Okutuukiriza Obulungi Obuweeereza Bwaffe—Okubuulira mu Bifo Awakolerwa Bizineesi
Lwaki Kikulu: Olw’okuba abantu bangi ebiseera ebisinga babimala ku mirimu gyabwe, engeri esinga obulungi ey’okubatuusaako amawulire g’Obwakabaka kwe kugenda mu bifo gye bakolera. Okubuulira mu bifo awakolerwa bizineesi kiyinza okuvaamu ebirungi, kubanga abantu be tutasanze waka bwe baba ku mirimu gyabwe baba beetegefu okutuwuliriza kuba baba balowooza nti tuli bakasitoma. Okusobola okubuulira mu bifo ng’ebyo, tusaanidde okukozesa amagezi, okwekolako era n’okwambala mu ngeri esaanira. (2 Ko. 6:3) N’olwekyo, omulabirizi w’obuweereza asaanidde okumanya obulungi engeri ebitundu ebikolerwamu bizineesi gye bibuulirwamu era asaanidde n’okumanya ababuulizi ababibuuliramu.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
- Mu kusinza kwammwe okw’amaka okunaddako, mwegezeemu ennyanjula ennyimpimpi gye musobola okukozesa nga mubuulira mu kifo awakolerwa bizineesi.