Kaweefube ow’Enjawulo Okuva nga Okitobba 16–Noovemba 12!
1 “Enkomerero y’Eddiini ez’Obulimba eri Kumpi!” Ogwo gwe mutwe gwa tulakiti eyitibwa Kingdom News Na. 37, ejja okugabibwa mu nsi yonna okutandika n’omwezi ogujja. Mu wiiki ebbiri ezisooka mu Okitobba, tujja kugaba Watchtower ne Awake! Okutandika ne Bbalaza, Okitobba 16, okutuuka ku Ssande, Noovemba 12, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’okugaba tulakiti eno. Ku buli wiikendi mu biseera bya kaweefube, tujja kugaba tulakiti eno awamu ne magazini.
2 Abayinza Okwenyigiramu: Ababuulizi bonna bakubirizibwa okwenyigira mu kaweefube ono. Abamu bajja kuweereza nga bapayoniya abawagizi. Olina abaana oba abayizi ba Baibuli abakulaakulana mu by’omwoyo? Bayambe okutuukirira abakadde balabe oba nga batuuse okutandika okubuulira. Abakadde basaanidde okutuukira ab’oluganda abatakyabuulira babakubirize okwenyigira mu kaweefube ono, oboolyawo nga bakolera wamu n’abo abalina obumanyirivu.
3 Ebibiina byonna bigenda kufuna tulakiti ezimala, ababuulizi ne bapayoniya basobole okufuna tulakiti ezitakka wansi wa 50. Abo abatannafuuka babuulizi bayinza okufuna kopi ttaano ze banaagabira ab’omu maka gaabwe ne mikwano gyabwe. Ababuulizi bonna basaanidde okuwandiika omuwendo gwa tulakiti ze banaaba bagabye mu Okitobba ne Noovemba, emabega wa lipoota. Ku nkomerero ya buli mwezi, omuwandiisi w’ekibiina ajja kuweereza ku ofiisi y’ettabi emiwendo gya tulakiti ezinaaba zigabiddwa. Oluvannyuma lwa kaweefube, tulakiti ezinaaba zisigaddewo zijja kukozesebwa mu ngeri endala ez’okubuulira.
4 Bye Tuyinza Okwogera: Yogera bitono mu nnyanjula yo, kikusobozese okutuusa obubaka buno ku bantu bangi. Oyinza okugamba: “Ndi omu ku bannakyewa ababunyisa obubaka buno mu nsi yonna. Eno ye kopi yo. Nkusaba ogisome bulungi.” Mu bitundu ebimu, kiyinza okuba ekirungi obutagenda na nsawo gy’okozesa mu kubuulira. Kakasa nti owandiika abo bonna abaagala okumanya ebisingawo.
5 Engeri y’Okumalako Ekitundu Kyammwe: Mu kifo ky’okugaba tulakiti eno ku nguudo, mugigabe nnyumba ku nnyumba ne mu bifo awakolerwa bizineesi ebiri mu kitundu kye mubuuliramu. Wandiika amayumba gonna w’otosanze bantu era gezaako okuddayo mu ssaawa endala oba ku lunaku olulala mu wiiki. Okutandika ne Bbalaza, Noovemba 6, tuyinza okuleka tulakiti eno mu maka mwe tuba tetusanze bantu. Kyokka, singa ekibiina kiba tekisobola kumalako kitundu kye kibuuliramu mu kiseera ekiweereddwa, abakadde bayinza okusalawo oba nga tulakiti eno esobola okulekebwa mu maka awatasangiddwa bantu mu kiseera kya kaweefube kyonna.
6 Okuzikirizibwa kwa “Babulooni [E]kinene” kuli kumpi nnyo. Abantu balina okukifulumamu nga tekinnazikirizibwa. (Kub. 14:8; 18:8) Kola enteekateeka kati osobole okwenyigira mu kaweefube ono ajja okukolebwa mu nsi yonna okumanyisa abantu bonna nti okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba kuli kumpi!