Essuula Esooka
Obumu mu Kusinza—Butegeeza Ki mu Kiseera Kyaffe?
1, 2. (a) Nteekateeka ki eriwo mu kiseera kyaffe? (b) Ssuubi ki ery’ekitalo abantu ab’emitima emyesigwa lye balina?
OKWETOOLOOLA ensi, waliwo enteekateeka esobozesa obumu mu kusinza okubaawo. Esobozesezza obukadde n’obukadde bw’abantu okuva mu mawanga gonna, ebika n’ennimi okubeera obumu. Buli mwaka wabaawo abalala abakuŋŋaanyizibwa. Obukadde n’obukadde bw’abantu bano boogerwako mu Baibuli nga ‘abajulirwa’ ba Yakuwa, era bayitibwa ‘ekibiina ekinene.’ Benyigira mu ‘kusinza okutukuvu emisana n’ekiro.’ (Isaaya 43:10-12; Okubikkulirwa 7:9-15) Lwaki bakwenyigiramu? Kubanga bategedde nti Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima. Kino kibakubiriza okutuukanya obulamu bwabwe n’emitindo gye egy’obutuukirivu. Era, bategedde nti tuli mu ‘nnaku ez’oluvannyuma’ ez’ensi eno embi, Katonda gy’anaatera okuzikiriza era mu kifo kyayo, azzeewo ensi empya.—2 Timoseewo 3:1-5, 13; 2 Peetero 3:10-13.
2 Ekigambo kya Katonda kisuubiza: “Waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo . . . Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.” (Zabbuli 37:10, 11) “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:4.
3. Kiki ekiviirako obumu mu kusinza?
3 Abakuŋŋaanyizibwa kati mu kusinza okw’amazima, be banaasooka okubeera mu nsi eyo empya. Bayize Katonda by’ayagala era bafuba nga bwe basobola okubituukiriza. Ng’alaga obukulu bw’okukola ekyo, Yesu yagamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Omutume Pawulo yawandiika: “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:17.
Ddala Obumu Butegeeza Ki?
4. (a) Okukuŋŋaanyizibwa kw’abantu abangi mu kusinza okw’amazima mu kiseera kyaffe kutegeeza ki? (b) Baibuli eyogera etya ku kukuŋŋaanyizibwa kuno?
4 Okukuŋŋaanyizibwa kw’abantu abangi mu kusinza okw’amazima mu kiseera kyaffe kutegeeza ki? Bujulizi obulaga nti tusemberedde enkomerero y’ensi eno embi, era oluvannyuma lw’ekyo wagenda kuddawo ensi ya Katonda empya. Tulaba n’amaaso gaffe okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli obwalagula okukuŋŋaanyizibwa kuno okw’ekitalo. Obumu ku bunnabbi obwo bugamba: “Mu nnaku ez’oluvannyuma [ennaku zino ez’enkomerero] olulituuka olusozi olw’ennyumba ya Mukama [okusinza kwe okw’amazima okugulumiziddwa] luliba lunywevu ku ntikko y’ensozi [waggulu w’okusinza okulala kwonna], . . . era amawanga galikulukutiramu. Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby’enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge.”—Mikka 4:1, 2; Zabbuli 37:34.
5, 6. (a) Mu ngeri ki amawanga gye gasinzaamu Yakuwa? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
5 Wadde ng’amawanga gonna tegasinza Yakuwa mu nnyumba ye ey’eby’omwoyo, obukadde n’obukadde bw’abantu kinnoomu okuva mu mawanga gonna bamusinza. Bwe bayiga ku kigendererwa kya Yakuwa Katonda n’engeri ze ennungi, bakwatibwako nnyo mu mitima gyabwe. Mu bwetoowaze bafuba okutegeera Katonda by’abeetaagisa. Okusaba kwabwe kulinga okw’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba: “Onjigirize okukolanga by’oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange.”—Zabbuli 143:10.
6 Bw’okuba ekifaananyi, naawe weeraba ng’oli mu kibiina ekinene eky’abantu Yakuwa b’akuŋŋaanya mu kusinza okw’amazima? Engeri gy’otwalamu by’oyize mu Kigambo kye eraga nga ddala okitegeera nti Yakuwa ye Nsibuko yaabyo? Onookoma wa ‘okutambulira mu makubo ge’?
Engeri Obumu Gye Butuukibwako
7. (a) Obumu mu kusinza bulituuka wa? (b) Lwaki kikulu nnyo okutandika okusinza Yakuwa kati, era tuyinza tutya okuyamba abalala okukikola?
7 Yakuwa alina ekigendererwa eky’okugatta awamu ebitonde bye byonna ebitegeera, mu kusinza okw’amazima. Nga twesunga nnyo ekiseera bonna abaliba abalamu lwe baliba nga basinza Katonda omu ow’amazima! (Zabbuli 103:19-22) Naye ng’ekyo tekinnabaawo, Yakuwa ateekwa okuzikiriza bonna abagaana okukola by’ayagala. Olw’obusaasizi bwe, amanyisa ky’anaakola nga bukyali, abantu bonna bafune omukisa okukyusa engeri gye beeyisaamu. (Isaaya 55:6, 7) Bwe kityo, mu kiseera kyaffe, “buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu,” bakubirizibwa bwe bati: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.” (Okubikkulirwa 14:6, 7) Oyanukudde omulanga ogwo? Bwe kiba bwe kityo, kati naawe olina enkizo ey’okuyita abalala okumanya n’okusinza Katonda ow’amazima.
8. Oluvannyuma lw’okuyiga enjigiriza za Baibuli ezisookerwako, kukulaakulana kwa ngeri ki kwe twandyeyongedde okukola?
8 Si kigendererwa kya Yakuwa okusinzibwa abantu abagamba nti bamukkiririzaamu naye ate ne beeyongera okuluubirira ebyabwe ku bwabwe. Katonda ayagala abantu ‘bategeere by’ayagala’ era ekyo kyeyoleke mu bulamu bwabwe. (Abakkolosaayi 1:9, 10) Bwe kityo, abantu abaagala amazima bwe bayiga enjigiriza za Baibuli ezisookerwako, baba baagala okukulaakulana bafuuke Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo. Baagala okweyongera okumanya Yakuwa, okugaziya okutegeera kwabwe okukwata ku Kigambo kye, era n’okukigoberera mu bujjuvu mu bulamu bwabwe. Bafuba okwoleka engeri za Kitaabwe ow’omu ggulu n’okutunuulira ebintu nga ye bw’abiraba. Kino kibaleetera okufuba okwenyigira mu mulimu oguwonya obulamu ogukolebwa ku nsi mu kiseera kyaffe. Ekyo naawe okyagala?—Makko 13:10; Abaebbulaniya 5:12–6:3.
9. Obumu obwa nnamaddala buyinza kubaawo mu ngeri ki kati?
9 Baibuli eraga nti abo abaweereza Yakuwa bateekwa okuba obumu. (Abeefeso 4:1-3) Obumu obwo buteekwa okubaawo kati, wadde nga tuli mu nsi eyeeyawuddeyawudde era nga tukyalwanyisa obutali butuukirivu bwaffe. Yesu yasabira abayigirizwa be babe bumu. Ekyo kyanditegeezezza ki? Okusooka, bandibadde n’enkolagana ennungi ne Yakuwa n’Omwana we. Eky’okubiri, bandibadde bumu bokka na bokka. (Yokaana 17:20, 21) Okusobola okutuukiriza ekyo, Yakuwa ayigiriza abantu be okuyitira mu kibiina Ekikristaayo.
Nsonga Ki Ezisobozesa Obumu Okubaawo?
10. (a) Tukulaakulanya ki bwe tukozesa Baibuli okweddamu ebibuuzo ebitukwatako? (b) Wekkaanye ensonga ezisobozesa Abakristaayo okubeera obumu, ng’oddamu ebibuuzo ebiri mu katundu kano.
10 Ensonga musanvu enkulu ezisobozesa obumu mu kusinza okubaawo, zimenyebwa wammanga. Ng’oddamu ebibuuzo ebiweereddwa, lowooza ku ngeri buli nsonga gy’ekwata ku nkolagana yo ne Yakuwa era ne Bakristaayo banno. Okufumiitiriza ku nsonga zino era n’okebera ebyawandiikibwa ebiweereddwa naye nga tebijuliziddwa, kijja kukuyamba okukulaakulanya engeri ng’amagezi, obusobozi bw’okulowooza n’okutegeera. Zino ze ngeri ffenna ze twetaaga. (Engero 5:1, 2; Abafiripi 1:9-11) Wekkaanye ensonga zino kinneemu.
(1) Tukkiriza nti Yakuwa y’alina obuyinza okutusalirawo ekirungi n’ekibi. “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.”—Engero 3:5, 6.
Lwaki twandifubye okufuna obulagirizi bwa Yakuwa nga tusalawo? (Zabbuli 146:3-5; Isaaya 48:17)
(2) Tulina Ekigambo kya Katonda okutuwa obulagirizi. “Bwe mwaweebwa ffe ekigambo eky’okuwulirwa, kye kya Katonda, temwakitoola nga kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda, n’okukola ekikolera mu mmwe abakkiriza.”—1 Abasessalonika 2:13.
Kabi ki akali mu kukola ekyo ffe kye ‘tulowooza’ nti kye kituufu? (Engero 14:12; Yeremiya 10:23, 24; 17:9)
Singa tetumanyi Baibuli ky’eyogera ku nsonga emu, twandikoze ki? (Engero 2:3-5; 2 Timoseewo 3:16, 17)
(3) Ffenna tuganyulwa mu nteekateeka y’emu ey’eby’omwoyo. “N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama.” (Isaaya 54:13) “Era tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng’abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku [olw’okuzikiriza] nga lunaatera okutuuka.”—Abaebbulaniya 10:24, 25.
Abo abeeyambisa mu bujjuvu enteekateeka za Yakuwa ez’okuliisibwa mu by’omwoyo bafuna miganyulo ki? (Isaaya 65:13, 14)
(4) Yesu Kristo ye mukulembeze waffe, so si muntu mulala yenna. “Naye mmwe temuyitibwanga Labbi: kubanga, omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda. Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe: kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu. So temuyitibwanga balagirizi: kubanga omulagirizi wammwe ali omu, ye Kristo.”—Matayo 23:8-10.
Omuntu yenna ku ffe yandirowoozezza nti asinga abalala? (Abaruumi 3:23, 24; 12:3)
(5) Tutunuulira gavumenti y’Obwakabaka bwa Katonda, ng’essuubi lyokka ery’olulyo lw’omuntu. “Kale, musabenga bwe muti, nti Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako.”—Matayo 6:9, 10, 33.
‘Okusooka okunoonya obwakabaka’ kukuuma kutya obumu bwaffe? (Mikka 4:3; 1 Yokaana 3:10-12)
(6) Omwoyo omutukuvu gusobozesa abasinza ba Yakuwa okwoleka engeri ezitumbula obumu obw’Ekikristaayo. “Ebibala by’[o]mwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwoombeefu, okwegendereza.”—Abaggalatiya 5:22, 23.
Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okubala ebibala eby’omwoyo gwa Katonda? (Ebikolwa 5:32)
Okubeera n’omwoyo gwa Katonda kikola ki ku nkolagana yaffe ne Bakristaayo bannaffe? (Yokaana 13:35; 1 Yokaana 4:8, 20, 21)
(7) Bonna abasinza ba Katonda ab’amazima benyigira mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. “N’amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:14, NW.
Kiki ekyanditukubirizza okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira? (Matayo 22:37-39; Abaruumi 10:10)
11. Kiki ekivaamu bwe tugoberera amazima ga Baibuli mu bulamu bwaffe?
11 Okusinza Yakuwa nga tuli bumu, kitusobozesa okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye era n’okusanyukira awamu ne bakkiriza bannaffe. Zabbuli 133:1 lugamba: “Laba bwe kuli okulungi, bwe kusanyusa, ab’oluganda okutuula awamu nga batabaganye!” Nga kizzaamu nnyo amaanyi okuva mu nsi erimu okwerowoozaako, obugwenyufu n’ettemu, ate ne tukuŋŋaana awamu n’abo abaagala Yakuwa era abagondera amateeka ge!
Weewale Ebintu Ebyawulayawula
12. Lwaki tulina okwewala omwoyo gw’okwewaggula ku Katonda?
12 Obutatabangula obumu bwaffe obw’omuwendo mu nsi yonna, tuteekwa okwewala ebintu ebyawulayawula. Ekimu ku ebyo kwe kwewaggula ku Katonda n’amateeka ge. Yakuwa atuyamba okukyewala ng’atutegeeza ali emabega waakyo, Setaani Omulyolyomi. (2 Abakkolinso 4:4; Okubikkulirwa 12:9) Setaani ye yaleetera Adamu ne Kaawa okusuula omuguluka ebyo Katonda bye yabalagira era n’okusalawo ebikontana ne by’ayagala. Ekyo kyabaviiramu emitawaana bo bennyini era naffe. (Olubereberye 3:1-6, 17-19) Omwoyo gw’okwewaggula ku Katonda n’amateeka ge gubunye wonna mu nsi eno. N’olwekyo, tulina okwekuuma tuleme kutwalirizibwa mwoyo ogwo.
13. Kiki ekinaalaga obanga tweteekerateekera obulamu mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu?
13 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kisuubizo kya Yakuwa eky’okuggyawo ensi eno embi ateekewo eggulu eriggya n’ensi empya ‘obutuukirivu mwe bulituula.’ (2 Peetero 3:13) Kino tekyanditukubirizza okutandika okweteekateeka okusobola okubaawo mu kiseera obutuukirivu we bulibeererawo? Ekyo kyetaagisa okugoberera okubuulirira kwa Baibuli: “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye.” (1 Yokaana 2:15) N’olwekyo, twesambe omwoyo gw’ensi eno, gamba ng’endowooza ya kyetwala, okwerowoozaako ekisukkiridde, obugwenyufu n’ettemu. Tugifuule mpisa yaffe okuwuliriza Yakuwa n’okumugondera okuva mu mutima, wadde nga tetutuukiridde. Obulamu bwaffe bwonna bwandiraze nti endowooza yaffe n’ebiruubirirwa byaffe bikwatagana n’okukola Katonda by’ayagala.—Zabbuli 40:8.
14. (a) Lwaki kikulu nnyo okukozesa omukisa oguliwo kati okuyiga amakubo ga Yakuwa n’okugagoberera mu bulamu bwaffe? (b) Ebyawandiikibwa ebiweereddwa mu katundu, bitegeeza ki gye tuli kinnoomu?
14 Ekiseera Yakuwa ky’ategese okuzikiriza embeera z’ebintu zino embi n’abo abaagala engeri zaayo bwe kinaatuuka, tajja kulonzalonza. Tagenda kwongerayo kiseera ekyo oba okukyusa emitindo gye okuwonyawo abo abakyayagala ensi eno nga tebafuba kuyiga Yakuwa by’ayagala n’okubikola. Kati kye kiseera okubaako ky’okolawo! (Lukka 13:23, 24; 17:32; 21:34-36) N’olwekyo, nga kisanyusa nnyo okulaba ng’ab’ekibiina ekinene bakozesa omukisa guno okunoonya obulagirizi Yakuwa bw’awa okuyitira mu Kigambo kye n’entegeka ye era n’okutambulira awamu mu makubo ge batuuke mu nsi empya! Gye tukoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gye tukoma okumwagala n’okwagala okumuweereza.
Eby’Okwejjukanya
• Yakuwa alina kigendererwa ki ku bikwata ku kusinza?
• Oluvannyuma lw’okuyiga enjigiriza za Baibuli ezisookerwako, twandifubye kukulaakulana mu ngeri ki?
• Kiki kye tuyinza okukola kinnoomu okusobola okuba obumu n’abasinza ba Yakuwa abalala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
‘Abawombeefu balisikira ensi era banaasanyukiranga emirembe emingi’