala obuggya olw’enkizo ze balina, eby’obugagga byabwe, obusobozi bwe balina, oba olw’embeera yaabwe. (Yak. 4:5) Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omufumbo alina abaana ayinza okukwatirwa ow’oluganda ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna obuggya, kyokka nga tamanyi nti n’oyo ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna ayinza okuba ng’amukwatirwa obuggya olw’okuba alina abaana. Kati olwo tuyinza tutya okwewala embeera ng’eyo okumalawo obumu bwaffe?

13 Okusobola okutuyamba okwewala obuggya, Baibuli egeraageranya ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ku bitundu by’omubiri. (Soma 1 Abakkolinso 12:14-18.) Ng’ekyokulabirako, wadde ng’eriiso lyo lirabika ng’ate omutima gwo tegulabika, byombi si bya mugaso gy’oli? Mu ngeri y’emu, Yakuwa atwala bonna abali mu kibiina nga ba muwendo wadde ng’abamu bye bakola birabika nnyo okusinga eby’abalala. N’olwekyo, ka tufube okutwala baganda baffe nga Yakuwa bw’abatwala. Mu kifo ky’okukwatirwa abalala obuggya, tusaanidde okulaga nti tubafaako era nti tubaagala. Bwe tukola tutyo, tuba tulaga nti waliwo enjawulo wakati w’Abakristaayo ab’amazima n’abo abali mu madiini ga Kristendomu.

Kristendomu​—Ejjudde Enjawukana

14, 15. Obukristaayo obw’obulimba bwajja butya okubaamu enjawukana?

14 Waliwo enjawulo y’amaanyi wakati w’Abakristaayo ab’amazima abali obumu n’abo abali mu madiini ga Kristendomu agajjudde enjawukana. Ekyasa eky’okuna kyagenda okutuuka nga waliwo amadiini mangi ag’obulimba ageeyita Amakristaayo. Empura wa Rooma eyali omukaafiiri yagassa wansi w’obuyinza bwe, era ng’eyo ye yali entandikwa ya Kristendomu. Olw’enjawukana ezajja zibaawo, amawanga mangi gaagenda geekutula ku Rooma ne gatandikawo ensinza ezaago ku bwago.

15 Mangi ku mawanga ago gaamala ebyasa bingi nga galwanagana. Mu kyasa ekya 17 ne 18, abantu mu Bungereza, Bufalansa, ne mu Amerika baakubirizibwanga okwagala ennyo ensi zaabwe, bwe kityo mwoyo gwa ggwanga ne gufuuka ng’eddiini. Mu kyasa ekya 19 ne 20, abantu abasinga obungi baatwalirizibwa nnyo mwoyo gwa ggwanga. N’ekyavaamu, amadiini ga Kristendomu geekutulakutulamu ebiwayi, ng’ebisinga obungi ku byo biwagira mwoyo gwa ggwanga. Bangi ku abo abeeyita Abakristaayo batuuse n’okulwanagana ne bakkiriza bannaabwe abali mu mawanga amalala. Leero, Kristendomu erimu enjawukana ezivudde ku njigiriza ez’enjawulo ne ku mwoyo gwa ggwanga.

16. Bintu ki ebireeseewo enjawukana mu Kristendomu?

16 Mu kyasa ekya 20, abakulembeze bangi mu biwayi by’amadiini ga Kristendomu ebitali bimu baatandikawo kaweefube okusobola okuzzaawo obumu. Wadde nga bafubye nnyo okuzzaawo obumu, amadiini matono nnyo agasobodde okwegatta, era abagoberezi baago bakyalina endowooza ezaawukana ku kutondebwa kw’ebintu, ku kuggyamu embuto, ku kulya ebisiyaga, ne ku kufuula abakazi abakulembeze b’eddiini. Abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu agamu bagezezzaako okusikiriza abantu okuva mu biwayi ebitali bimu nga badibya enjigiriza ezimu ezaali zireetawo enjawukana. Kyokka ekyo kinafuyizza bunafuya okukkiriza kw’abantu era tekiyambye kuleetawo bumu mu Kristendomu.

Beewala Mwoyo gwa Ggwanga

17. Obunnabbi bwalaga butya nti okusinza okw’amazima kwandigasse abantu “mu nnaku ez’oluvannyuma”?

17 Wadde nga leero waliwo enjawukana nnyingi mu bantu, obumu bweyongera okwawulawo abasinza ab’amazima. Nnabbi wa Katonda Mikka yalagula nti: “Ndibateeka awamu ng’endiga eza Bozula.” (Mi. 2:12) Mikka yalagula nti okusinza okw’amazima kwandigulumiziddwa okusinga okusinza okulala kwonna, ka kube kusinza bakatonda ab’obulimba oba okusinza eggwanga nga katonda. Yawandiika nti: “Mu nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi olw’ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu. Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya [Yakuwa] Katonda waffe.”​—Mi. 4:1, 5.

18. Okusinza okw’amazima kutuyambye kukola nkyukakyuka ki?

18 Mikka era yalaga engeri okusinza okw’amazima gye kwandigasseemu abantu abandibadde batakwatagana. ‘Abantu okuva mu mawanga mangi baligenda, ne boogera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby’enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge. Era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n’amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.’ (Mi. 4:2, 3) Abo abaleka okusinza bakatonda ab’obulimba ne batandika okusinza Yakuwa baba bumu mu nsi yonna. Katonda abayigiriza amakubo ge ag’okwagala.

19. Eky’okuba nti okusinza okw’amazima kugasse obukadde n’obukadde bw’abantu kiraga ki?

19 Obumu obuli mu Bakristaayo ab’amazima mu nsi yonna leero tebusangika walala wonna era obwo bukakafu obulaga nti Yakuwa yeeyongera okuwa abantu be obulagirizi ng’akozesa omwoyo gwe. Abantu okuva mu mawanga gonna beeyongera okugattibwa awamu ku kigero ekitabangawo mu byafaayo by’omuntu. Kino kituukiriza bulungi ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 7:9, 14, era kiraga nti bamalayika ba Katonda banaatera okuta “empewo” ezijja okuzikiriza enteekateeka eno ey’ebintu embi. (Soma Okubikkulirwa 7:1-4, 9, 10, 14.) Nga nkizo y’amaanyi okubeera omu ku abo abali mu luganda olw’ensi yonna oluli obumu! Kati olwo buli omu ku ffe ayinza kukola ki okukuuma obumu obwo? Ekyo kijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.

Wandizzeemu Otya?

• Okusinza okw’amazima kugatta kutya abantu?

• Tuyinza tutya okwewala obuggya obuyinza okwonoona obumu bwaffe?

• Lwaki mwoyo gwa ggwanga tegusobola kwawulamu basinza b’amazima?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baali bava mu mawanga ag’enjawulo

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]

Okwenyigira mu mirimu gy’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka kiyamba kitya okutumbula obumu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share