Okugaba Obupapula Obuyita Abantu ku Kijjukizo Kutandika nga Apuli 2
1. Ddi lwe tujja okugaba obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo omwaka guno, era birungi ki ebiva mu kaweefube ono akolebwa buli mwaka?
1 Okuva nga Apuli 2 okutuuka nga Apuli 17, tujja kugaba obupapula obuyita abantu ku mukolo ogusingayo obukulu mu mwaka—Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo. Okuviira ddala emabega, abantu bangi abaagala amazima bakkiriza obupapula obuyita abantu era ne bajja ku mukolo guno ogubaawo buli mwaka. Ng’ekyokulabirako, ku lunaku lw’Ekijjukizo, omukyala omu yakubira ofiisi y’ettabi essimu ng’agamba nti: “Bwe nkomyewo awaka, nsanze akapapula wansi w’oluggi akayita abantu ku mukolo ogw’Ekijjukizo. Njagala kugenda ku mukolo ogwo naye simanyi kiseera kyennyini we gunaabeererawo.” Ow’oluganda yamutegeeza wa essaawa n’ekifo we biri ku kapapula ako. Omukyala yafundikira agamba nti, “Leero akawungeezi, ŋŋenda kubaawo ku mukolo gwammwe!”
2. Kiki kye tuyinza okwogera nga tugaba obupapula obuyita abantu?
2 Engeri Gye Tunaabugabamu: Okuva bwe kiri nti tulina ekiseera kitono okumalako ekitundu kyaffe, kyandibadde kirungi obutalandagga. Tuyinza okugamba nti: “Nkulamusizza nnyo nnyabo [oba ssebo.] Tukuyita ggwe n’ab’omu maka go ku mukolo omukulu ogwa buli mwaka ogunaabaawo mu nsi yonna ku Ssande nga Apuli 17. [Muwe akapapula.] Olwo lwe lunaku lwe tujja okujjukirirako okufa kwa Yesu. Wajja kubaawo okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli nga kunnyonnyola engeri gye tuyinza okuganyulwa mu kinunulo kya Kristo. Akapapula kano kalaga ekiseera n’ekifo awanaabeera omukolo guno mu kitundu kyaffe.”
3. Tuyinza tutya okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka?
3 Ekibiina kyammwe bwe kiba n’ekitundu kinene ekibuulirwamu, abakadde bayinza okubagamba okuleka obupapula buno mu maka gye muba mutasanze bantu kasita bulekebwa mu kifo abalala we batayinza kubulabira. Kakasa nti oyita abo b’oba ozzeeyo okukyalira, ab’eŋŋanda zo, b’okola nabo, b’osoma nabo, n’abalala b’omanyi. Bwe muba mugaba obupapula obwo ku wiikendi, muyinza okubugabira awamu ne magazini bwe kiba kituukirawo. Oyinza okuweereza nga payoniya omuwagizi mu Apuli n’osobola okukozesa ekiseera ekiwerako okwenyigira mu kaweefube ono?
4. Lwaki twagala abantu babeewo ku mukolo gw’Ekijjukizo?
4 Ng’abantu abanaabaawo ku mukolo guno bajja kufuna obujulirwa bwa maanyi! Bajja kutegeera okwagala okw’ensusso Yakuwa kwe yatulaga ng’awaayo ekinunulo. (Yok. 3:16) Bajja kuyiga engeri Obwakabaka bwa Katonda gye bujja okuganyulamu abantu bonna. (Is. 65:21-23) Ate era bajja kusabibwa okutuukirira omu ku baaniriza abagenyi, abafunire omuntu anaabayigiriza Bayibuli. Tusuubira nti abantu bangi abalina emitima emiwombeefu bajja kukkiriza obupapula obuyita abantu era batwegatteko ku mukolo guno ogw’Ekijjukizo!