Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo Atandika nga Maaki 22
Omwaka guno, kaweefube ow’okuyita abantu ku kijjukizo ajja kutandika ku Lwomukaaga nga Maaki 22. Ffenna tukubirizibwa okuwagira kaweefube oyo mu bujjuvu. Ku wiikendi tujja kugabirako magazini bwe kinaaba kituukirawo. Ku Lwomukaaga olusooka mu Apuli, essira tujja kulissa ku kugaba obupapula obuyita abantu so si ku kufuna bayizi ba Bayibuli. Wadde kiri kityo, omuntu bw’aba nga ddala asiimye obubaka bwaffe, tuyinza okutandika okumuyigiriza Bayibuli. Omulabirizi w’obuweereza ajja kusalawo obanga okugaba obupapula obwo nga mukozesa enkola ez’okubuulira mu lujjudde kinaabayamba okutuuka ku bantu abasinga obungi mu kitundu kyammwe. Kola kati olukalala lw’amannya g’ab’eŋŋanda zo, b’okola nabo, b’osoma nabo, b’otera okuddiŋŋana, n’abalala, era kaweefube bw’atandika, obawe obupapula obubayita ku Kijjukizo. Tusuubira nti bangi bajja kutwegattako nga tujjukira okufa kwa Yesu okwoleka okwagala okungi ennyo Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga.—Yok. 3:16; 15:13.