Obupapula Obuyita Abantu ku Kijjukizo Obunaagabibwa mu Nsi Yonna!
1. Kaweefube ki ow’enjawulo anaakolebwa mu nsi yonna ng’omukolo gw’ekijjukizo tegunnatuuka?
1 “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.” (Luk. 22:19) Nga bagondera ekiragiro kya Yesu kino, abasinza ba Yakuwa bajja kukuŋŋaana wamu n’abantu abalala abalaga okusiima nga Maaki 30, 2010, okujjukira okufa kwa Yesu. Obupapula obw’enjawulo obuyita abantu ku mukolo guno bujja kugabibwa mu nsi yonna okutandika nga Maaki 13 okutuuka Maaki 30.
2. Obupapula obuyita abantu tuyinza kubugaba tutya?
2 Engeri y’Okukikolamu: Oyinza okuwa nnyinimu akapapula ako, n’omulaga ekifaananyi ekiriko, oluvannyuma n’omugamba nti: “Akawungeezi nga Maaki 30, obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi yonna bajja kukuŋŋaana okujjukira okufa kwa Yesu. Nzize okukuwa kaadi ekuyita ggwe n’ab’omu maka go okubaawo ku mukolo guno. Ne mikwano gyo tubaaniriza. Ku kaadi eno kuliko essaawa n’ekifo omukolo guno we gunaabeera.” Ng’osinziira ku mbeera eriwo oyinza okusalawo okumusomera Ekyawandiikibwa ekitulagira okukuza omukolo guno ekiri mu Lukka 22:19. Kyokka kijjukire nti, okuva bwe kiri nti tulina ekiseera kitono okumalako ekitundu kyaffe, kikulu okwogera mu bufunze.
3. Baani be tuyinza okuyita?
3 Ekibiina kyammwe bwe kiba n’ekitundu kinene ekibuulirwamu, abakadde bayinza okubagamba okuleka obupapula buno mu maka gye muba mutasanze bantu ku mulundi ogusooka. Bwe kiba kituukirawo, mugabe obupapula obwo awamu ne magazini. Kakasa nti oyita abo b’oba ozzeeyo okukyalira, abayizi ba Baibuli, b’okola nabo, b’osoma nabo, ab’eŋŋanda zo, baliraanwa bo, n’abalala b’omanyi.
4. Okusiima kwe tulina olw’okwagala Yakuwa kwe yatulaga ng’awaayo omwana we ng’ekinunulo kunaatukubiriza kukola ki?
4 Weeteeketeeke Okwenyigiramu mu Bujjuvu: Ekiseera ky’Ekijjukizo kiseera kirungi oky’okugaziya ku buweereza bwaffe. Oyinza okukyusakyusa mu nteekateeka yo n’oweereza nga payoniya omuwagizi? Olina abaana oba abayizi ba Baibuli abakulaakulana mu by’omwoyo? Bwe kiba kityo, tuukirira abakadde balabe obanga batuukiriza ebisaanyizo okwenyigira mu kaweefube ono ng’ababuulizi abatali babatize. Okusiima kwe tulina olw’okwagala Yakuwa kwe yalaga ng’awaayo omwana we ng’ekinunulo kujja kutukubiriza okubaawo n’okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka okutwegattako ku mukolo guno.—Yok. 3:16.