Engeri y’Okubuulira mu Kitundu Ekikolerwamu Bizineesi
1. Miganyulo ki egiri mu kubuulira mu bitundu ebikolerwamu bizineesi?
1 Wandyagadde okubuulirira mu kitundu gye batera okwaniriza abagenyi era nga kizibu obutasanga muntu waka? Osobola okukola ekyo mu kitundu ekibiina kyammwe kye kibuuliramu. Mu ngeri ki? Ng’obuulira mu bifo ebikolerwamu bizineesi. Ababuulizi ababuulira mu maduuka batera okufuna ebibala ebirungi.
2. Okubuulira mu bifo omukolerwa bizineesi kuyinza kutegekebwa kutya?
2 Ebitundu ebimu ebibiina bye bibuuliramu mulimu ebifo ebikolerwamu bizineesi. Ow’oluganda akola ku bitundu ekibiina mwe kibuulira, ayinza okukola kaadi ez’enjawulo eziraga ebifo ebirimu amaduuka amangi. Kaadi z’ebitundu ebisulwamu nga birimu n’ebifo omukolerwa bizineesi zirina okukiraga obulungi nti ebifo omukolerwa bizineesi tebirina kubuulirwamu nga babuulira mu kitundu ekyo. Mu bitundu ebimu, ebifo omukolerwa bizineesi bisobola okukolebwa nga babuulira mu bifo ebisulwamu. Bw’oba nga tobuulirangako mu kifo ekikolerwamu bizineesi, osobola okutandika ng’obuulira mu maduuka amatono.
3. Nga tubuulira mu bifo omuli amaduuka, biki ebinaatuyamba okubuulira mu ngeri ematiza?
3 Kozesa Ennyanjula Ennyangu: Bw’oba ng’obuulira mu maduuka, kikulu okwambala nga bwe wandyambadde ng’ogenda mu lukuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Ate era kikulu okulonda ekiseera ab’amaduuka we babeerera nga tebakola nnyo. Bwe kiba kisoboka, gendayo mu kiseera abaguzi we babeerera nga si bangi. Saba oyogereko ne nnyini lyo. Tolandagga, tuukira ku nsonga. Biki by’oyinza okwogera?
4-6. Biki bye tuyinza okwogera bwe tuba tubuulira abatunda mu madduuka oba bannyini go?
4 Bw’oba ng’oyogera n’oyo atunda oba nnyini dduuka, oyinza okwogera bw’oti: “Abakozi ba bizineesi bakola nnyo ne kiba nti si kyangu okubasanga awaka, eyo ye nsonga lwaki tubakyaliddeko gye mukolera. Magazini zaffe zirina kye zoogera ku bintu ebiriwo mu nsi.” Mulage ensonga emu eri mu magazini.
5 Oba oyinza okukozesa ennyanjula eno: “Abantu bangi baagala okumanya ebisingawo ebikwata ku Baibuli naye balina ebiseera bitono. Ka tulakiti kano koogera ku nteekateeka ey’okuyigirizibwa Baibuli eyinza okukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikwata ku Baibuli.” Oluvannyuma mulage ebiri ku lupapula 4-5 mu tulakiti eriko omutwe ogugamba nti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli?
6 Singa nnyini dduuka alabika nti akola nnyo, osobola okumulekera tulakiti n’omugamba: “Nja kuyitako wano nga tolina bingi bya kukola. Nandyagadde okumanya ky’olowooza ku tulakiti eno.”
7. Tuyinza tutya okweyongera okuyamba abalaze okusiima mu bitundu omukolerwa bizineesi?
7 Okweyongera Okuyamba Omuntu Alaze Okusiima: Osobola okuyigiriza omuntu Baibuli mu kitundu ekikolerwamu bizineesi. Payoniya ow’enjawulo yatwaliranga omusajja omusuubuzi magazini. Omusajja oyo bwe yalaga nti asiima ebyo bye yali ayiga, payoniya yamulaga engeri y’okumuyigirizaamu Baibuli, ng’akozesa brocuwa Atwetaagisa. Yatandika okumuyigiriza Baibuli mu kifo wennyini wakolera. Okusinziira ku mbeera eyabangawo, payoniya yakozesanga eddakiika 10 oba 15 ku buli lusoma. Naffe ka tukole kye kimu, nga tunoonya abo abasaanira nga tubuulira mu bitundu ebikolerwamu bizineesi.