Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo Atandika nga Maaki 1
1. Tunaatandika ddi kaweefube ow’okuyita abantu ku Kijjukizo, era lwaki ow’omwaka guno ajja kumala ekiseera kiwanvuko?
1 Kaweefube ow’okuyita abantu ku Kijjukizo ekinaabaawo nga Maaki 26, ajja kutandika ku Lwokutaano, nga Maaki 1. Ekyo kitegeeza nti ku luno kaweefube ajja kumala ekiseera kiwanvuko okusinga ku w’emyaka egiyise. Kino kijja kusobozesa ababuulizi okuyita abantu bangi nnaddala ekibiina kyabwe bwe kiba n’ekitundu kinene eky’okubuuliramu.
2. Nteekateeka ki ezinaasobozesa ababuulizi okufuna obupapula obuyita abantu n’okumalako ekitundu kye babuuliramu?
2 Okwetegekera Kaweefube: Abakadde bajja kubawa obulagirizi ku ngeri gye munaamalako ekitundu kye mubuuliramu era bajja kusalawo obanga obupapula munaabuleka awaka we mutasanze bantu. Obupapula obunaaba busigaddewo nga mumaze okugaba nnyumba ku nnyumba, muyinza okubugaba ku nguudo oba mu bifo ebya lukale. Omulabirizi w’obuweereza asaanidde okukakasa nti obupapula buwandiikiddwako endagiriro era busaanidde okuteekebwa ku mmeeza y’ebitabo ababuulizi basobole okubufuna, naye bwonna tebusaanidde kuteekebwawo mulundi gumu. Ababuulizi basaanidde okutwala obwo bwokka bwe banaasobola okugaba mu wiiki.
3. Biki bye tusaanidde okulowoozaako nga tugaba obupapula obuyita abantu?
3 Tunaabugaba Tutya? Kiba kirungi okukozesa ennyanjula ennyimpimpi kitusobozese okutuuka ku bantu bangi nga bwe kisoboka. Kyokka, bwe kiba nti oyo gwe tuba tuwadde akapapula alina ebibuuzo by’atubuuzizza, tuyinza okubiddamu. Ku lupapula 4 kuliko ennyanjula gye tuyinza okutuukaganya n’ekitundu kyaffe nga tubugaba. Bwe tuba tugaba obupapula obwo ku wiikendi, tusobola n’okugabirako magazini bwe kiba kituukirawo. Nga Maaki 2, essira tujja kulissa ku kugaba obupapula obuyita abantu so si ku kutandika okuyigiriza abantu Bayibuli.
4. Lwaki tusaanidde okwenyigira mu kaweefube n’obunyiikivu?
4 Tusuubira nti abantu bangi bajja kujja ku mukolo gw’Ekijjukizo. Omwogezi ajja kunnyonnyola ekyo Yesu ky’ali. (1 Kol. 11:26) Annyonnyole engeri okufa kwa Yesu gye kutuganyulamu. (Bar. 6:23) Ate era annyonnyole ensonga lwaki tusaanidde okujjukira okufa kwe. (Yok. 17:3) N’olwekyo, ka ffenna twenyigire mu kaweefube oyo n’obunyiikivu!