Buulira n’Obuvumu mu Bifo Omukolerwa Bizineesi
1. Lwaki tetusaanidde kuggwamu maanyi bwe kiba nti tutya okubuulira mu bifo omukolerwa bizineesi?
1 Bw’olowooza ku kubuulira mu bifo omukolerwa bizineesi owulira nga kikutiisa? Bwe kiba bwe kityo, toggwamu maanyi, kubanga n’omutume Pawulo, eyali omubuulizi omuvumu era atatya yali yeetaaga ‘okufuna obuvumu’ okusobola okubuulira. (1 Bas. 2:2) Ka tulabe ebimu ku bintu ebiyinza okutweraliikiriza n’ekyo kye tuyinza okukola mu mbeera ng’ezo.
2. Lwaki tetusaanidde kweraliikirira nti tujja kunyiiza abali ku mirimu gyabwe?
2 Okwogera n’Abantu nga Bakola Kinaabanyiiza? Mu bizineesi nnyingi, abakozi baba baweereza abantu era baba basuubira okutaataaganyizibwa. Tebajja kunyiiga, okuva bwe kiri nti baba basuubira nti oyinza okufuuka kasitoma waabwe. Okwambala mu ngeri ekuweesa ekitiibwa n’okwogera mu ngeri ey’ebbugumu era ey’ekisa, kijja kubaleetera okukuwa ekitiibwa.
3. Tuyinza tutya okwewala okunyiiza bakasitoma?
3 Watya Singa Wabaawo Bakasitoma Bangi? Bwe kiba kisoboka, gendayo mu biseera we batabeerera na bya kukola bingi gamba nga baakaggulawo. Linda okutuusa lw’olaba nga bakasitoma bavuddewo olyoke omutuukirire. Kozesa ennyanjula ennyimpimpi.
4. Kiki kye tuyinza okwogera nga tubuulira mu bifo omukolerwa bizineesi?
4 Njogere Ntya Nabo? Bwe kiba nti waliwo abakozi bangi, sooka oyogere n’oyo abakulira. Oyinza okugamba nti: “Kizibu okusanga bannabizineesi awaka, era ye nsonga lwaki tubakyaliddeko eno gye mukolera. Nkimanyi nti olina by’okola, n’olwekyo nja kuyita mu bufunze.” Olw’obutaagala kubaleetera kulowooza nti tulina bye tutunda, kiba kirungi obutayogera ku nteekateeka y’okuwaayo ssente kyeyagalire okuwagira omulimu gw’ensi yonna okuggyako nga tubuuziddwa engeri omulimu gwaffe gye guyimirizibwawo. Okusinziira ku kika kya bizineesi, oyinza okusaba oyo akulira abakozi olukusa oyogereko n’abakozi be mu bufunze. Kozesa ennyanjula y’emu gy’okozesezza ng’oyogera n’oyo abakulira. Omukozi bw’aba alabika ng’alina eby’okukola bingi yita mu bufunze era omulekere ka tulakiti. Bwe kiba tekisoboka kwogera na bakozi, oboolyawo oyinza okukkirizibwa okuleka gamba nga magazini oba tulakiti we bayinza okuzisanga oluvannyuma lw’okukola.
5. Nsonga ki ezandituleetedde okubuulira n’obuvumu mu bifo omukolerwa bizineesi?
5 Yesu ne Pawulo baabuuliranga n’obuvumu abantu abaabanga ku bizineesi zaabwe, naawe osobola okukikola. (Mat. 4:18-21; 9:9; Bik. 17:17) Saba Yakuwa akuyambe obe n’omutima omukkakkamu era obe muvumu. (Bik. 4:29) Abantu abasinga obungi batera okubaawo mu bifo byabwe mwe bakolera bizineesi, n’olwekyo lwaki togezaako engeri eno ey’okubuulira evaamu ebibala?