Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo Atandika nga Maaki 17
1. Kaweefube ki anaatandika nga Maaki 17?
1 Omukolo gw’Ekijjukizo ogukuzibwa buli mwaka gutusobozesa okulangirira okufa kwa Yesu. (1 Kol. 11:26) N’olwekyo, twagala abalala batwegatteko era bawulirize ebikwata ku kirabo ky’ekinunulo ekiraga okwagala kwa Yakuwa. (Yok. 3:16) Omwaka guno, kaweefube waffe ow’okuyita abantu ku mukolo gw’Ekijjukizo ajja kutandika ku Lwomukaaga, Maaki 17. Okoze enteekateeka ezinaakusobozesa okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube oyo?
2. Kiki kye tuyinza okwogera nga tugaba obupapula?
2 Kye Tuyinza Okwogera: Kiba kirungi okukozesa ennyanjula ennyimpimpi. Tuyinza okugamba nti: “Nkulamusizza nnyo ssebo [oba nnyabo.] Tukuleetedde akapapula kano nga tukuyita ggwe n’ab’omu maka go ku mukolo omukulu ennyo ogwa buli mwaka ogunaabaawo mu nsi yonna nga Apuli 5. Wajja kubaawo okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli nga kunnyonnyola engeri okufa kwa Yesu gye kutuganyulamu n’ekyo ky’akola kati. Akapapula kano kalaga ekiseera n’ekifo omukolo guno we gunaabeera mu kitundu kyaffe. Okuyingira kwa bwereere.” Bwe muba mugaba obupapula obwo ku wiikendi, muyinza okubugabira wamu ne magazini bwe kiba kituukirawo.
3. Tuyinza tutya okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka?
3 Yita Abantu Bangi nga Bwe Kisoboka: Ekiruubirirwa kyaffe kwe kuyita abantu bangi nga bwekisoboka. N’olwekyo kakasa nti oyita abayizi bo aba Bayibuli, b’osuubira okudiŋŋana, ab’eŋŋanda zo, bakozi banno, b’osoma nabo, baliraanwa bo, ne mikwano gyo. Abakadde bajja kutuwa obulagirizi ku ngeri gye tuyinza okumalako ekitundu kye tubuuliramu. Kaweefube waffe owa buli mwaka ow’okuyita abantu ku mukolo gw’Ekijjukizo avaamu ebibala. Omwaka oguwedde, omukyala omu bwe yayingira mu kifo awaali omukolo gw’ekijjukizo, omu ku baaniriza abagenyi yayagala amunoonyeze omubuulizi eyali amuyise. Kyokka, omukyala n’amugamba nti tewali muntu yenna gwe yali amanyi mu kifo ekyo era nti omuntu eyali abuulira nnyumba ku nnyumba ku lunaku olwo ku makya ye yali amuwadde akapapula akamuyita.
4. Nsonga ki ezandituleetedde okwenyigira mu kaweefube n’obunyiikivu?
4 Oboolyawo omu ku bantu b’onoowa obupapula, anaabaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Ka kibe nti omuntu gw’onooba okawadde anaabeerawo oba taabeerewo, ojja kuba owadde obujulirwa olw’okufuba kwo. Obupapula bw’onoogaba bujja kulangirira nti Yesu kati Kabaka ow’amaanyi. Obunyiikivu bwo bujja kulaga abantu bonna abakulaba, nga mw’otwalidde abantu b’omu kitundu, babuulizi bano, n’okusingira ddala Yakuwa, nti osiima nnyo ekirabo ky’ekinunulo.—Bak. 3:15.