Olina Ekitundu ky’Obuuliramu Ekikyo ku Bubwo?
1. Ekitundu eky’okubuuliramu ekikyo ku bubwo kye ki?
1 Ekitundu ky’obuuliramu ekikyo ku bubwo kyekyo ekiba kikuweereddwa. Kiyinza okuba mu kifo awakwanguyira okutuuka era ng’osobola okukibuuliramu ng’oli wekka oba ng’oli n’omubuulizi omulala. Wadde nga kya muganyulo okuwagira enteekateeka z’ekibiina ez’okubuulirira awamu bwe kiba nga kisoboka, okuba n’ekitundu ekikyo ku bubwo eky’okubuuliramu mu biseera ebirala, kisobola okuyambako mu kuwa obujulirwa mu bujjuvu, naddala mu bibiina ebirina ebitundu ebinene eby’okubuuliramu.—Bik. 10:42.
2. Miganyulo ki egimu egiva mu kuba n’ekitundu eky’obuuliramu ekikyo ku bubwo?
2 Emiganyulo: Abamu beeyongedde okufuna emiganyulo olw’okubuulira mu bitundu ebyo ebiba bibaweereddwa okubuuliramu ebiri okumpi ne we bakolera. Ekyo bakikola mu biseera eby’okuliiramu eky’emisana oba nga baakava ku mirimu. Abamu banyumiddwa okubuulirira awamu ng’amaka ku muliraano okumala essaawa ng’emu ng’Olukuŋŋaana lw’Ekibiina olw’Okusoma Ekitabo terunnatandika. N’ekivuddemu, abantu ab’okuddiŋŋana awamu n’abayizi ba Baibuli abafunibwa baba kumpi ne kiviirako ababuulizi okwanguyirwa okuddira abantu abo n’okukozesa obulungi ebiseera n’essente. Olw’okuba waliwo bingi ebisobola okutuukirizibwa mu budde obutono, okubeera n’ekitundu eky’okubuuliramu ekikyo ku bubwo, kiyinza okukuyamba okukola nga payoniya omuwagizi emirundi egiwerako mu mwaka oba okukola nga payoniya owa bulijjo. Okugatta ku ekyo, okubuulira mu kitundu ekikyo ku bubwo ekiba kikuweereddwa n’okutegeera obulungi abantu abakirimu, kiviirako abantu abo okukwesiga era kikuyamba okutuukanya ennyanjula yo n’ebibakwatako, bwe kityo, ne kifuula obuweereza bwo okubeera obulungi mu ngeri esingawo.
3. Biki ebyavaamu payoniya omu bwe yafuna ekitundu ky’abuuliramu ekikye ku bubwe?
3 Payoniya omu eyakubirizibwa omulabirizi w’ekitundu okufuna ekitundu eky’okubuuliramu ekikye ku bubwe agamba bw’ati: “Nnakkiriza amagezi ago ge yampa era mangu ddala nnategeera bulungi abantu b’omu kitundu ekyo era ne mbakolako omukwano. Nnakola enkyukakyuka mu biseera bye nnabakyalirangamu nga nsinziira ku mbeera zaabwe. N’ekyavaamu, emirundi gye nnaddiŋŋaana abantu gyeyongera okuva ku mirundi 35 okutuuka ku mirundi egisukka mu 80 mu mwezi, era nnina abayizi ba Baibuli musanvu.”
4. Oyinza otya okufuna era n’okukola mu kitundu eky’okubuuliramu ekikyo ku bubwo?
4 Engeri y’Okukikolamu: Bw’oba oyagala okufuna ekitundu eky’okubuuliramu ekikyo ku bubwo, yogera n’omuweereza akola ku by’okugaba ebitundu ebibuulirwamu. Tolonzalonza kuyita mubuulizi mulala okukolera awamu naawe, era baako w’owandiika abo b’oba tosanze waka. Gezaako okumaliriza ekitundu ekyo mu myezi ena. Bw’okisanga nga kizibu okukimaliriza mu myezi ena, oyinza okusaba obuyambi okuva eri Omulabirizi w’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina oba okuva eri abalala. Ku nkomerero y’emyezi ena, osobola okuzzaayo kaadi y’ekitundu ky’omalirizza oba oyinza okusaba n’oddamu okukikolamu. Kyokka tosaanidde kukola mu kitundu kye kimu ebbanga lyonna wabula kaadi ey’ekitundu ekyo gizzeeyo n’abalala basobole okukisaba. Bw’oba oli mu kibiina ekirina ekitundu ekitono ekibuulirwamu era nga tekisoboka kufuna kitundu eky’okubuuliramu ekikyo ku bubwo, oyinza okusaba akatundu akatonotono ak’okubuuliramu okuva eri omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina gy’okuŋŋaanira.
5. Kiki ekyetaagisa okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’okubuulira?
5 Omulimu gwaffe ogw’okubuulira mu “nsi yonna etuuliddwamu” buvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo. (Mat. 24:14, NW) Gutwetaagisa okukolera awamu. Ng’oggyeko okubuulira awamu ng’ekibiina, okubuulira mu kitundu ekikyo ku bubwo kiyinza okuyambako mu kutuusa amawulire amalungi eri abantu bangi nga bwe kisoboka.