Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Ekibiina kisaanidde okutimba mu Kingdom Hall mmaapu eraga ebitundu byonna ebibuulirwamu?
Yee, mmaapu eraga ebitundu byonna ebibuulirwamu yanditeekeddwa mu freemu n’ewanikibwa ku kisenge mu Kingdom Hall. Mmaapu eyo tesaanidde kuteekebwa we mutimba ebirango. Erina okulaga ensalo z’ekitundu kyonna ekiweereddwa ekibiina kyammwe okubuuliramu era n’ensalo z’obutundutundu obusaliddwamu awamu n’ennamba ya buli kamu. Ensalo z’ebitundu ebibuulirwamu ebibiina ebikozesa Kingdom Hall emu zisaanidde okulagibwa. Kino kijja kusobozesa ababuulizi n’abappya okumanya ekibiina ekitwala ekitundu kye babeeramu. Okulaga ku mmaapu ebifo awabeera Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina nakyo kijja kuyamba bonna okumanya ekibinja gye balina okusomera ekitabo. Mmaapu eno esaanidde okuzzibwa obuggya buli kiseera.
Okutimba mmaapu bw’etyo kiyamba okujjukiza ababuulizi bonna nti, singa kisoboka, kyandibadde kirungi buli omu okubeera n’ekitundu ekikye ku bubwe ky’abuuliramu. Mmaapu eyamba abo abaagala okulonda ekitundu eky’okubuuliramu ekiri okumpi ne we babeera. Oluusi eyinza okuyamba okukendeeza ku biseera ebimalibwa mu nkuŋŋaana z’ennimiro, ne kisobozesa akubirizza olukuŋŋaana okulagirira amangu ababuulizi ekifo eky’okubuuliramu.
Mmaapu eno era ewa obukakafu obulaga nti ekibiina kitegekeddwa bulungi okubuulira obubaka bw’Obwakabaka wonna wonna mu kitundu kye kiweereddwa.—Luk. 9:6.