Bwe Tutasanga Bantu mu Maka Gaabwe
1. Buzibu ki bwe tutera okusanga nga tubuulira nnyumba ku nnyumba?
1 Mu bitundu bingi, kigenda kyeyongera okuba ekizibu ennyo okusanga abantu mu maka gaabwe. Mu ‘biseera bino ebizibu,’ abantu bangi bawalirizibwa okukola essaawa nnyingi basobole okufuna bye beetaaga mu bulamu. (2 Tim. 3:1) Abamu bayinza obutaba mu maka gaabwe olw’okuba baba bagenze okubaako bye bagula oba okwesanyusaamu. Tuyinza tutya okutuusa amawulire amalungi ku bantu ng’abo?
2. Kiki kye tuyinza okukola okukakasa nti tuddayo eri abo be tutaasanga waka?
2 Wandiika Abo b’Oba Tosanze Waka: Ekintu ky’osaanidde okusooka okukola kwe kuwandiika abo b’oba tosanze waka. Kino kikulu nnyo naddala bw’oba ng’otera okubuulira mu kitundu ekyakuweebwa. Owandiika erinnya ly’oluguudo, ennamba ya kaadi y’ekitundu ekyo, erinnya lyo, n’ennaku z’omwezi? Oyinza okulekawo ebbanga ku foomu eyo w’onoowandiika ebirala ng’ozzeeyo oba omubuulizi omulala w’anaawandiika bwe kiba nti y’azzeeyo eri abo abataasangibwa waka. Ekiseera ky’olina okumala ng’obuulira mu kitundu ekyo bwe kiggwaako, ebyo bye wawandiika jjukira okubiwa oyo aba aweereddwa ekitundu ekyo, okuggyako ng’akukkiriza okuddayo eri abo b’otaasanga waka. Abo bonna ababa balaze okusiima era ng’oteekateeka okubaddira, bawandiike ku kapapula akalala.
3. Ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okusobola okutuusa amawulire amalungi eri abo be tutaasanga waka, bye biruwa?
3 Gezaako mu Kiseera Ekirala: Oboolyawo abo abataali waka ku lunaku olw’okukola bayinza okubaawo mu biseera eby’akawungeezi oba ku wiikendi. Osobola okukola enteekateeka n’oddayo mu kiseera kye bayinza okubeereramu awaka? (1 Kol. 10:24) Bw’oba nga tosobola, foomu eyo kwe wawandiika abo b’otaasanga waka oyinza okugiwa omubuulizi asobola okugendayo mu kiseera ekisaanira. Bwe kitaba bwe kityo, oyinza okuwandiikira abo b’otaasanga waka oba okwogera nabo ku ssimu. Ababuulizi abatasobola kwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira nnyumba ku nnyumba olw’embeera y’obulamu bwabwe, bayinza okuba abasanyufu okukuyambako mu kino.
4. Kyakulabirako ki ekiraga obukulu bw’okuddayo mu maka gye tutaasanga bantu?
4 Ekyokulabirako kino wammanga kiraga obukulu bw’okuddayo mu maka gye tutaasanga bantu. Oluvannyuma lw’ababuulizi okugenda mu maka agamu enfunda n’enfunda okumala emyaka esatu, baalwaddaaki nyinimu ne bamusangawo. Baakizuula nti omukyala oyo yali amaze ebbanga eryo lyonna ng’ayagala wabeewo Omujulirwa amukyalira amuyambe okuddamu okuyiga Baibuli nga bwe yali akola nga tannasengukira mu kitundu ekyo.
5. Ddi ekitundu eky’okubuuliramu lwe kitwalibwa okuba nga kimaliriziddwa?
5 Malako Ekitundu Kye Waweebwa Okubuuliramu: Ddi ekitundu eky’okubuuliramu lwe kitwalibwa okuba nga kimaliriziddwa? Okutwalira awamu, kino kibaawo ng’omubuulizi afubye nnyo okulaba nti abaako gw’abuulira mu buli maka agali mu kitundu ekyo. Okusingira ddala mu bitundu ebitatera kubuulirwamu, kiyinza okuba nga kisaanira okuleka tulakiti oba magazini enkadde mu maka g’oba tosanzeemu bantu era n’oziteeka mu kifo abantu abalala abayitawo we batayinza kuzirabira mangu. Ekitundu ekyakuweebwa okubuuliramu osaanidde okukimaliriza mu banga lya myezi ena. Oluvannyuma lw’emyezi egyo, osaanidde okutegeeza omuweereza avunaanyizibwa ku kugaba ebitundu eby’okubuuliramu asobole okukiraga mu biwandiiko bye nti ekitundu ekyo kimaliriziddwa.
6. Lwaki twandifubye nnyo okutuusa amawulire amalungi eri abantu bonna abali mu kitundu kye tubuuliramu?
6 Twagala abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka bafune akakisa okuyiga okukoowoola erinnya lya Yakuwa basobole okulokolebwa. (Bar. 10:13, 14) Kino kizingiramu n’abo be tuba tetusanze mu maka gaabwe nga tubuulira nnyumba ku nnyumba. Okufaananako omutume Pawulo, kifuule kiruubirirwa kyo ‘okubuulira mu bujjuvu amawulire amalungi ag’ekisa kya Katonda.’—Bik. 20:24.