Ekibiina Kyammwe Kirina Ekitundu Kinene Nnyo eky’Okubuuliramu?
1 Okutandikira mu bibuga by’omu Buyudaaya n’okutuukira ddala mu byalo by’e Ggaliraaya, Yesu yabuulira buli wamu mu Isiraeri ey’edda. (Mak. 1:38, 39; Luk. 23:5) Naffe tuteekwa okutuukirira abantu bangi nga bwe kisoboka n’amawulire amalungi. (Mak. 13:10) Naye kino kiyinza obutaba kyangu. Lwaki?
2 Ebibiina bingi mu Afirika ow’Ebuvanjuba birina ebitundu eby’okubuuliramu ng’ebisinga obungi byalo ebinene nnyo. Ebibiina ebirala biyinza okuba bibuulira mu bibuga ebirimu abantu abangi ennyo, nga binoonya abo abaagala okuwulira amawulire amalungi. Kiki kye tuyinza okukola okuyamba abantu abali mu bitundu ebyo ebinene ennyo okuyiga amazima agakwata ku Yakuwa, Yesu, wamu n’Obwakabaka?
3 Kola Enteekateeka Ennungi: Omulabirizi w’obuweereza n’omuweereza akola ku bitundu eby’okubuuliramu basaanidde okuwa obulagirizi obutuufu ekibiina kisobole okukola obulungi mu kitundu kyakyo. Oboolyawo enteekateeka ez’enjawulo ziyinza okukolebwa ku nnaku ezimu ez’Olwomukaaga abasinga obungi lwe basobola okwenyigira mu buweereza olunaku lwonna. Bwe muba munaakola mu bitundu eby’ewala, bwe kiba kisoboka, kola enteekateeka ezinaakusobozesa okukola ekiseera ekiwanvuko mu buweereza bw’ennimiro. Era twala k’onoolya eky’emisana. Okusingako bulijjo, muyinza okusisinkana nga bukyali musobole okutuuka mu kitundu ekyo nga bukyali oba muyinza okubeera n’olukuŋŋaana lw’ennimiro okumpi n’ekifo kye mugenda okukolamu. Mwegabanyeemu ebubinja butonotono kisobozese bonna okwenyigira mu kubuulira nnyumba ku nnyumba. Mukole enteekateeka ez’okukola mu bitundu eby’omu byalo, mu myezi amakubo n’obudde we bibeerera ebirungi.
4 Abo ababuulira mu bibuga basobola okwewala okwonoona ebiseera nga bakola enteekateeka ennungi ez’okufuna ebitundu ebimala eby’okubuuliramu. Mukole enteekateeka ennungi kisobozese bonna okubeera n’ebitundu ebimala eby’okubuuliramu ku makya oba olweggulo lwonna.
5 Mutwale ebitabo ebimala. Bwe kiba nti ekitundu tekitera kubuulirwamu, kyandibadde kirungi okuleka tulakiti oba magazini enkadde mu maka ge mutasanzeemu bantu. Bwe kiba nti tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? weeri mu lulimi olwogerwa mu kitundu ekyo, giwe buli muntu gw’osanga era gireke mu buli maka g’otasanzeemu bantu.
6 Mukolaganire Wamu Bulungi: Okusobola okukola mu kitundu ekinene, kyetaagisa bonna abali mu kibiina okukolaganira awamu. Bwe kiba nga kyetaagisa okuvuga olugendo oluwanvu, abo abanaakozesa ekidduka ekimu bayinza okusondera awamu ssente ez’okugula amafuta. Kyetaagisa okukozesa amagezi singa musanga bannyinimu abanyumirwa ennyo okwogera naffe. Jjukira nti mwagala kutuukirira buli muntu ali mu kitundu ekyo, era faayo ku balala b’oli nabo mu kibinja kyammwe. Bw’oba nga wandyagadde okweyongera okunyumya n’omuntu ayagala okumanya ebisingawo, oyinza okutegeeza abalala abali mu kibinja kyo ne beeyongerayo mu maaso okubuulira.
7 Mukole enteekateeka okuddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo. Ng’oggyeko okuwandiika ekifo omuntu oyo w’abeera, gezaako okumanya ebirala ebinaakusobozesa okutuuka mu maka ge. Ng’ekyokulabirako, bwe kiba nti amakubo g’omu kitundu ekyo tegaliiko mannya oba amayumba nga tegaliiko nnamba, kuba kammaapu oba baako by’owandiika ebinaakusobozesa okutuuka ku muntu oyo ng’ozzeeyo.
8 Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okutuukiriza ebiragiro bya Yesu: “Buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw’ali asaana.” (Mat. 10:11) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba mu mulimu guno ogusingirayo ddala okuba ogw’omuganyulo!