Tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38 ya Kugabibwa mu Ddesemba!
1. Bibuuzo ki ebikwata ku bafu abantu bye beebuuza, era ebibuuzo ebyo binaddibwamu bitya mu Ddesemba?
1 Okufa mulabe wa buli muntu k’abe nga wa ddiini ki. (1 Kol. 15:26) Abantu bangi beebuuza abafu gye bali era obanga baliddamu okulaba abantu baabwe abaafa. N’olw’ensonga eyo, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bajja kuba ne kaweefube ow’okugaba tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38 erina omutwe ogugamba nti Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu? Mu kitundu ekiri wansi w’ettabi lyaffe, kaweefube oyo ow’enjawulo ajja kutandika nga Ddesemba 1, era ajja kumala omwezi mulamba. Oluvannyuma lwa kaweefube oyo, tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38 tujja kweyongera okugikozesa mu buweereza nga bwe tukozesa tulakiti endala.
2. Tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38 yategekebwa etya?
2 Engeri Gye Yategekebwamu: Tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38 yakolebwa nga ya kufunyaamu kisobozese omuntu okulaba omutwe ogusikiriza awamu n’ebigambo “Wandizzeemu nti . . . yee? nedda? simanyi?” Omuntu bw’abikkula tulakiti eyo, ajja kulaba engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo ekiri kungulu n’engeri gy’aganyulwa mu kumanya essuubi ery’okuzuukira. Ate era ajja kulaba ensonga lwaki tuyinza okukkiriza Bayibuli by’egamba. Emabega wa tulakiti eyo waliyo ekibuuzo ekisikiriza eky’okulowoozaako era akubirizibwa okumanya ebisingawo.
3. Tunaagaba tutya tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38?
3 Engeri Gye Tujja Okugigabamu: Kaweefube ono ajja kufaananako kaweefube ow’okugaba obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo oba ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu. Abakadde bajja kubawa obulagirizi ku ngeri y’okumalako ekitundu kye mubuuliramu, nga bagoberera obulagirizi obuli mu bbaluwa eyabawandiikirwa nga Apuli 1, 2013. Ebibiina ebirina ekitundu ekitono eky’okubuuliramu biyinza okuyambako ebibiina ebibiriraanye ebirina ekitundu ekinene. Bw’oba otwala tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38, twala ezo zokka z’onoosobola okugaba mu wiiki. Tulakiti ezinaaba zisigaddewo nga tumaze okugaba nnyumba ku nnyumba mu kitundu kye tubuuliramu, tuyinza okuzigaba nga tubuulira mu lujjudde. Tulakiti bwe zinaaba ziweddewo ng’omwezi tegunnaggwako, tujja kugaba ebitabo ebinaaba bigabibwa omwezi ogwo. Ku Lwomukaaga olusooka mu Ddesemba, essira tujja ku lissa ku kaweefube mu kifo ky’okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Ku wiikendi tusaanidde okugabirako magazini bwe kiba kituukirawo. Ka ffenna tufube okukola enteekateeka ezinaatusobozesa okwenyigira mu kaweefube oyo mu bujjuvu.